Muganzirwazza: Kabaka akiggulawo July 30

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #17964
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Muganzirwazza: Ekizimbe kya Buganda Kabaka akiggulawo July 30
  Jul 09, 2012
  [attachment=2576]Muganzirwazza.jpg[/attachment]
  Ekitundu ky’ekizimbe mu maaso

  Buganda
  Bya DICKSON KULUMBA

  KATIKKIRO wa Buganda Ying. JB Walusimbi yagambye nti okumalirizibwa kw’ekizimbe kya Muganzirwazza kabonero akalaga nti Obwakabaka buli ku misinde gy’okwekulaakulanya n’okuggya abantu baabwo mu bwavu.

  Okwogera bino yabadde akulembeddemu kabineti ye yonna okulambula omulimu gw’okuzimba ekizimbe ky’Obwakabaka ekya Muganzirwazza e Katwe mu Kampala ku Lwokutaano.

  Yayongedde okukinoganya nti Obwakabaka tebugenda kukoma ku pulojekiti eno yokka wabula bwakwongera okugunjawo pulojekiti ez’enjawulo omunaava ensimbi ezinaatambuzanga emirimu gy’Obwakabaka.

  “Omulimu ogukoleddwa ku kizimbe kino mulungi ddala era kituwadde amanyi nti tusobola okutandikawo pulojekiti ng’eno okusobola okufuna amakubo agawera agayingiriza Obwakabaka ensimbi,” Katikkiro bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okulambula omulimu ogukoleddwa. Katikkiro ne kabineti ye baabadde bagenze kwetegereza we gutuuse mu kwetekerateekera Ssaabasajja asuubira okugendayo ku nkomerero y’omwezi guno okukiggulawo.

  Ku lwa Buganda Land Board ewomye omutwe mu mulimu gw’okuzimba ekizimbe kino eky’emyaliiro ena, Kiwalabye Male yeebazizza Katikkiro ne kabineti ye okubassaamu obwesige okukolera obwakabaka pulojekiti efaanana bweti era n’asuubizza okwongera okuddukanya pulojekiti endala singa obuvunaanyizibwa bunaabeera bubaweereddwa.

  Kiwalabye yayise bonna abaagala okukolera emirimu gyabwe ku kuzimbe kino okutandika okusaba ebifo.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.