Mmengo okwekulaakulanya ekutadde mu bya kuzimba

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Emirimu n Ebyenfuna / Employment and Busy-ness Mmengo okwekulaakulanya ekutadde mu bya kuzimba

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Kalibattanya Kalibattanya 7 years ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18705
    Kalibattanya
    Kalibattanya
    Participant

    Mmengo okwekulaakulanya ekutadde mu bya kuzimba
    Jul 30, 2012
    [attachment=2589]Muganzirwazza_2012-07-30.jpg[/attachment]

    Ekizimbe ky’obwakabaka bwa Buganda ekiyitibwa Muganzirwazza ekiri mu kumalirizibwa nga kyakuggulwawo nga July 30, 2012.

    Mmengo, Buganda
    Bya MUSASI WAFFE

    OBWAKABAKA bwa Buganda bumalirizza enteekateeka y’okuzimba ebizimbe ebiwerako wamu n’okukozesa ettaka lye bulina
    ng’agamu ku makubo okuggyamu ensimbi ez’okubukulaakulanya n’okukola emirimu egitali gimu.

    Enteekateeka eno ey’emyaka etaano yatongozebwa Katikkiro wa Buganda mu mwaka gwa 2010 nga yaakuwomwamu omutwe
    ekitongole kya Kabaka ekya Buganda Land Board ekyaweebwa omulimu okuzimba ebizimbe eby’enjawulo n’okukulaakulanya ettaka ly’Obwakabaka naddala eryo eritalina kyerikolerwako.

    Ekizimbe ekisooka ye Muganzirwazza ekizimbiddwa e Katwe, Kabaka Ronald Mutebi II ky’asuubirwa okuggulawo leero ng’ogumu ku mikolo gy’okukuza Amatikkira.

    Ekizimbe kino ekizimbiddwa mu ngeri y’omulembe kiriko ofi isi nnyingi ezigenda okupangisibwa amakampuni n’ebitongole.

    Omuwandiisi w’akakiiko ka Buganda Land Board Mw. Kyewalabye Male agamba nti oluvannyuma lw’okumala okuzimba Muganzirwazza baakuzzaako ekizimbe ekirala ekijjaokubeera mu mbiriizi za Butikkiro nga kino kyakubeerako amaduuka
    amanene n’ekisenge ekiteeserezebwamu ekinene wamu ne ofi isi.

    Omulimu gw’okukuba pulaani y’ekizimbe kino gwaweebwa kkampuni eyitibwa D-ZAYN kyokka nga kijja kuzimbibwa nga sikiwanvu abantu abanaakibeerako obutasobola kulaba biri mu Lubiri lwa Kabaka obutakontana na byabuwangwa.

    Ebizimbe ebitegekebwa okuzimbibwa bijja kwetaagisa ensimbi nnyingi nnyo Mmengo zeetalina n’olwekyo yakukwatagana ne bamusiga nsimbi basobole okubizimba biggwe.

    Ekizimbe ekitanaggwa ekiri e Bulange ekiyitibwa Bulange Plaza kyo kyakutandika okuzimbibwa omwaka guno era nakyo bwe kinaaba kiwedde kyakupangisibwa abantu bakoleremu emirimu gavumenti ya Buganda esobole okufunamu ssente
    ezikola emirimu.

    Omwogezi wa Buganda Land Board, Mw. Saulo Katumba yagambye nti bino byonna Buganda Land Board by’ekola essa mu nkola nteekateeka ezaatongozebwa Katikkiro okulaba nti Mmengo ebaako w’eggya ensimbi okusobola okweyimirizaawo.

    Yagambye nti omulimu gw’okuzimba guyinza okugenda empola olw’ebbula ly’ensimbi kuba mu kiseera kino tewali wava nsimbi zeegasa.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.