“Mutuggyeeko akajanja n’ebya Buganda.Betty Kamya

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Baliranwa / Neighbours “Mutuggyeeko akajanja n’ebya Buganda.Betty Kamya

  • This topic has 6 voices and 8 replies.
Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)
  • Author
    Posts
  • #19004
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant


    Ebya Buganda binzitira obululu -Betty Kamya
    51A.jpg
    MUKWABA KATENDE
    Akulira ekibiina kya Uganda Federal Alliance era nga mubaka wa palamenti owa Rubaga North, Betty Namisango Kamya atabukidde Obuganda bw’agambye nti, “Mutuggyeeko akajanja n’ebya Buganda. Abantu baddemu ku magezi. Baŋŋambireko.”
    Bino Betty Namisango Kamya yabyogedde oluvannyuma lw’okugaana Ekitiibwa kya Buganda okuyimbibwa mu ttabamiruka w’ekibiina kya Uganda Federal Alliance eyabadde e Namboole.

    “Nategese ekintu kyange nga nina ekigendererwa. Mumanyi ekintu kyange gye nkiggye? Bwe mubeera e Butambala oba mu lubiri, muyimbe Ekitiibwa kya Buganda naye guno omukolo tegwabadde gwa Buganda.

    Okugaana Ekitiibwa kya Buganda nakikoze kwagazisa ba bitundu birala Federo.” Kamya bwe yategeezezza Eddoboozi.

    Yagasseeko nti, “Abantu ababadde balemerako okuyimba Ekitiibwa kya Buganda balabe ababadde baagala okutabangula ekintu kyange. Abantu balina okumanya nti bw’oba otegeka okwanjula togenda nga weewaana nga bw’olina abakazi abangi. Omukazi gw’oyanjula olina kumubembeekereza okumusikiriza.”

    Kamya eyalondebwa okwesimbawo ku bwapulezidenti ku kkaadi ya UFA mu kulonda okubindabinda yagambye nti okuyimba Ekitiibwa kya Buganda kimufiiriza obululu.

    Ku lwokutaano kumakya, Kamya yeesitudde n’agenda awaabadde watudde abakiise abaavudde mu Buganda mu ttabamiruka w’ekibiina e Namboole n’abagaana okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.

    “Bannange mbeegayiridde temuddamu kuyimba kitiibwa kya Buganda. Mukiveeko kubanga kigenda kunfiiriza obululu, bannammwe ab’ebitundu ebirala tebakyagala.” Kamya bwe yabagambye.

    Bino byonna byaddiridde okusika omugwa okwamaanyi okwabaluseewo mu kulonda abakulembeze b’obukiiko obwenjawulo mu UFA okuli; abavubuka, abalema, abakyala n’abakadde ku Garden Hotel e Kawempe Mbogo.

    Abakiise abaavudde mu Buganda bwe baayimbye ekitiibwa kya Buganda bannaabwe abaavudde mu bitundu ebirala ne kitabayisa bulungi.

    Beti Kamya mu ttabamiruka wa UFA e Namboole

    “Temutuyisaamu maaso bwemuti, bwe muba temusobola kwesonyiwa kitiibwa kya Buganda tugenda kubaviira tuddeyo ewaffe.” Abakiise abaavudde e Karamoja ne mu Ankole bwe baaleekaanidde waggulu nga kiyimbibwa.

    Bwe baatuuse e Namboole ttabamiruka ng’aggulwawo mu butongole, olutalo ne lusituka buto, abakiise abaavudde mu Ankole n’e Karamoja nga beegattiddwako ab’omu mambuka bazzeemu ne beesuulamu jjulume nga tebaagala kiyimbibwe.

    “Ekibatta tekiriimu kubanga ffenna tuli ba wamu nammwe. Muyimbe ekitiibwa ky’ewammwe ekyo nakyo kiggwe okusinga lwe tudda mu kuneneŋŋana.”

    Abamu ku bakiise mu Buganda bwe baagambye bannaabwe kyokka abaabadde bakaayana baagaanye okuyimba ennyimba ezaabwe nga bwe kyabadde kisaliddwawo ne basigala nga batiisatiisa nga bwe baabadde bagenda n’okuzira okulonda.

    Abakiise abamu naddala abavubuka ba Nkobazambogo beekandazze ne bafuluma nga bwe balangira Betty Kamya obunnanfuusi n’okweyagaliza. “Bulijjo otumalira budde era ky’okoze kitulaze nti n’ebya Federo by’otinkiza nabyo si by’oliko. Federo tesobola kubeera watali kitiibwa kya Buganda. Twandikiyimbye kubanga abatakyagala ffe tubakyazizza n’olwekyo bwe tuligenda ewaabwe nga tuyimba ennyimba z’ewaabwe kubanga ekyo Federo ky’etegeeza.”

    Mengo Eyanukudde
    Omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga yagambye nti, “Kamya tubadde tumumanyi ng’omu ku bantu abafaayo ennyo ku nsonga za Buganda naye bw’aba ng’atandise okwekkiriranya, atuswazizza nnyo.” Mayiga bwe yagambye.
    Yayongeddeko nti Namboole ali mu Buganda era omukolo gwonna ogutegekebwa mu Buganda, Ekitiibwa kya Buganda kirina okuyimbibwa era nga n’abantu bonna ababa bavudde ebweru wa Buganda balina okukigumira.

    Kamya yava mu FDC ng’afunye obutakkaanya ne Kizza Besigye ku ngabana y’ebifo munda mu kibiina n’atandika UFA ku mulamwa ogwokulwanirira enkola eya Federo. Oluvannyuma yakiwandiisa ng’ekibiina ky’ebyobufuzi era ng’olukuŋŋaana luno mwe yaweredde okuyimba ekitiibwa kya Buganda ye yabadde ttabamiruka waakyo asoose naye nga yeetobeseemu emivuyo egitagambika.

    Vvulugu mu kulonda kwa UFA
    Ensonda mu UFA zaategeezezza nti Betty Kamya yasoose kutuuza lukiiko ku Yovani Hotel e Bakuli nga tebannagenda Namboole nga lugendereddwamu okulaba engeri ebifo gye bigenda okugabanyizibwamu kyokka baavuddeyo balwanye.

