LOVE ON THE INTERNET

  • This topic has 8 voices and 17 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 18 total)
  • Author
    Posts
  • #19050
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


    Ku internet kuno kuliko dating services eza madiini eza mawanga
    eza langi ne za continent kuliko ne bifo woyinza okumanyigana na bantu oba olyaawo nofunayo omukwaano gwomwaami oba omukyaala nga tugs hi five,my space ne
    facebook,
    Ate waliwo abantu okumanyaganira wano nga ku forums ,ne mu chatrooms naawo nawo oyinza okujjawo kyojjawo
    tubulire gwe kiki kyolowooza ku (love on the Internet)

    #19817
    MulongoMulongo
    Participant

    Ha,Kale Mumbejja oleeseyo ako.
    Olukiiko lugende mu maaso.

    #19818
    KulabakoKulabako
    Participant

    Ekikola obubi ku internet omuntu byayagala byakugamba nolyooka ogwa mu mukwaano nemboozi enteera.
    Kyaava akugamba nti alina fuuti mukaaga ne Bank account egenda okwabika, kakati nno bwemutegeka okugenda okusisinkana nga mu mbuti ali mu mpale ezebiraka , sirina nsonga na bambuti naye nga lwaaki takubulira amazima notajja ngo yambadde high heels , bwemusalawo okugabana ku tulusu aba alina kulinnya kubi boxs, songa bwooba ojjidde mu sneakers kikwanguyira gwe omusitula.
    Kale nebiraka biri ku murembe tetugaanye naye nga lwaaki nze nsasula dinner?
    awo si kwekujja nga tewetegese nomalira mu ffumbiro ngoyoza masowaani nga munno awoza kimu nti ku sink situkayo
    Eyo ye bad side , kati tulowooze ku good side

    #19825
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Internet love yakasandali kenyininyini. Oyinza okumanya omuntu, naddala nga ku ffe abali ewala okuva eka. Nomanya omuntu ayogera Oluganda, ate nga ayogera bulungi. Katugambe nga wandiika bulungi ebintu ebikusanyusa. Nemuwanyisiganya emails, nemunyumizaako eyo. Ne mu graduating-a ku ssimu, oluusi ate muyinza nokudda ku siimu zoku computer wemwogerera nga temweralikirira na charges. Anti temulina bingi bya kukola, okujjako okwogera, buli kimu kiva straight ku bwongo awo notabikamu ne imagination. Bwemuba mwogera ku ssimu ya computer nokwaatako ku screen kubanga mwemuva eddobozi. Ate bwomunyigira keyboard gyowereza ku kisenge, ne computer nosindika eri. Bwemubeera obulungo nogiweeweta. Engeri mu chatroom amannya gyegeteegeka mu alphabetical order, oyagala okyuuse erilyo lituule wali kumpi nerirye. Sinnawulira ku Baganda bayagalanira ku internet nebasisinkana bwebabeera, naye mmanyi nti love eno esobola okubeera nga ya ddala, kubanga teyesigamye ku ndabika eyinza okulimba, nga omuntu alabika bulungi naye nga munda mubi. Ate teyesigamye ku byalina. Wano omuntu osooka kumumanya nolyooka omwagala, songa abasisinkanye mu buntu bamanyi nokusooka okwagala nebalyooka bamanya omuntu. Gyebiggweera nga bategedde nti batandika busobu. Mpozi ekirala ekiri ku internet oyinza okumanya omuntu, nemwagalana, nemuyomba, nemuddingana, nga mwogera wakati wammwe nga abakamala emyaaka nga muli wamu. Lunaku lukya lumu nemwawukana, nga temulabaganye nako.

    #19830
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Nze kyannalaba nti abakazi balumya kyekimu ku internet ne bweeru. Kale oyinza okubuuza omuntu yeddira ki otegeere oba kikkirizibwa okumuwa amapenzi, naye nataddamu. Ntebereza ekyo kitegeeza nti teyeddira gumu naawe, kubanga ekyo bakyogera mangu, nti oli mwanyinze. Mulongo, ndi musobya?

