Nafuuka eyeebuuzibwako ku kyalo nga ndi mu P.2

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Emmunyenye za Ababaka / Ababaka stars Nafuuka eyeebuuzibwako ku kyalo nga ndi mu P.2

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #18182
  Mirembemirembe
  Participant


  Nafuuka eyeebuuzibwako ku kyalo nga ndi mu P.2 nga nze muyigirize

  1287251005minis.jpg

  MINISITA wa Kabaka e Mmengo, Isirairi Mayengo wuuno akyagenda mu maaso n’okukuttottolera gy’avudde. Leero essira alitadde ku buzibu obwaliwo ng’atandika okusoma:

  Okusoma:

  OKUTANDIKA okusoma kwali kusiima kwa Mukama, kuba nzijukira olumu bajjajja bwe baabaweereza eddagala ly’ekifuba eriyitibwa ‘bangibamusiima’ kyokka ng’awaka tewali asobola kusoma bigambo biraga nkozesa yaalyo ebyali ku kacupa ne tufuna obuzibu.

  Jjajja omukazi wano we yaleetera ekirowoozo bantwale mu ssomero njige okusoma nsobole okubasomera ebiri ku kacupa k’eddagala si- kulwa nga banywa ery’obulabe ne libatta.

  Waayitawo ennaku ntono ne bansindika mu ssomero lya Bukasa NAC (Native Anglican Church) nga mu budde obwo amasomero nga lino gayitibwa ga Church of Uganda (C.O.U). Mu kiseera ekyo nalina emyakamukaaga.

  Jjajja omukazi yantwala ku ssomero era engoye ze nasiibangamu mwe natandikira okusoma nga nkoona kagere.

  Bwe twatuuka ku ssomero yantwala ew’omukulu w’essomero gwe siyinza kwerabira mu bulamu bwange ng’ayitibwa Busuulwa. Mw. Busuulwa yali asiika kabalagala nga buli mwana atuuka ku ssomero amukwasa ’embalagala’

  Nange olwali okutuuka n’aginsimba kyokka yali eyokya era kino sirikyerabira kuba nagibwebwena nga bw’omanyi abato. Oba kyali kinyegenyege kya kutandika kusoma nze naawe……..

  Essomero lyali lya ssubi nga wansi tumaalawo obusa bw’ente buli Lwakutaano nga buno abasomesa be baabututumanga ne tubuleetera mu ndagala.

  Twabukung’aanyang-a kuva mu maka g’abamu ku batuuze abalina ente ng’era olulagala mwe tubussa tusooka kuluwotosa ne tubusiba bulungi okubutuusa ku ssomero. Bwe twamalanga okusoma ku Lwokutaano nga tumaala obusa mu bibiina byaffe.

  Olunaku olusooka:

  Essomero lyali likoma ku bibiina bibiri byokka ng’abayizi tuwera 30 ate abasomesa baali babiri okwali, Mw. Busuulwa omukulu w’essomero ate nga mubuulizi mu kkanisa n’omusomesa omulala gwe sikyajjukira mannya.

  Nga bwe nakugambye nti jjajja omukazi yali aluka ebiyonjo by’enkoko, muno mwe yaggyanga fiizi ezimpeerera. Omwaka gwonna yasasulanga ennusu 3/-.

  Olunaku olwasooka ku ssomero, ffenna twaleeta amawolu amavumbike nga gookya bulungi era mu kulya nga tutuula wamu ne tuwoomerwa.

  Ebbanga lyonna lye namala nga nsoma mu ssomero lino nalinga nneesunga okugabana amawolu ne bannange kubanga twagifuulira ddala nkola, ng’essaawa y’okulya bw’etuuka ffenna tukung’aanira mu kifo kimu buli omu n’agabana ku ggolu lya munne.

  Nzijukira waliwo akasozi ke twayambukanga okutuuka ku ssomero nga baakatuuma ‘Busuulwa alina ettima’.(Baali bamunenya okussa essomero waggulu ku kasozi akatalinnyika). Ekifo kino bagamba nti we waatuukira

  Abaminsani mu 1895. Ku ssomero twayiganga okusoma wamu n’okubala kyokka tewaaliyo kwogera Luzungu wadde okulusoma. Baatugamba nti Oluzungu tujja kulusoma nga tweyongeddeyo mu bibiina ebya waggulu ne batulagira okukaza okusoma Oluganda n’okubala.