    “Ibrahim Nsamba ne Frank Matovu buli omu yagaanye okulekera munne era bwe twabakubyeko akalulu, Nsamba n’awangula Matovu n’atandika okulwana.” Omu ku beetabye mu lukiiko luno olwatudde ku lwokubiri lwa ssabbiiti ewedde bwe yategeezezza.

    Ensonda zaayongedde okutegeeza nti olukiiko bwe lwasasise Betty Kamya yakozesezza akakodyo ak’okuteekawo ebisale ebyawaggulu ku bifo ebyokuvuganya, ekyalemesezza ne Dr. Kibumba Waiswa eyabadde ayagala okumuvuganya. “Kamya asoose n’akubira Waiswa essimu n’amugamba ebyokwesimbawo abiveeko ye akalulu ke tebakazannyiramu. Waiswa bwe yagaanye n’ateekawo akakadde kalamba nti amuvuganya k’alina okusasula ate nga Waiswa yabadde talina ssente n’abivaamu.”

    Waabaddewo n’okwekengera nti abantu abasinga abeetabye mu ttabamiruka wa UFA baabadde ba NRM na FDC nga baabadde balowooza nti waabadde wagenda kubaawo okuyoola omudidi gw’ensimbi nga bwe gwali ku NRM. Obwedda abantu abasinga obungi tebafa na ku byabadde bigenda mu maaso, nga balinda kubasasula.

    Kyokka kyababuuseeko ku ssaawa ey’okusasula, baaweereddwa ssente eziri wakati w’omutwalo ogumu n’ebiri era abasinga obungi baasigadde batolotooma. “Twali twayita abantu 400 kyokka twewuunyizza okulaba nga tufunye abakunuukiriza 2000.” Kamya bwe yagambye.

    #27078
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Ffe abamu kino tubadde twakirinda dda era aluddewo nokubyogera waliwo abalowooza nti abantu bayinza okubatimba bbula okumala ekiseera nze lwenasooka okumuwulira byayogera namanyirawo ekiti mwaagwa okujja ekintu kimu abantu kyeberabira Yesu yagamba nti olinegaana kunsi nange ndikwegaana mu ggulu ewa Kitange.

    ABAGANDA MUKOZESE OMULUNDI GUNO NAMMWE OKWEGAANA BULI ABEGAANYE ERA MUVE MU BANTU NABO ABABAVUDDEMU KULUNO MULAGE KO KU BUSUNGU MUJJUKIRE BULI BANTU BAFFE BEBATUTTIRA TEBADDA
    ABANTU BERABIRA MANGU EBBANGA LINO LYONNA NGA BAGANDA BATTIBWA TERI WAGWAANGA DDALA YALI AYIMIRIDDE KUKATUUTI NAGAMBA NTI LWAAKI MUBATTIRA OBWEMAGE ?, NAYE BULI ALINA KYAABA OBA ALINA KYAYAGALA OBUGUGU ABUSIBA ABUKUNUMBYA MU BUGANDA WANO ABAANA BA BAKALAMOJA BASULA KU NGUUDO NAYE TOWULIRA NTI OMWAANA WO MUKALAMOJA BAMUSADAASE ERA BONNA GYE BAVA EWAABWE BONNA BAYINGIRA KYEERE MU BUGANDA WANO TEESO BWEBABADDEKO ENJALA NABAANA BA MASOMERO MU BUGANDA BABASONDERA EZE MMERE NE NGOYE , NAYE OKUBA NGA BASINZIIRA MU BUGANDA BAGAANE BANYINI NSI OKUYIMBA EKITIIBWA KYAABWE ……ABAGANDA KATI KYEKISEERA MUZIBUKE AMAASO MUSOOKE MWERWANEKO

    #27079
    Mirembemirembe
    Participant

    Mukyala Betty Kamya werimbye nyo nyo era oswazizza nyo O’Buganda. Gamba watwekwekamu dda nga tetumanyi Olabye nyo okulya munsiyo olukwe. Ogana otya abantu okuyimba ekitiibwa kya Buganda nga bali munsi yabwe nti temunyononera bululu. Lwaki obuzabuza abantu. Ate nsaba nyo nyo oleme kuyitiramu ddala. Abazukulu ba Nkobazambogo mwakoze bulungi nyo ddala. Abantu abalinga oyo omukyala Kamya bwebatandiika okwogera ebyekitumbavu mweyongereyo mutambule mubavire. Gwe Betty Kamya lekerawo okutumanyira wessa kubatakuliko ate lekerawo nokubuzabuza abantu nti olwanirira FEDERO nga ate olwanirira bya mukamawo M7 nabalala. Toddayo okusalimbira mubitundu byaffe genda e Karamoja n’e Acholi. : :angry: :

    #27082
    BusagwaBusagwa
    Participant

    Kozzi bagamba nti “akanaafa tekawulira Ngoombe”..kati ono Omukyala eyazalibwa Munnakenya ate nafumbirwa Omunyankole
    amaanyi yagajjewa okugaana abantu okuyimba Oluyimba lwaffe
    mu BUGANDA??Betty Kamya akufuuyira emmindi Munyarwanda!! Kubantu baffe bebatta abalala babasibira bwemage notandika
    okuvvoola Obuganda!!Gira osibemu ebyanguwa..nkuwa ga buwa!

