Mulindeko katono!!

  • This topic has 3 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #17636
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Bannange ebye miziro nga ndaba nga byemusobya? Lwaki mugamba nti mulina emiziro ena egitalinnya mu nsaka ewammwe? Mbadde ngamba nti omuziro ogwange gwokka gwesirya? No gwa maama wange nagwo sigulya ate?

    #19560
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kalibattanya omuziro gwa maama wo togulya awo oba nga lidde maama wo

    #19569
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    omumbejja wrote:

    Quote:
    Kalibattanya omuziro gwa maama wo togulya awo oba nga lidde maama wo

    Gwe guba gusoose? Olowooza mu lubuto lwe nnali ndyaayo ki etaali nnimiro? Naye nze bulijjo mmanyi nti omuziro ogwange gwokka gwessirya! Nze ndaba twongere okwebuuza tumanyire ddala ekituufu.

    #19574
    MugerekaMugereka
    Participant

    Abange omuntu okkugamba nti olide, olya, oba okkutuma nti genda olye nnyoko si kivumo?

    Nze ngamba nti omuziro gwa maama tetugulya, mu ngeri yeemu nga abantu bomuziro guno bwetutabafumbirwa oba kubawasa.

    #19576
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    kituufu kyoyogerako Migereko aba akugambye okulya nyoko aba avumye naye omuziro gwamaamawo togulya naye ogwa mujjawe gwo bweguba guliibwa gwo ogubweebweena

    #19938
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kalibattanya olikomawo ddi ?okyuusa omutwe guno watugamba nti tulindeko katono ffe twaali tutandise era kirabika yensonga ekyasibye buli muntu okukola kyateekwa okukola mu mu twe guno kuba, bakya kulinda wafuuka gwe kanyanya bwebakukasuka mu matabi waggulu nolalira ,tukooye okulinda kuba akatono kewatusaba kagwaako dda

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.