Mulwanyammuli Ssemwogerere: Katikkiro owa likoodi

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Omw Africa / The African Mulwanyammuli Ssemwogerere: Katikkiro owa likoodi

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #17926
  MulongoMulongo
  Participant

  Mulwanyammuli Ssemwogerere: Katikkiro eyalekawo likodi mu Bwakabaka

  MU 1992 kyali kitegeerekese nga Kabaka Muwenda Mutebi asazeewo okulonda Katikkiro we omubereberye, asikire Katikkiro wa kitaawe Ssekabaka Frederick Muteesa II.

  Mu kiseera ekyo Katikkiro eyaliwo ye Munnabuddu J.S Mayanja Nkangi. Era kyali kitangaaziddwa bulungi nti Kabaka asazeewo kulonda Mukatoliki y’aba alya Obwakatikkiro.

  Abagalagala b’omu Lubiri kye babeeredde, baasaasanya mangu olugambo nti Yinginiya J.B Walusimbi eyali ku lusegere ne Kabaka , ye yali agenda okulya Obwakatikkiro, era kwe kuwa Walusimbi amagezi abeere kumpi w’anaawulirira nga Kabaka amuyita okumukwasa Ddamula!

  Kyokka Kabaka bwe yayita Yozefu Godfrey Mulwanyammuli Ssemwogerere Omunnabuddu asibuka e Malanga mu Ssese era oyo gwe yakwasa Ddamula.
  Ssemwogerere eyasomera mu masomero agawera, diguli ye emberyeberye mu masomo g’ebyenfuna yagiwangulira mu Yunivasite y’e Dar es Salaam mu Tanzania mu 1968.
  katikiroaugsmulya.jpg
  Ssemwogerere ng’awaayo ebigali mu ssabo e Masaka.

  Newankubadde e Dar es Salaam Ssemwogerere yali muyizi ne banne nga muganda we John Kawanga ne mukwano gwe Yoweri Kaguta Museveni olwo nabo abaali mu Yunivasite eno, kyokka mu ngeri endala, Ssemwogerere yali munoonyi wa bubudamo okuva lwe yali adduse obuddusi mu Uganda nga Obote amaze okugoba kitaawe, Yasin Mulwanya ku bw’omumyuka bwa Kayima e Mawokota.

  Olwo nga Obote yeesomye, ekiruyi ayagala kukimalira ku b’amaka ga Yasin Mulwanya abaali bakkiririza ennyo mu Kabaka Muteesa.

  E Dar es Salaam, Ssemwogerere gye yasookera okulya ‘Obwakatikkiro’, Baganda banne abaali mu buwang’anguse bwe baamulonda okubakulira era ne bamukazaako erya Katikkiro. Oluvannyuma yeeyongera mu Bulaaya, okusomerera diguli endala mu byenfuna.

  Ng’akwasiddwa Ddamula, Ssemwogerere yatandikirawo okukola ebyafaayo naddala bwe yawoma omutwe mu kuteekateeka embaga ya Kabaka ng’awasa Nnaabagereka Sylvia Nagginda mu 199.

  Eggwanika teryalimu nsimbi zitegeka mbaga ya Kabaka kyokka Ssemwogerere yakubiriza Abaganda bafune ekinyegenyege basonde ensimbi Kabaka awase, olwo ensimbi ne ziyiika ng’amazzi, Kabaka n’akuba embaga etabangawo , era ebigambo okugenda okukkakkana nga ne Ssemwogerere atuumiddwa erya ‘Ssemwogerere ow’ekinyegenyege’.

  Ssemwogerere yalwanirira okutuddiza Ebyaffe, n’akuuka n’ejjembe era okumaliriza nga bingi abiggyeeyo ate n’ebirala biremeddeyo kuba yabiggya mu mannyo ga mpisi.

  Kyokka bbo abantu balamu tebasiima kubanga mu kifo ky’okusiima ebyo bye yaggayo, bbo baayogera kw’ebyo ebyamulemerayo, era ne batuuka n’okumwogerako ebya njwanjwa nti ab’e Kampala baamugulirira ebirala kye yava tabireeta! Bwatyo y’ennyika emmeeme n’asaba mukama we amukkirize okuwummula.

  Yawummula kyokka n’okutuusa kati y’akyalina likoda ya Katikkiro eyasinga okununula ebintu bya Buganda ebingi. Abaali bamwogerako nti yagulirirwa Kabaka yababoggolera obutakiddamu era okulaga okusiima kwe eri musajja we oyo,ye Katikkiro Kabaka gwe yaasinze okutonera ebirabo ebizito anti yamutonera kapyata w’emmotoka ey’ebbeeyi okwo n’amuteerako n’ekyapa ky’ettaka.

  Kabaka teyeerabira basajja be kasita babeera abaweereza abalungi , anti ne Walusimbi abagalagala gwe basooka okukookoonya Obwakatikkiro , kyaddaaki naye Kabaka yasiima okumukwasa Ddamula era kati ye Katikkiro.

  Ate era Kabaka, basajja be abakozi tagoba bagobe wabula awummuza bawummuze era ng’eyo gy’abawummuliza ate gy’abaweera n’obuvunaanyizibwa obulala, anti basajja be Mayanja Nkangi, Mulwanyammuli Ssemwogerere ne Dan Muliika abaawummuzibwa ku bwakatikkiro, abo Kabaka be yagonnomolako okutuula ku kakiiko ak’oku ntikko akamuwa amagezi ku ngeri gy’afugamu Obwakabaka bwe.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.