    #27083
    Moseki3moseki3
    Participant

    Basseruganda ne ba Nanganda, Amazima tegekweka,ate galinga nkato. Kino kikuuno erwe ebigambo bya Betty kamya, era bagamba nti eryokkanga nettonya netulaba ensisira bwezenkanya emyoyo, kale oyo abaganda gwebabadde batinkiza naye. KATONDA ATENDEREZEBWE OLWEBYAMAGERO BYATUKOLERA OKUTWOLEKA ABALABE BAFFE ABABADDE BATWEKWESEEMU NGABAMBADDE AMALIBA GENDIGA NGA MUNDA MISEGE, ABALINA AMAASO MULABE NABALINA AMATU MUWULIRE KYEKISEEERA OKUWEMUKIRA ABO ABATWEKWEKAMU.NEBWEBULIBADDI AGENDA KUBITEBYA. ABAGANDA TUKOOYE OKUTUFUULA AMADDAALA AWANGAALE SSABASAJJA KABAKA. (Mulyannaka)

    #27084
    Mirembemirembe
    Participant

    h2.jpg

    EMYEZI etaano gyokka egiyise, Meeya wa Kampala Nasser Sebaggala yagenda e Mbale mu Bugisu ng’aliko n’obumansuka. Yasaba aba DP bamulonde ku bwassenkaggale agende aggye Museveni ku bwapulezidenti, mbu kubanga ensi emutamiddwa.

    Aba DP oyo baamuyita ‘wolokoso’ era tebaamulonda. Bwatyo n’anyiiga era n’ekibiina n’akivaamu, mpozzi n’okumuwona bagenda okumuwonera ddala.

    Oba ng’aba DP Sebaggala baamuwona, bo aba NRM tebamuwonye era kati bali bukwata ng’amalusu n’eddookooli! Agamba nti ekimututte mu Muvumenti kwe kuwagira Museveni asigale ku bwapulezidenti kubanga ensi ekyamwetaaga.

    Oyo nno ye folofotto ali mu byobufuzi. Bannabyabufuzi bavumirira n’ebyo ate bye basinga okwagala! Sebaggala ebiseera byonna abimaze mu kuwalakata Museveni ng’atutegeeza nga bw’ajja okugenda tumuwone kubanga ensi emukooye. Ate kati muwulire Seya wuuyo y’asinda omukwano nti ‘ku Museveni ono kwe nteeterera!’

    Jjuuzi Museveni bwe yali ayogera eri ab’ekibiina kye e Namboole, yavumirira bannabyabufuzi abaddidde ebyobufuzi ne babifuula omulimu ogw’okwefuniramu ensimbi ez’okweyimirizaawo. :laugh:

    Bw’olaba oyo abadde akuwalakata ate ne yeekyusa n’adda mu kukunyonyoogera ng’omanya nti azze mu folofotto wa kukunoonyaako byakulya. Kale sooka weebuuze Sebaggala ali ku ki?

    Bwe kiba kunoonya byanfuna waliwo abawagira Sebaggala nti akoze kyamagezi okusemberera ddala ku lujjuliro lw’ensimbi. Bagamba nti gy’agenze ayinza okufunayo by’anaawa basseya be be yasuubiza okunnyukanga ku mirimu gy’ekibuga nga bakutte akaveera akalimu ebyokulya.

    Naye ate watya Ssaabaseya ensimbi aziteeba eyo gy’agenze, kyokka era n’aziteeka mu kaveera ke obw’abalala n’abwerabira?
    Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku! Teebereza omuntu okubeera awo ng’abaguyaaguya, yeevumyavumya Museveni sso nga ku oyo kw’ateeterera!

    Kale awo n’ogamba nti ye omuntu muntu ki?
    Nedda bagundi mutuggyeeko folofotto wammwe! Kaakati mweyiye mu nsiike ey’okuvuganya ku bwapulezidenti 40 n’omusobyo sso nga bangi ku mmwe
    mutuliira munda nga misege. Mwesimbyewo kusobozesa muntu wammwe kuyitamu, kale lwaki mutusiba ekiwaani?
    Mmwe, mmwe bwe mutaalekere awo kuba bannanfuusi ba byabufuzi, Mungu atuuse okubakuba ebbalaayi mu folofottoke ne Seya zammwe zisaabulukuke. Sibalimba!
    source

    #27088
    MachatiMachati
    Participant

    Mu article eno wansi eyafulumidde mu Gwanga, Betty yabadde tayogedde bubi. Naye kyeyagambye mu Eddoboozi nti abantu muddemu amagezi, kyandabikidde nga ekivumo eri Abaganda bonna abagala okuyimba ekitiibwa kya Buganda. Obuganda bwelwanako okutaasa abaana baabwo abattibwa buli lunaku nga Obugamba bwebutalina magezi? Kuno si kuyiwa kamulali mu bbwa? Okugaana abantu okuyimba oluyimba lwe gwanga kiringa kuyuza nakwookya bendera ya ggwanga. Musango gwa naggomola. Ayinza okuabanga ddala Betty abadde anoonya kuteereza bintu, yadde yakiyise kintu kye. Era kisoboka okuba nga bino byonna byamusimatuse busimattusi, naye nze ndowooza ebyobufuzi abiveemu. Kubanga siwa muntu yenna magezi okuva ku bino byeyayogede kuddayo kumutwaala serious, kumwononerako kalulu konna.

    Federo tegenda kuva mu kkerere- Kamya .
    bettuy.jpg
    Gwanga -Musasi Waffe
    Ebibiina byobufuzi bingi ebikulembeza omulamwa gwa federo, okugeza mu Germany waliyo Germany Federal Party, mu Belgium The Federal Party Of Belgium, n’ebirala bingi.

    Erinnya lyaffe litegeeza nti omuntu ayambadde ekintu ky’ayagala . Omulala ayinza okugamba nti ye wa ‘Democratic Change’ ekitegeeza nti kyaggyayo ennyo mu by’alwanirira y’enkyukakyuka.

    Abalala ba Democratic Party ekitegeeza nti enkola ya demokulaase y’ebasula ku mwoyo .

    Ffe tuli ba federo era y’etusula ku mwoyo.

    Toyinza kutya nti bwe tutaafune bululu kijja kulaga nti federo teyagalwa. Kati Democratic Party bw’etaafune bululu olwo nga kitegeeza nti abantu tebaagala demokulaase?

    Abantu bayinza obutatuwa kalulu olw’okuba nga tebannategera federo. Naye ne bw’ofuna obululu emitwalo 50 kati, nga mu 2006 tewafunayo kalulu ka federo konna, oba totambudde bubi.

    Tusoma eddiini ey’Ekikulisitaayo, emaze emyaka 2000, naye ku bantu obuwumbi 6 mu nsi yonna, obuwumbi 2 bwokka bwe bw’Abakulisitaayo.

