Mw IVAN SSEMWANGA ne, Mw JJUUKO

This topic contains 1 reply, has 1 voice, and was last updated by Namukaabya Namukaabya 9 years, 9 months ago.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18640
    Namukaabya
    Namukaabya
    Participant


    Mmengo efunye sikaala okuva e South Afrika

    Bya Lilian Nalubega
    Sunday, 10 January 2010 12:25

    Buganda efunye sikaala z’abaana 50 okuva e South Afrika ezookutwalibwa abaana abasoma ebyemikono.

    Nnannyini ttendekero lya Brooklyn College mu South Africa, Ivan Ssemwaga ye yawaddeyo bbasale 50 zino ezibalirirwamu 75,000,000/- ziganyulwemu abayizi okuva mu Buganda.

    Ng’akwasa Katikkiro J.B Walusimbi sikaala zino ku Bulange, Ssemwanga yagambye nti abagenda okuganyulwa mu sikaala zino baakutandika mu January 2010.

    Mu ngeri y’emu, waliwo ne bbasale endala ttaano Mw. Juuko naye omutuuze mu South Africa ze yayanjulidde Katikkiro nga zino zaaweereddwaayo ab’essomero lya Heart Field and skills Development Centre nalyo eriri mu South Afrika ze baawaddeyo okutumbula amasomo g’eby’emikono.

    Katikkiro yasiimye bannayuganda abali mu South Afrika olw’okufaayo okuyamba okukulaakulanya bannaabwe abalala nga bayita mu kubayamba okusoma ate nga ly’ekkubo erijja okubaggya mu bwavu.

    Minisita w’ebyenjigiriza, Masagazi Masaazi yagambye nti batandikiddewo okuwandiika abayizi abeetaaga okusomera ku sikaala ezo nga bakomekkereza nga January 15 okusobozesa abayizi bano okutandika amangu ng’olusoma lutandise.

    #25835
    Namukaabya
    Namukaabya
    Participant

    Mwaami Ssemwanga no mwaami Jjuuko mulaze omutima omugabi , buli Muganda wonna waali bwaba asobola okukola ekintu bwekiti naddukirira Nyaffe Buganda mungeri ye Mukama tarema kumuddizaawo, era mu banga sittono tujja kuddamu tutumbule Buganda tugizze ku mutindo gweyaliko kuba abantu abakozi bo tulina bangi ate abetegefu okuzaawo buli kitwononeddwa.
    Mwebale nnyo ekikolwa ekyo.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.