Mengo Egaanye Nate Sente Za Gavt

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Agafa e Mengo / News from Mengo Mengo Egaanye Nate Sente Za Gavt

  • This topic has 2 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #18662
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


    Mmengo ezzeemu okugaana ssente Gavt. z’ewa Kabaka

    Bya Muwanga Kakooza
    Tuesday, 27 April 2010 16:26

    MENGO egambye nti ensako y’okusasula Kabaka gavumenti gy’etadde mu bajeti y’eggwanga enaatera okusomwa, Kabaka tajja kugitwala kuba ejja kumuggya ku mulamwa.

    “Gavumenti ssi ye yatondawo Obwakabaka. Ogwo omusaala eguwe Ssabaluuli ne Sabanyala be yatondawo. Kabaka tayagala musaala kuba gujja kumuggya ku mulamwa. Ayagala bantu be kuweebwa bintu bibayamba mu bulamu obwabulijjo na gavumenti kumuddiza bibye,” omumyuka w’omwogezi w’e Mmengo, Medard Lubega Sseggona bwe yagambye.

    Kino kiddiridde ebiwandiiko bya bajeti okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu okuleetebwa mu palamenti nga biriko abafuzi b’ensikirano 12 abagenda okuweebwa ensako ya bukadde butaano buli mwezi mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja nga ne Kabaka kw’ali.

    Kyokka Minisita w’eki-kula ky’abantu, Gabriel Opio yagambye nti Kabaka bw’ataazitwale nga bulijjo zijja kugenda zikole ku bintu ebirala ebyekuusa ku byobuwangwa.

    Olukalala lw’abafuzi b’ensikirano abagenda okuweebwa ensako eno kuliko Papa Emorimori w’e Teso, Omukama wa Tooro, owa Bunyoro, owa Acholi, Adhola ow’Abapadola, ow’e Lango, Ssabaluuli, Kamuswaga ow’e Kooki, ow’Abaluulu, Kyabazinga wa Busoga, Kabaka wa Buganda, n’ow’Abakonjo Wesley Mumbeere. Kyokka Ssabanyara ow’e Bugerere ye taliiko.

    Okusinziira ku biwandiiko bya bajeti abafuzi b’ensikirano bagenda kuweebwa ensako ewera obukadde 600 nga ku zino kugenda kugattibwako endala obukadde 325 okukola ku nsonga endala ez’obuwangwa.

    Opio yagambye nti ng’oggyeeko ensako eweebwa abafuzi b’ensikirano, gavumenti era ebawa ssente z’okugendako ebweru wa Uganda bwe baba bali ku mirimu emitongole wamu n’okujjanjaba n’ab’eng’anda zaabwe.

    #26380
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Wano tewali njawulo omuntu akutemako amagulu nakuletera akagaali otulemu osigalewo naye nga tokyasobola kwekolera mirimu gyo ate nga bakitukirizza kyebatukalatira buli kiseera .

    Ekyo ekyokwavuwazanga abantu nabassa ku daala lya balomba bakirina mu plan zaabwe n’Obote naye yakirina era kyoova olaba nti bwosoma mu plan z’Obote, M7 yayongerezaako bwongereza mpozzi nokukyuusa amannya , bali bakozesanga ge ngulu ono ye nakozesa agaabwe, ekyo teri atakiraba batugamba nti Obote yali asaaga okuwera obuwezi obwa Kabaka , batulagira ddala ekikolwa kyaabwe ekyokubusanyaawo , naye emirembe ngalo tegyenkananka olwaleero olya enkya bakulyaawo.

    Abaganda si bebantu abajja okutuula okulera engalo kubanga obulombo lombo bwaffe tewali webuwanira muntu mugayaavu, era kyoova olaba nti oli nebwafuluma nga kyalina lugoye lwokka kumugongo na magezi mu mutwe na maanyi mu mubiri amaliriza neyeyimirizaawo ate naterabira nansi ye kulabirira bantu be balese eka , bino byonna tujja kubivvunuka, ate nensi yaffe tuddemu tugizimbe kubanga bwaatyo Katonda waffe bweyakitegeka.

    #26383
    NkokoteyottaNkokoteyotta
    Participant

    Zino sizesente ezava e Bungereza okugula Buganda?

    Gavt. etaddewo obuwumbi 30 ez’okugulamu ettaka

    Gavt. etaddewo obuwumbi 30 ez’okugulamu ettaka
    BYA MUWANGA KAKOOZA
    WEDNESDAY, 28 APRIL 2010 15:57
    GAVUMENTI etaddewo ensimbi obuwumbi 30 mu bajeti y’omwaka ogujja okuzeeyambisa okugula ettaka ku bannyini lyo erigabire abatalina.
    Ate ssentebe w’akakiiko Palamenti ak’ensonga z’ebyettaka Abraham Byandaala (Katikamu North) asabye Gavumenti ekyuse etteeka ly’ettaka mu Luganda n’ennimi z’ekinnansi endala abantu basobole okulitegeera.
    Bino byabadde mu kakiiko kano nga kasisinkanye abakulira minisitule y’ebyettaka abaakulembeddwa minisita Omara Atubo.
    Atubo yagambye nti ensimbi zino zigenda kussibwa mu nsawo egenda okusobozesa Gavumenti okugula ettaka okuva ku bannannyini lyo abeeyagalidde n’oluvannyuma eriwe abantu abatalina.
    Ensawo eno emanyiddwa nga Land Fund yassibwawo kugula ku Baganda abalina etakka e Kibale mu Bunyoro n’e Nakasongola. Abaganda bangi abalina ebyapa by’amataka mu bitundu ebyo bye baasikira okuva ku bajjajjabwe kyokka nga tebabeerayo nga n’ettaka lyabwe liriko basenze.
    Ery’e Kibaale mu Bunyoro Abaganda lyabaweebwa Bazungu mu biseera by’abafuzi b’amatwale kyokka Kibaale eyali etwala Esaza ly’e Buyaga n’e Bugangaizi agaali aga Buganda bwe gazzibwawo e Bunyoro ebyapa ebyo ne bisigala mu mannya g’Abaganda kyokka ng’abasinga okubeera ku ttaka eryo Banyoro.
    E Nakasongora nayo abaamu bakkukkuluma nti ettaka lyabwe (ery’Abaluuli) lyaweebwa Abaganda nabo abatabeerayo. Ensawo eno y’emu ku zisuubirwa okugyibwamu ssente ezo kyokka tekinaba kumanyika oba enkola egenda kusasaana ne mu bitundu by’eggwanga ebirala ng’eyamba ab’ebibanja okwegula okuva ku bannannyini ttaka.
    Bo ababaka abaakulembeddwa Amooti Otoda (Kibanda) yasabye gavumenti eggye ba RDC mu nsonga z’enkayana z’amattaka. Ng’agamba nti abamu ku bo baagala kwesimbawo ku bifo by’obukulembeze kyokka beeyambisa ensonga z’ettaka okulinnya obudaala bw’ebyobufuzi beefunire obululu n’ebifo mu kulonda okubindabinda.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.