    Tugambe nti eddiini ya Kulisito mbi era abantu baagikyawa ate nga tugamba nti lye kkubo lyokka eritutuusa mu Ggulu?

    Ffe tukutte ekibadde kizitoowerera abalala, naye waliwo abalowooza nti kyangu okukitusuuza.

    Okubeera obubeezi mu palaamenti n’okuba kkerere bw’omala n’ofuna omusaala gwo!

    Paalamenti eno nga bw’efaanana, tukuba bukubi kkerere ne bakuwulira nti wayogeddeko. Pulezidenti Museveni ky’ayagala kye kiyitamu. Nze paalamenti efaanana bw’etyo tekyansikiriza.

    Ekizibu ekiriwo kati, federo tetugiteekerangawo nteekateeka ya nkalakkalira . Era bw’obuuza ababaka federo b’erina mu paalamenti, tewali ayinza kubakulaga.

    Obululu tumanyi FDC, DP, CP ne UPC bwe bazze bafuna, naye teri amanyi bwa federo. Kye tuvudde tuleeta akabonero ak’entugga, tulambe obululu bwa federo, tusobole okububala.

    Ka bubeere 5000, tumanye nti ku obwo kwe tutandikidde.

    Abo abagamba nti Uganda Federal Alliance kyali kibiina kyabwe, bansesa busesa, kubanga nze sibamanyi era sibalabanganako.

    Agamba nti waliwo abankozesa, kaakati ye gwe batakozesa akozeewo ki era yaakafunawo ki?
    Nze nsobola okugamba Bannayuganda nti e Kabaale ntaddeyo omuntu avuganye ku bubaka bwa paalamenti ng’ayogerera federo. N’e Lango, Ankole, n’awalala bwe ntyo.

    Tosobola kugamba nti federo ojja kugifuna ng’oyogera bwogezi. Oteekwa okuteekawo enteekateeka n’abantu gye balabako, wabula si kkerere yokka.

    Okugamba nti bajja kumpita bansuuze federo, nange nja kubayita, naddala Ken Lukyamuzi, mmugambe nti eyo mu IPC gy’otutte federo yaffe bajja kugitugirayo. Mu IPC federo tebamwogeranako.
    Beti O. Kamya

    Y’akulira Uganda Federal Alliance

    #27113
    KulabakoKulabako
    Participant

    Nagawonye, Mukulukusa bitungotungo 01, 2010 Awasooka Ekirowoozo Alipoota Ekimeeza Ebbaluwa Ebyemizannyo
    + Amawulire amalala
    Beti Kamya yeekokkodde Abaganda- muli bazibu nnyo
    KAZIBWE BASHIR MBAZIIRA
    Omukulembeze wa Uganda Federal Alliance, Beti Namisango Kamya ayongedde okukawaŋŋamula nti, “Abaganda bazibu nnyo era si ba kufuga Uganda. Ky’ova olaba ng’abaamawanga amalala bakyatufuga nnyo.”

    Namisango Kamya bino yabyogedde mu kwanukula amawulire agaafulumye mu Eddoboozi ly’olwokubiri nga galaga nti yagaanye ekitiibwa kya Buganda okuyimbibwa mu ttabamiruka w’ekibiina kye e Namboole.
    Abaganda bazibu nnyo, si baakufuga uganda
    Namisango Kamya, muzzukulu wa Mugalula ow’e Nseenene nga yava mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) yategeezezza ng’Abaganda bwe bakyalina okulinnya olusozi olwamaanyi okutuuka mu buyinza.

    “Nali simanyi nti Abaganda bazibu nnyo bwebati okutuusa lwe nnyongedde okunywerera mu by’obufuzi. Ky’ova olaba tetujja kutwala buyinza era bakyatufuga nnyo.” Kamya eyabadde n’omumyuka w’omukulembeze wa UFA mu Buganda, Frank Matovu bwe yategeezezza Eddoboozi mu mboozi ey’akafubo.

    Matovu yakkaatirizza nga bwe kyennyamiza okulaba ng’Abaganda bennyini be balwanyisa baganda bannaabwe mu kifo ky’okubawagira okutuuka mu bifo by’obukulembeze.

    Kamya yategeezezza nti ekizibu ky’abantu ba Buganda kwe kulowooleza mu by’obufuzi by’okukozesa amaanyi n’okwogera ennyo mu kifo ky’okukola ennyo. “Abantu balina okuva mu by’obufuzi ebya waalaala (wolokoso) kubanga tebirina kye bigenda kutuyamba.”

    Amangu ddala ng’amawulire gaakafuluma, Beti Kamya yayita bukubirire abamu ku bannakibiina kino mu nsisinkano y’okutema empenda ku ngeri y’okwerongoosaamu era nga n’ebimu ku byasalibwawo kwe kweyambisa emikutu gy’amawulire.
    Era bwe yabadde ku leediyo emu mu Kampala, Kamya yagambye nti, “Aba Eddoboozi banneetondedde, era nategedde nti baabadde baagala kutunda mawulire gaabwe. Nabasonyiye.”

    Omukuŋŋaanya:
    Wadde Beti Kamya yagambye bw’atyo, naye tannaba kutuukirira ba lupapula luno era terunnaba kumwetondera.

    Mu Eddoboozi ly’olwokubiri, Kamya yategeeza nti, “Mutuggyeeko akajanja n’ebya Buganda. Abantu baddemu ku magezi. Baŋŋambireko.”

    Yagattako nti, “Nategese ekintu kyange nga nina ekigendererwa. Mumanyi ekintu kyange gye nkiggye? Bwe mubeera e Butambala oba mu lubiri, muyimbe ekitiibwa kya Buganda naye guno omukolo tegwabadde gwa Buganda. Okugaana ekitiibwa kya Buganda nakikoze kwagazisa ba bitundu birala Federo.”