    #19840
    MulongoMulongo
    Participant

    Musajja scientific study eyo gyewakola ku bakazi ku internet nze kyendaba tugitwaale tugikubise mu Scientific Journal kubanga ya mulembe nnyo. Tujja okukungaanya awards ne birabo! Awo ojja kubeera nga olinakotaddewo ku buvunanyizibwa bwaffe obwokukuuma Ekitiibwa kya Buganda. Era kyemmanyi Bulange ekulindiridde okukuyozayoza.

    #19869
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Oteekwa okuba nga oli bwoomu nnyo okutandika okunoonya emikwano ku internet. Kubanga kulekerera ntujjo nozina entoli. Lwaki nga toyagala kwaabo bolaba abakuli okumpi? Bwentuuka awo mmanya nti nteekwa okweewa obudde okufulumako ebweeru nsange ku bantu. Kisinga okumala ebiseera nga onoonya omukwano mu nyukuta.

    #19871
    MugerekaMugereka
    Participant

    Nzenno bannange internet love nze kenyini nagifunako ate nga nnawulira nabalala abagifuna. Naye byetwayogereranga ku internet byaali bilala nnyo ku byennasanga ku muntu nga tusisinkanye. Wayinza okubaayo abalina omukisa, osanga ogwange gwaali mubi, naye nze sikiririza mu internet love. Nze ate waliwo gwennawulira ku mawulire, eyagenda nasisinkana omusajja mu nsi mwaali. Sebo omusajja yamusiba emigwa namukola ebya mbyoone ate nga bwebamukuba nemiggo. Bweyamala namussa mu mmotoka namuvuga namukanyuga mu kkubo. Nolweekyo nze ngamba nti go slow ku bintu byotolabako.

    #19887
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nze ndowooza Internate love eteekwa kujja nga kekagezo akasembayo ngo nonyezza nosiikula ensi okugimalayo nobulwa ekituufu , naye ddala bwekikubula kwooyo gwe mugasimbaganye gwosobola nokukwatako nomanya embeera ze, oba naawe nowulirawo enjawulo ngo mubiri okukwesisiwala bwooba nga tomusiimye nowulira nge ngalo ze zikukalabula ngezirimu oluwawu oba nooba ngo musimye nowulira nga buli wakukwaata wonna wakumyansa nga gwebasizaako tazer oba nga wakubabukirira ekiwomerera , awo nomanya nti wetaaga bintu kubyongerayo ku daala ddala .

    Naye bwosalawo okufunira omuntu kukyuuma nebwekiba ekifananyi kye kijjirako, ateekwa kuba nebigambo nga binnyike mu mubisi gwe njuki, okuba nti obifuna biwomera okwagala okubyeewa nge ‘nyongeza, kuba nebwakugamba nti kati nkutte kunabansasaana mukifo kyo kukiwulira mu mubiri wa nabansasaana wesangibwa ayinza kukuwaamu buwi kibbo kya nseko.
    Nga munno kyayogera akitegeeza nabansasaana agikutteko naye nga gwe wagudde dda eri enseko , owoza mwanaggwe oyogera ebyekifuusa.Kale awo kulwange nessimanya oba eriyo asobola okufuna omukwaano kukyuuma negubeera gwanamaddala.

    #19896
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Nze nno nawulirako nabanyumya akaboozi kabakulu ku internet kuno, okumanya ebintu bya mpuna nnyo. Mbu era obugoba nebuyitangana nga budde eno budda eri, nga buva mu nyukuta.

