Mu Bwakabaka bw‘e Sweden bajaguza amatikkira ga Kabaka
Obwakabaka bw’e Sweden nabwo bukuza amatikkira ga Kabaka Ronald Mutebi II buli 31 Kasambula, nga bategekawo okusaba okwenjawulo mu lutikko ya St. Peters Church esangibwa mu kibuga Stockholm.
Lutikko eno eriraanye olubiri lwa Kabaka waayo, Carl XVI Gustaf Folke Hubertus, nga muno musabiramu baalulyo lulangira bokka.
Kabaka Hubertus yalagira ne basimbawo omuti ogwekijjukizo, nga guno gwatuumwa
omuti Omutebi era ng’ebikujjuko by’amatikkira ga Kabaka Mutebi II webabitegekera.
Omwaka oguwedde ebikujjuko bino byetabwamu Omumbejja Mpologoma Jane Kanaakulya eyakiikirira olulyo olulangira, abakungu mu Kabaka Foundation ey’e Sweden okuli; Rev. Ssematiko James, Katumba Abdul, Eng. Maxmas Muwuluzi, Radius Lubowa Mubiru n’Abaganda abalala abali mu Sweden.
Omuti guno olwaleero nagwo guwezezza emyaka 19 era gulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo ennyo guleme okukala.
BUSUULWA ASUMAN S