    Omu ku bayambi ba Kamya ataayagadde kwatuukirizibwa mannya olwobukulu bw’ensonga eno, ategeezezza nti “Kamya yayisiddwa bubi nnyo olwamawulire ago okufulumizibwa kubanga bye yayogera yali tasuubira nti binaamuviiramu obuzibu obuyinza n’okumufuula ng’omulabe wa Buganda.”

    Ng’omu ku kaweefube w’okutaasa ekibiina kye ekyazimbirwa ku musingi gw’enkola ya Federo, Buganda gy’erudde ng’erwanirira, Kamya yasinziira mu lukuŋŋaana lw’abaamawulire olwatuuzibwa ku kitebe kya UJA mu Kampala n’awanjagira ab’amawulire okumuyamba “obutasajjula mbeera eno kubanga ekibiina kino nkiggye wala wakati mu kaweefube w’okwagazisa abantu enkola ya Federo.”

    KITUUFU TETWAYIMBA KITIIBWA KYA BUGANDA
    Kamya bakira alabika nga mukkakkamu yategeezezza nti ddala kituufu ekitiibwa kya Buganda tekyayimbibwa mu ttabamiruka w’ekibiina kye olwokutya okunyiiza abantu abaava mu bitundu by’eggwanga ebirala. “Omukolo ogwo gwali gwa ggwanga lyonna era abaali baagala tuyimbe ekitiibwa kya Buganda balabe bennyini
    ab’enkola ya Federo n’olwekyo abantu abalala bandikitutte ng’okubayisaamu amaaso.”Mu ngeri y’okwongera okunnyonnyola, Kamya yategeezezza ab’amawulire nti “ekyokuyimba ekitiibwa kya Buganda mu ttabamiruka eyalimu abantu 1600 nga ku bano 400 bokka be baava mu Buganda, kubeera kulaga malala na ggume eri abantu bano be tukyasendasenda okuwagira enkola ya Federo.”

    Munnamawulire wa Eddoboozi yamubuuzizza oba ng’alina ekikyamu kyonna ky’alaba mu mawulire agaafulumizibwa ku lwokubiri wansi w’omutwe; “Kamya yeefuulidde Kabaka”, omubaka wa Rubaga North ono yalemeddwa okusonga awatuufu w’alaba obuzibu wabula ng’agamba kimu ng’okufulumizibwa kw’amawulire ago bwe kwamukoze obubi n’ekibiina kye, ky’agamba nti kyenyumiriza nnyo mu nkolagana yaakyo n’Obwakabaka bwa Buganda.

    Mengo esekeredde Kamya

    Ekubye ebituli mu Federo ye
    MUKWABA KATENDE
    Obwakabaka bwa Buganda bukubye ebituli mu kika kya Federo Omubaka Beti Kamya gy’atambuza ne bagamba nti enkola yaayo si nambulukufu.

    “Federo ey’okulowoozesa abantu nti olina kwegaana kitiibwa kya Buganda mu Buganda okwagazisa ebitundu ebirala enfuga eya Federo erimu obuzibu.” Ssaabawolereza wa gavumenti y’e Mengo, Owek. Apollo Makubuya bwe yagambye.

    “Twagala Federo nga Kabaka waffe asigala ku ntikko ng’ekitiibwa kya Buganda kiyimbibwa wonna mu Buganda awatali kukuba bantu ba Kabaka ku nsolobotto era ng’obuwangwa, obulombolombo n’ennono za Buganda zonna zissibwamu ekitiibwa”.

    Yayongeddeko nti “Federo Buganda gy’eyagala omuntu yenna agirwanirira nga ddala agitegeeza. Alina okufuba okulaba nga buli kitundu kissa mu kinnaakyo ekitiibwa, nga bw’ojja mu Buganda oyimba ekitiibwa kya Buganda, bw’ogenda e Mbale togaana baayo kusala mbalu, nga bw’ogenda e Teso, Ankole, Bunyoro n’ewalala tobagaana kuyimba bitiibwa byabwe. Makubuya bwe yannyonnyodde.

    Yagambye nti, “Beti Kamya tolowooza nti waliwo akuwalana yadde atayagaliza kibiina kyo ekya UFA wabula tulwanirira nsonga za Buganda.” Makubuya.

    Minisita e Mengo ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti kino ky’ekiseera abantu bamanye nti si buli muntu atinkiza n’ensonga za Buganda nti ab’azaagala nnyo. “Kamya kano ke kabonero ke ak’okungulu akalaga ekiri munda. Kye yakoze kyefaananyirizaako n’omuntu eyeefuula adduukirira abantu abagudde ku kabenje ate n’atandika okubanyagako ebintu byabwe.”

    Abaganda baanukudde Kamya
    Omubaka wa Mukono North, Betty Nambooze yagambye nti Beti Kamya abadde akozesa Federo okwongera okugikyayisa abantu mu Buganda n’ebitundu ebirala.

    “Omuntu bwe yeegaana eggwanga lye mu lujjudde e Namboole aba takyalina njawulo na b’alwanyisa. Okuwandiisa Federo ng’ekibiina ky’ebyobufuzi yali nsobi nnene nnyo Kamya gye yagwamu. Olwokukola ebintu bye ng’apapa twamuwabula nti okufuula Federo ekibiina ky’ebyobufuzi ajja kusanga ekizibu kinene nnyo mu bantu b’ebibiina n’ebitundu ebirala ebyagala Federo by’alina okwegatta nabyo.”

    Nambooze yayongeddeko nti twayongera ne tumutegeeza nti singa weesimbawo ku kkaadi ya Federo n’ofuna obululu butono nnyo ogenda kuba owadde omwagaanya abantu abagirwanyisa okutukajjalako nti eyeesimbawo ku Federo yafuna obululu bumeka?, ekiyinza okuvaako abantu okwongera okugikyawa naye byonna teyabiwuliriza.”

    Yagambye nti “Kya nnaku nnyo mukwano gwange Kamya okugwa mu katego akalemeddwa Abaganda abazze bafaanana nga ye okukabuuka nga balowooza nti weetaaga kuwaayo Buganda okulwanirira ebya Buganda.”

