Mengo yaakunoonyeza abalimi akatale

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Musajjalumbwa Musajjalumbwa 7 years, 2 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17882
    Musajjalumbwa
    Musajjalumbwa
    Participant

    Mengo yaakunoonyeza abalimi akatale
    MASAKA BUDDU
    Owek. Lutaaya Mukomazi, minisita w’e Mengo ow’ebyobulimi, obulunzi, obuvubi n’ebibira yabotodde ekyama ng’Obwakabaka bwe bulina enteekateeka ey’okutandika okunoonyeza abalimi akatale k’ebirime byabwe ebweru w’eggwanga, ng’omu ku kaweefube w’okutumbula ebyobulimi n’okwagazisa abalimi omulimu gwabwe.
    “Olwensonga nti olumu abantu baffe balemererwa okufuna obutale bw’ebirime byabwe, tugenda kutandika okubanoonyeza obutale naye nga tujja kusooka kunoonya abo abalina ebirime, tufune ebifo we tubiterekera, wetusobola okubiggya bitwalibwe mu akatale,” Owek. Lutaaya bwe yannyonnyodde.
    Okwogera bino yabadde mu musomo gw’ebyobulimi ogwategekeddwa ekibiina kya SROP Uganda nga kiri wamu ne Mengo mu kibuga Masaka.
    Yayongeddeko nti Obwakabaka bugenda kubakana n’eddimu ly’okukubiriza abantu okuzimba ebyagi, kiyambeko okufuna ekkungaanyizo ly’emmere n’okuyigiriza abantu okugitereka esobole okubayamba mu biseera by’ekyeya.
    Omusomo guno ogwetabiddwamu ne Minisita w’ebyobuwangwa eyawummula, Hajji Mustafa Mutyaba, minisitule y’ebyobulimi ne SROP webaatongolezza Nakyanzi Victoria nga agyenti w’eddagala eriwonya muwogo okugengewala n’eryebitooke n’emmwanyi mu Buddu.
    Kino kyakoleddwa okuziyiza okujingirira kw’eddagala lino.
    BUSUULWA ASUMAN SSEBULIBA

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.