Mmengo eneddamu okulanga ttenda y’okuzimba Amasiro

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Agafa e Mengo / News from Mengo Mmengo eneddamu okulanga ttenda y’okuzimba Amasiro

 • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • Author
  Posts
 • #18676
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Mmengo eneddamu okulanga ttenda y’okuzimba Amasiro

  Jun 27, 2012
  Bya ANGEL LUBOWA

  MMENGO etegeezezza nti egenda kuddamu okulanga ttenda y’okuzimba Amasiro g’e Kasubi oluvannyuma lw’okufuna obuwumbi bubiri okuva mu Gavumenti eya wakati ne Doola emitwalo 50 okuva ku Japan wadde nga Katikkiro Ying. J.B Walusimbi yali yalangirira dda nti omulimu gugenda kukolebwa kkampuni ya Omega Construction Ltd.

  Kyokka Abazzukulu ba Buganda n’abantu ab’enjawulo kino bakiwakanyizza nga bagamba nti kyoleka gavumenti bw’eyagala okukwata Mmengo amavumbavumba eddemu okulanga ttenda eyagabwa edda ekiyinza n’okuwa abagwiira omukisa okugiwangula wadde nga tebamanyi nnono za Buganda.

  Minisita avunaanyizibwa ku by’obuwangwa e Mmengo era nga ye mumyuka owookubiri owa Katikkiro, Hajji Mohamood Ssekimpi Ssemmambo yategeezezza nti bagenda kulanga bupya omulimu gw’okuzzaawo Amasiro olw’ekiseera ekiyiseewo bukya balangirira Omega Construction n’agattako nti waliwo enkyukakyuka mu bintu bingi omuli n’emiwendo gy’ebikozesebwa.

  KATIKKIRO AYOGEDDE

  Katikkiro Ying. Walusimbi eggulo yategeezezza Bukedde nti yataddewo akakiiko ak’abakugu kongere okwetegereza ku by’okuzimba Amasiro nti bwekabeera kazuddewo obwetaavu bw’okulanga okusobola okufuna kkampuni egenda okukola omulimu ogwo tekirina mutawaana kubanga Abaganda beetaaga Masiro kuddawo. Teyayogedde bammemba bakakiiko ako.

  Amasiro g’e Kasubi gaakwata omuliro mu March wa 2010 era Katikkiro Walusimbi n’ategeeza nti Mmengo yeetaaga obuwumbi 20 okugazzaawo. Oluvannyuma yalangirira kkampuni ya Omega Construction nti y’erondeddwa okugazzaawo era n’etandika okupima.

  ABAZZUKULU BAWAKANYIZZA

  Wabula olukiiko lw’Abazzukulu eggulo lwawakanyizza ebyokuddamu okulanga ne lulaga okutya nti kandibeera akakodyo Gavumenti eya wakati n’aba UNESCO mwe baagala okuyita okuggya obuyinza bw’Amasiro ku Mmengo mu kifo kya Nnaalinya basseewo kakiiko k’ekabeera kagaddukanya nga Nnaalinya afuuse wa mikolo gattako eby’okwongera okulwisa omulimu gw’okuzzaawo Amasiro ge bagambye nti galuddewo n’okuzimbibwa.

  Omuwandiisi w’olukiiko lw’Abazzukulu Mubiru Njuki yategeezezza nti, “Oba ssente ezaaleeteddwa Gavumenti z’ezireeseewo okutabulatabula waakiri basooke bazeesonyiwe n’abuuza nti ye lwaki Gavumenti yakoze endagaano ne Mmengo ku ssente ezo ng’ate kyategeezebwa nti bonsatule Mmengo, gavumenti ne UNESCO be bamu?” Abazzukulu batuuse n’okubuuza nti watya ng’azzeemu okuwangula ttenda Muyindi atamanyi bya nnono za Buganda.

  Ate omutongole wa Kabaka mu Ggombolola y’e Lubaga, Church Ambrose Bukenya, yagambye nti eky’okuddamu okulanga tekitiisa nti kubanga bw’olanga mu bulambulukufu obeera otandise ku nkola y’okulaga obwensimbu ekiyinza okwongera amaanyi mu byokusondera Amasiro gano.

  MINISITA ABYESAMBYE Minisita w’ebyamawulire e Mmengo, Charles Peter Mayiga yeebalamye ensonga eno n’ajuliza Ssemmambo eyagyanjizza mu b’amawulire n’abantu abalala. Waliwo abakunguba Kabaka nabo abaagambye nti tebasemba kyakuggya mulimu ku ba Omega. Aba Omega baagaanyi okubaako ne kye boogera.
  Jun 27, 2012 |

  #27968
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Nga be Mengo tebanayongera kussa mikono giziika baganda nakujjibwaako buli kantu anti kati byeebyo ebya Buganda byebasimbayo okufuna sente nga era kyebakola abaganda abalal abagenda okwewola nebasimbayo ebibanja ne ttaka lyaabwe olumala okubalaba nga basizaawo bussiness nga bajja bo bennyini ababawoze ssente nebagyookya nebamusaba abasasule sente zebamuwola nebamukasuka e luzira nebatwaala nettaka lye ne byonna byasimbyeewo
  Gvumenti lwaaki tekwaata sente Buganda zegibanja yo Buganda nemanya kyeyagala okuzikolamu
  Katikkiro emirimu gyamasiro nebyobuwangwa byaffe yandibigyeemu engalo kuba talinaamu wadde ettondo lyomusaayi eryagala obuganda ne byaayo atubulire bweyali azimba state house ya munywaanyi we yamala myaka emeka guno omulimu gwokuzimba ebyobuwangwa byaffe gulina kuweebwa bagazimba mu gwasooka , mukifo kyokulufuula oluyimba olutaliiko kkomo bonna abao mu banonyerezeeko bo byebekoledde mubbanga lino lyonna ba Ssekabaka baffe nga bali mu nkuba nomusana ekirungi kasita Buganda ogiraga omukwaano notambulira ku mateeka gaayo obaamu mirembe naye bwogifuula olusuku lwo nakattiro amadaala era ogivaamu totutte kintu nakimu.
  abeere nga muganda yakikola ku guno omulundi ajja kugenda nebatemu babbi banne abantu baffe babonyebonye ekimala

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.