    John Ken Lukyamuzi ng’ono amanyiddwa nnyo mu kulwanirira enfuga eya Federo yagambye nti, “Kamya Federo gy’oyagala ya kiwaani. Bw’oba nga tolina akukozesa kukyayisa Federo, kwatamu ebibyo weesonyiwe enfuga eya Federo kubanga kye wakoze walaze ensi yonna nti tomanyi Federo ky’etegeeza.”

    Lukyamuzi agamba nti mu bika bya Federo 8 by’amanyi, eya Beti Kamya teriimu era nga tewali na nsi yonna gye yali ewuliddwa. Yagambye nti amanyi eya America ng’obuyinza bwonna buba bwa pulezidenti, eya Australia, erwanirira abantu abatono abanyigirizibwa era ng’eno ebika 64 ebiriyo byonna bikulaakulanira ku misinde gya yiriyiri, eya Arusha ne Tanganyika nga nayo terina njawulo na Australia.

    Mu ndala mulimu eya Malaysia, Canada, Switzerland, United Arab Emirates ne Germany. “Kamya vvaayo otunnyonnyole eyiyo egaana abantu okuyimba ekitiibwa kya Buganda ekiti ky’egwamu.” Bw’atyo Lukyamuzi bwe yamusoomoozezza.

    Omukungu mu kibiina kya FDC, Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo yagambye nti, “Twabagamba dda. Ebyo bye mulaba kikyali kituuza. Oyo twamwerabira dda nze ssaagala kumwogerako. Mukyalaba nnyo ennaku abakyalina obwesige mu bantu nga Kamya. Ffe twamufiisiza ddala. Era Mukama oyo atalya nguzi atandise okuggyayo amazima amatuufu ku Kamya. Abamu baali balowooza nti mpalana yaffe naye nedda, bikolwa bye.

    #27114
    KulabakoKulabako
    Participant

    comment za bantu

    Tuwulidde nti betty olive asubidwa ministry ya regional tier mu 2011!!!!!!

    Nze beti nga nkyaaaye abaganda… . muyinza mutya okwonoona ekintu kyange ! gyenkijje mumanyiiyo? kale munsubizza buli kimu. :angry: kati nze sente zabandi nazigyawa? :dry: nafudde nyabo eyanzaala nkole ki kati? :huh: omulimu gwe bampa gunemye , fdc weeli, ipc ne suubi webiri ,ne dp nayo teyinza kati kundowoozako !!! kale ndowooza ki hajji kyekigezi B) nveeyo mulujjude nga mutagambwa! prrrrrrrrrrr– allo Namisango nze seeya!munange tokaaba nyo ffembi batugudemu abaganda :S nange nalemwa okumenya dp baali bansubizza ministle ya ‘ yinvestimenti solite‘ naye baginyimye bajja kumpa bwa
    selebulate heedi kampala mayor‘. kati gwe njakuwa ekibadde ekya Kijjambu tofaayo si kikulu tetulina budukiro. seeya ogambye ki? :unsure: selebleti heedi kampala mayor he naye naawe kiri ceremonial head!! leka naawe si byebimu? naye olive nkusubiiza ekya kijjambu wabula wakula onsiinga na kiri ki nabasegera e kiyaaye. B) ha ha haji ! :blush:

    twaha junior
    betty kamwa talina njawulo na ssebagala,ekubo lyabwe lyelimu,nempera yabwe bagilindirire,movement wenabatusa baja kukakasa nti wokya.banauganda balina okutegera nti abulimba,obubbi,enkwe,nobulyake ebiva mu bantu abanaku enyo mu myoyo,abalina emitima egye milulu,emigumba,ate nga mikyafu okukira enziro batulumba,naye ekubo lyamazima temusibwa misanvu.tukole byona byetukola okununula eggwanga lyaffe naye tetulina kwerabira kusaba katonda abalunggamwe bave kubulyazamanya,ensi eterere.

    ekintu kyange! mumanyi gye nkiggye!!!
    bwaba ddala nga beti kamya yayogedde ebigambo ebyo: nategese ekintu kyange nga nina ekigendererwa, nti era ekintu kyange mumanyi gye nkiggye?, awo kiraga bulungi nti beti kamya mutuufu nnyo okugamba nti abaganda bantu bazibu nnyo, kubanga by those words, kamya becomes the personification of obuzibu obwo. obuzibu bulijjo buli mu mulugube oguziba omuntu amaaso ku bwetaavu bwabalala naaba nga ebigendererwa bye kyekintu kyokka kyakolerera. kale oba yategese ekintu kye ng’alina ekigendererwa, njagala atubuulire bulungi ekigendererwa ekyo, era atulage bulungi mu lupapula luno ekigendererwa ekyo bwe kyandibadde derailed by the simple fact that the baganda who belong to her alliance wanted to identify themselves with who they are, namely, baganda from buganda loving buganda. does their love for buganda exclude any other love for anything else? they were aware that many other people from other regions were present for the event. if they hated them, they would not have attended the event in the first place. their presence at the event is proof that they did not detest any one for where they come from. yes, beti kamya oli mutuufu okubamba nti abaganda bazibu, naye your statement needs to be qualified. you would have said that some baganda bantu bazibu, like you. oli muzibu. oli selfish. watandise ekintu kyo. kikyo era kigenderera kutuukiriza bigendererwa byo so si bya uganda oba bya buganda. nnyabo oli mutuufu okubuuza nti oba abaganda bamanyi ekintu kyo gy’okiggye. nnyabo nkuddamu nti simanyi gy’okiggye kubanga abaganda ne uganda yonna okutwalira awamu, tulina ebigendererwa ebyawukana n’ekigendererwa kyo; kubanga singa ekigendererwa kyo kibadde tekyawukana na kya buganda, wandibadde tokontana na bakiise ba buganda ababadde ku lukiiko lw’ogamba nti lulwanirira federo ate nga omuntu avaayo okulaga kiki kyali omutangira ng’alwanyisa ekigendererwa kyo awamu n’ekintu kyo. kale nnyabo kukuta n’ekintu kyo tulabe gy’onokikomya. eyo yensonga lwaki abantu bangi bekengera abaganda abamu

    katonda atuyambe!
    kamya alaze omutima omukyafu enyo. omutimagwe gulinga ogwo ogwa sebaggala. kansubire nti abantu be rubaga bamulaga ki kyali ne bamugya mu ntebe gyalimu eyo ate museveni gyagya okumulonda amuwe obwa minista ndowooza kyekimutta naye kati atuviire ku nsonga zaffe eza buganda.