  Okusoma mu kiseera ekyo tekwali kwa buli omu nga newankubadde twatambulanga mayiro nga musanvu okutuuka ku ssomero, ng’abaana be tuyitako batwegomba.

  Fiizi eza siringi essatu ze twasasulanga buli mwaka bw’oziwulira kati olaba nga ezitali nzibu kukung’aanya kyokka mu kiseera ekyo ng’abasobola okuzifuna obabalira ku ngalo.

  Abaana be natandika nabo okusoma omu yekka gwe nkyawuliza nga ye Nabojja ng’ono y’azaala nnannyini kkampuni eyitibwa ‘Mulowooza Construction’ ayitibwa Mulowooza.

  Nzijukira olumu waaliwo bannaffe babiri abaali bagenze okuwuga ggoonya ne zibalya nga kino kyatukuba entiisa era okuva olwo omukulu w’essomero n’atugaana okuddamu okuwuga wadde okuzannyira mu nnyanja.

  Olulala twali ku ssomero omulaalo n’ajja ng’asitudde ttimba omunene nga muwanvu.

  Ffenna twakung’aana okumulaba era omulaalo n’atunyumiza nti yali agenda kumumira n’amutega akayana bwe yasembera okukamira n’amutta.

  Guno gwe gwali omulundi gwange ogwasooka okusemberera ttimba. Nga bwe nakutegeezezza nti Omutaka Kaganda yali mwami, oluusi bwe nalinga nva ku ssomero nga mpitirayo era bwe nasang’anga nga balya ekyemisana nga bampa ku mmere.

  Waliwo lwe nabasang’anga nga balya ennyama era ne bampaako. Kino kyansanyusanga kubanga jjukira ewa jjajja ennyama twagiryanga ku Ssekkukkulu n’oluusi ku Paasika kwokka.
  Nagenda okumalako omwaka nga nsobola bulungi okusoma n’okubala olwo awaka nga nze nneebuuzibwako mu byonna.

  Saali wa mugaso waka wokka wabula n’eri mikwano gya bajjajja kubanga bangi bandeeteranga obubaluwa bwe babaweerezza ne mbubasomera. Ekibiina ekyokubiri we nakimalirako nga nze nneebuuzibwako era awaka ne bawewuka mu bikwata ku kusoma.

  Nga mmalirizza ekibiina ekyokubiri, Mw. Busuulwa yategeeza jjajja nga bwe yalina entegeka ey’okutandika ekibiina ekyokusatu (P.3). Ekintu kino kyasanyusa nnyo jjajja nange ne kinsanyusa kubanga namanya nti ng’enda kusigala ku ssomero lino.

  Wabula essanyu lyanzigwako omukulu w’essomero bwe yakatema jjajja ng’ebisale bwe yali abyongezza okuva ku nnusu ssatu buli mwaka okutuuka ku mukaaga ( 6/-).

  Yazikubamu ne zaaka n’agamba nti Mayengo kasita ayize okusoma, okubala n’okuwandiika atuule awaka.

  Nzijukira jjajja bwe yagamba nti talina ssente za kumpeerera nawulira bubi kyokka eky’okukola saakirina. Ng’omwana omuto, saalowooza ku kusoma wabula ku mikwano gyange gye ng’enda okuleka, amawolu gaffe ge twagabananga wamu n’omuzannyo ate jjukira awaka nabeerangawo omwana omu nzekka.

  Okumanya Katonda y’asalawo obulamu bw’omuntu kye bunaabeera mu nsi, oluwummula lwali terunnaggwaako, kkojja, maama gw’addako, yajja okukyala ewa jjajja. Baagamba nti yali avudde ku kibuga. Ekituufu kyali nti yali abeera ku ggombolola e Kira gye yali akolera obwa kalaani.

  Yasanyuka nnyo ng’andabye kubanga yali yakoma okundaba nga nkyali muto ddala. Jjajja yamutegeeza nga bwe nali sigenda kuddayo ku ssomero kuba yali takyasobola kunsasulira fiizi.

  Kkojja yayanguwa okumutegeeza nga bw’agenda okuntwala ewuwe nsomere eyo. Kino kyansanyusa kuba baali bantwaala mu kibuga.

  Ebirala birinde ku Ssande ejja nga bw’abinyumnirizza Margaret Ziribaggwa.

  link

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.