    #19905
    KulabakoKulabako
    Participant

    AAAHA kakati olwo nga bwamuwa ekyaalo nga kitayipingamu oba yagenda ku level endala namugamba nti nkuwadde Pacific ocean, si kwekuwandiika ennyukuta nga zevunise anti nga munno obuswandi bumuliko bumulumaluma engalo .Kyokka tekinology gyanatutuusa teri amanyiiyo. Naye awo kiba kirungi kuba tobaako byosomba , mpozzi okwetega ebintu…………….kyokka banange eyaleese akaboozi kano muka:laugh:

    #19988
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Heheheh Kulabako oli akuwe Pacific ocean ogikoze ki? ye ate okwogera ku bugoba nokugaba ebyalo, bannange katugambe nti olina omuntu wo, akuli okumpi, ate nojja ofunayo internet-love. Kati ekyo tuyinza okukibala nga cheating? Oba oyenze bannange awo?

    #19993
    MulongoMulongo
    Participant

    Efulansi wrote:

    Quote:
    Heheheh Kulabako oli akuwe Pacific ocean ogikoze ki? ye ate okwogera ku bugoba nokugaba ebyalo, bannange katugambe nti olina omuntu wo, akuli okumpi, ate nojja ofunayo internet-love. Kati ekyo tuyinza okukibala nga cheating? Oba oyenze bannange awo?

    Bwabeera owange abeera ayenze. Ate nebwabera internet love wange, bwemmanya nti ate alinayo ne internet love omulala era mpulira mbeera njorongebbwa.

    #19998
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    BBC Page last updated at 14:36 GMT, Friday, 17 October 2008 15:36 UK
    Man killed wife in Facebook row
    _45119149_emma226b.jpg
    The mother-of-two’s family was left devastated by her brutal murder
    A man has been jailed for life for stabbing his wife to death over a posting she made on the social networking site Facebook.

    Wayne Forrester, 34, told police he was devastated that his wife Emma, also 34, had changed her online profile to “single” days after he had moved out.

    The Old Bailey heard Forrester drove to her home in Croydon, south London, and attacked the mother-of-two.

    He stabbed her with a kitchen knife and a meat cleaver on 18 February.

    Forrester, who pleaded guilty to murder, was ordered to serve a minimum term of 14 years.

    Judge Brian Barker, the Common Serjeant of London, told him: “You committed a terrible act. There is no possible excuse or justification.

    “This is a tragic killing and what you have done has caused untold anguish.”

    What on earth could Emma have done to result in such a brutal, callous attack?

    Liza Rothery, victim’s sister

    Forrester, an HGV driver, was drunk and high on cocaine when he attacked the mother of two in the early hours as she slept.

    He beat her, tore out clumps of her hair, and repeatedly stabbed her in the head and neck.

    Neighbours were woken up by her screams. They found him sitting outside the house covered in blood and called the police.

    The court heard Forrester thought his wife, a payroll administrator, was having an affair and had threatened to kill her.

    The couple, who had been together for 15 years, had a “volatile” marriage, jurors were told.

    ‘Devastated and humiliated’

    The day before the murder, he called her parents and complained about his wife’s Facebook entry which he said “made her look like a fool”, the court heard.

    In a statement to police Forrester said: “Emma and I had just split up. She forced me out.

    “She then posted messages on an internet website telling everyone she had left me and was looking to meet other men.

    “I loved Emma and felt totally devastated and humiliated about what she had done to me.”

    In a victim impact statement, Mrs Forrester’s sister Liza Rothery said the murder had had a “devastating” impact on her and parents Frances and Robert.

    Miss Rothery added: “What on earth could Emma have done to result in such a brutal, callous attack on a defenceless woman?”

    #20003
    SengoobaSengooba
    Participant

    Musajjalumbwa ekibuuzo okisse namaanyi. Wabula ono omwami yali yayagala dda okutta maama wa baana be, facebook yekwasizza nnekwaase. Owange, buli ggwanga nebyaalyo. Okutabula kyekuva tekubeera kulungi. Totta mwana wa banno bwootyo, kubanga bamukuwa omuwase oba omufumbirwe.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 18 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.