    1 banange abanyoro muve ku byaffe!lwaki mulumwa nyo ebya buganda ewamwe temulinayo kibaluma?. 2 njagala mpabule omunyoro oyo nti kabaka waffe si’ king’ kabaka is above kings . tewali muganda yali ayisse kabaka nti king ,okujjako abatategeera byaffe anti bwebogera oluganda nebalowooza nti bayinza okutubuzbuza tubayitte abaganda. gwe ekyo kukwanuude oluganda ne’nonno zaffe oyiga njige. mutwesonyiwe mwe ba binaisa’ gyonvagyenzira

    abatali baganda muyige ekyaama kino
    abaganda nga ogyeeko ba binaisa ne banne abendowooza nga eyiye twatamwa dda nyo nyo. tukooye okutumanyiira nga ate bwetufiirwa musirika busirisi, tebibakwatako!, naye bwemulaba ekitusanyusa nga muvumirira olwo’bujja no’bukyaayi, ne’nsaalwa gyemukweese.bwetugaana okukirizza ebyamwe ngamugamba twemanyi fekka. ekikutte obudde kiri buta awo tugenda kunyonyola lwaki ensaalwa yamwe ebasudde


    okutemyako oyagala wa mbazzi

    lwaki abantu mwerimba nti mugenda kuyita mu kalulu okuleeta enkyukakyuka mu uganda? beti kamya musaasidde okuva mu buganda ate natamanya baganda bwetufaanana nebyetwagala. yeefudde ekyo kyatali nayagala asanyuse abeebweru nga abo munju tebannalya. aleme kutulowoozesa nti buganda yetoololera kuye. ne mutere gwasibye abaganda tetujja kumugula amuguze banywanyibe abava ebweru wa buganda. akalulu kekamuyinudde oba birala? bwekaba kalulu akobye mu kyakkobe.. kuba omukulu w’eggwanga, mu bbanga eritali lyawala eriyise, yakyogera kati ngali ku kitebe ekikulu eky’ebugwanjuba nti bo ng’abaalwana, tebayinza kuva ku bufuzi nga n’esente za mafuta zitandise okufunibwa. balina kusigala ku bufuzi okukuuma sente zino. nkakasa nga ekyogerwa era kyekitegeezebwa, nolwekyo oba mulunda oba temulonda, mukulu museveni ne banne, sibetegefu nakatono okulekulira entebe y’obukulembeze. ebibiina okwetaba mu kulonda okwa 2011, kigenda kuweesa buweesa museveni bisaanyizo nti yaawangudde okulonda kuba avuganyiziddwa. lwaki aweebwa bya tasaanidde ku kufuna? mugaane, kuba okusinziira ku mbeera nga bweri, okulonda nga kwesimiziddwa ku mazima n’obwenkanya, tekusobola kubeerawo. wuliriza ate oyige…. ate embulire…

    beti yewunyisa
    mwmulabye mu likiiko lwa bamaulire abatali ba federo naabtagaala buganda ye bagala buganda ayambadde kiteteeyi ate mu lukiiko lwa federoye abtayagala bya byganda yesumisse gomesi!!! oli kasobezza nyabo!

    betty ali confused
    betty olabika ne federo gyogamba gyoyagala okuleeta gwe wenyini togitegeera era gwotabula abantu bamawanga amalala.mubutuufu betty wetaaga kusomesebwa buto federo gyetwetaaga mu buganda efanana etya?

    kamya ye nakiggwanyiizi
    nzize ngoberera beti kamya okuviira ddala mu fdc era okusooka naloowoza nti olumu aliba mukulembeze wa uganda. wabula bweyatan a okusalaganya ebigambo mbu baagana okumulonda mu fdc olwokuba nti muganda nagaana okukkiriza obuzibu bwe natan a okumulabamu ebutiri nga enjogera yenakuzino bwegamba. yawa ensonga nyiingi nga alnangira fdc nga bwe yali emenye ssemateeka yaayo so nga ye ye yali ayagala bagimenye bamufuule ssentebe we kibiina kino. eno yenkola yemu gyatutte mu kibiina kye era mutuufu okubuuza mbu ‘ekintu kyange mumanyi gyenkiggye?’ ono yemukazi omu eya tunda aba fdc mu 2006 nga asomola ebyama nabiguza oludda lwa gavumenti mbu nga ayambala akakaya nagenda asisinkana abanene!!!! banange tuzukuke era tumwesonyiwe tumusibire ekikokolo. nsaba abantu mwena muleme kukombya bantu besimbyewo ku kadi yekibiina kye kalulu yadde!! emu ku mpagi za federo kwe kumanya era nokiriza nti abantu banjawulo mubitundu bwabwe era ne’byetaago byabwe byanjawulo nga eno yensonga lwaki abantu abo bekolera gavumentiu eyabwe basobole okukola ku nsongazaabwe nebwobuwanga byabwe kati nga ffe a’baganda. namawanga amalala mu yuganda ggalina ensonga zaago zegandi yagadde okwekolerako nga abacholi, abateso abanyoro nabalala. kyewunyisa nti kamya ekintu ekikulu nga kino ye a kirinamu obuzibu kati anakolagana atya nabo nga ye eggwanga lye alyegaanyi? nzijjukira okulaba omubaka kamya nga ayambadde nga abakaramoja nga ali mukuzina mazina gaabwe bbo nga tebamuswalira!!!!!oyo nakyeggwanyizi

    kibalama martin mu kiyembe ;. mukyala kamya bwogamba nti buganda terifugga,look beyond your self

