Muwandiike Ebitabo – Kabaka

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebitabo / Books Muwandiike Ebitabo – Kabaka

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Namukaabya Namukaabya 10 years, 1 month ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18268
    Namukaabya
    Namukaabya
    Participant


    Muwandiike ebitabo – Kabaka
    Bya Sophia Nakasagga ne Benjamin Ssebaggala
    Thursday, 16 July 2009 13:09

    KABAKA Ronald Mutebi akubirizza Abaganda okwenyigira mu kuwandiika ebitabo mu lulimi Oluganda n’ebyo ebiri mu nnimi endala babikyuse babizze mu Luganda abantu basobole okumanya amakulu agabirimu.
    Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse Omulangira David Wassajja ku mukolo gw’okutongoza akatabo akayitibwa ‘Ebyama bya Walu-mbe,’ ogwabadde ku Grand Imperial Hotel mu Kampala wiiki ewedde.

    Kabaka yasabye Abaganda okwongera okusoma n’okuno-onyereza bye bazudde babite-eke mu buwandiike naddala mu Luganda. Yasiimye omuwandiisi w’akatabo kano, Joseph Lubega olw’okunnyonnyola en-kula n’enkola y’omubiri gw’omuntu, ebireeta endwadde ezi-ruma abantu n’engeri ey’oku-zeewalamu n’okuzijjanjaba.

    Ku mukolo gwe gumu, Katikkiro wa Buganda, Ying. J.B. Walusimbi yayanjudde enteekateeka ya Buganda okuzimba amalwaliro n’enkola ey’okutangira abasawo okutwalibwa emitala w’amayanja nga babawa omu-saala n’ensako ebamala.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.