MEYA lUKWAAGO ALI MU DDWAALIRO

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #18092
  BasajjamivuleAnonymous

  Lukwago ng’ajjanjabibwa.

  Kiri suspicious okuba nti bagamba nti waliwo gwebaali bategese okuwa kanywe okawulire mu ttaba miruka okuba nti kati Meya okuba nti addusibwa mu ddwaaliro nga yakava mu lukiiko olwo katulinde tulabe naye buli kimu kiriko enkomerero………… Mukama akusuuse

  Kampala
  Bya Hannington Nkalubo

  LOODI meeya wa Kampala bamututte mu ddwaaliro ng’ataawa bw’alumbiddwa obulwadde obw’amanyi nga yakatuuka mu ggwanga okuva mu America gy’abadde .

  Aweereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya Lisa Medical Centre nga takyasobola kwogera . Obulwadde bwamukute mu kiro ekyakeesezza Olwokuna. Yabadde yakadda okuva mu Amerika ku ssaawa 2.00 ez’oku makya ku Lwokusatu . Yakomyeewo ng’apapirira okugenda okunoonyeza Kivumbi okululu e Butambala.

  Yateekeddwaako eccupa z’amazzi nnya nga yabadde akyabuzaayo bbiri. Abasawo bamugambye nti alina omusujja gwa maleria ogw’amaanyi.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.