    owange mukyala kamya olina okimanye nti ssosolya bwataffa atuka kulyengedde

    kale bwogamba nti buganda terifuga nze ngamba nti olimba.kino bwoba osizidde ku kibina kyo aba “ekintu kyo” nga bwewakiyisse wandiba omuntufu kubanga your party has started a journey to its downfall and this can be evidenced right from from the preveiling events and your ideology that “uganda is ready 4 awoman president” which is not true (it needs 50years from now and beyond) kale bwogamba nti buganda terifuga nga osizidde kugwekenyini your hav to look beyond yourself.mu butufu sagala kulimba era osanidde okimanye nti buganda is the heart of ugandan politics therefore takecare to avoid future embarr ements (2011 elections).ate tewerabira nti “kyerabirwa mugambi”.ggulu ddene ankumire lukoma nantawetwa ssabasajja kabaka empologoma ya buganda nantakwata “callbox”

    abagwiira kyebatateegera….
    ffe abaganda tetulina kitutta ku kufuga uganda, ffe twagala kwefuga ffe ffekka. waliwo abantu abatasobola nakwefuga bbo nbokka kyokka nga bafaabina okufuna abalala bebafuga. e bwetuli, era tewali muganda agenda kuzirika nga tafuze uganda, kasita ffe mutuleka netwekolera ebyaffe. ekyo kamya kyabadde tamanyi ndowooza.

    lwaaki bwebaba baali tebagala kuyimba kitiibwa olukiiko tebalukubira awalala?
    lwaaki bwebaba baali tebagala kuyimba kitiibwa kya buganda, atenga bamanyi abaganda balina omutawaana nekitiibwa kyaabwe, nga bateekwa okukiyimba, lwaaki olukiiko tebalukubira awalala? kubanga tewali ayinza kukuba lukiiko buduuda essaawa eno, kubanga ettaka lijja kukuyikiira. nooli bwaaba nga ekitiibwa kimuluma nnyo, nga agenda ewalala. mu ankole teri kafo konna? e karamoja tewaliyo kasaawe konna oba kaki webayinza kwewogoma nebakuba lukiiko lwaabwe mu ddembe, nga tewali na yimba kitiibwa yenna? wano ne betty gumusinga, ate omanyi abaganda nobuwangwa baabwe, otabaala baaki nojja nga owekaaganye tunga tunga naaba karamoja bo nabanankole baakwo simanyi nabiki ebirala?

    enkola ya nrm okufufumya buganda
    bino byonna bigenderere era yemu ku nkola ya nrm okunafuya buganda nga bafuna abantu abe etutumu era abamaanyi mu buganda nga sebagala,beti kamya etc nga babagula era babakozesa nga zi dole kyemuva mulaba nga kamya atagala nga awuudiisa abantu ne kifedero kye ekitategerekeka nga atambuza obukyaayi bwalina ku col. besigye nga bweyali tanava mu fdc nga teyagyogerera nga nnyo nga kati kyagamba nti mu fdc tetukiririza mu federo? naye newuunya okukiriza okukozesebwa nrm omuzungu agamba nti ”he who pays the piper determines the tune” nze mulindwa walid lubega -nsangi

    point of information
    mwaami lubega ssebo, bwebakozesa tebubeera dole bubeera bugologoosi – puppets mu puppet show – political puppet show mu circus eyitibwa uganda lupabulikka.

    ekintu kyange! mumanyi gye nkiggye?
    ebigambo ebyo tewaba addamu okubikozesa kubanga bitandise okuwulikika nga ebitali biyonjo.

    M7 yatta ensolo ye ne betty yatandika ekintu kye
    kino ekintu betty kyeyakola tetumanyi gyakijje kitandise okunenyinyaza amakubo ge kiyiseemu olulala yakabira munywaanyi we mbu ayagala kukwaata ku nkutu ze kuba alabika ye betty yalinga omukazi alwadde ekikulukuto , kati tewewuunya bweziba endowooza ze alowooza nti anakozesa obuganda lwayagadde lwalaba nti bunamufiriza bi diiru bye nga bwemansula , nange nebuuza lwakitula munene lwaaki olukiiko telwatuula eyo newatabaawo kwewoza nga bantu bayimbye ekitiibwa kyaabwe. leero abaganda bwebanabatenda ekisa ejoogo lyerifuuse okubuuza kaburengana federo za kamya , federo tekitegeeza kusikiriza atayagala kukulakulanya kitundu kye nakwemalira bizibu bye tetukyasobola kumuyamba, gwaate nobulamu bwabantu baffe tubuwaddeyo buli kimu ekyaffe kye batabbye bakyonoonye oba bakyokezza kati tetukyafaayo ku kirala twagala ddembe na nsi yaffe mutasiba zikweeya

    leero mukulukusabitungotungo 01
    leero omweezi gwa mukulukusabitungotungo lwegutandise. baganda bange, nsabye gubagendere bulungi. obuganda bunyweere bugumire. kuno okulonda bakuyita kakunguunta. buli abasimbyeewo, mwenyweeze muleke kugenda ne twaala tugende. okutuuka bwebuti omwaak ogujja, nga atasituka kulaga kitiibwa nga ekitiibwa kya buganda kiyimbibwa nga abeera mulwadde yekka. olwo nga obuganda bumaze okufuna ebyaabwo, era nga nabaana ba kintu abli ku mawanga batandise okusiba ebyaabwe okuva ku mawnga okudda okwaffe. wabual ekyo tekigenda kubeerawo nga tuyita mu kwekkirirranya. mwebale nnyo kwogera nakuwagira mazima agali mu mutima omuganda. abavuma obusilusiru nga omuntu omu ali awo waggulu ebyo omukadde akuzaal byeyakuyigiriza gwooba ogenda obigamba, mpozzi bigambe ne kitaawo eyamukuzaalamu. byeebyo. mubeere bulungi abenda ya nakalaama.

    banange betty kamya.
    nzijukira nga betty yakava mu fdc hon sam njuba yatugamba nti mwetegereze nnyo betty alina ekintu kyagenderera era mudda kigenda kuvaayo. nze nali ndowooza nti njuba akyogeza bukyaayi. naye kati osanga banaffe bo balaba dda wa gyavugira ekintukye ye kyagamba. naye abaganda !!!!!!!!!!

Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.