NGA 8 OCTOBER AKANYUMIZO (CHATROOM) KAGGULA

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements NGA 8 OCTOBER AKANYUMIZO (CHATROOM) KAGGULA

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #16680
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Abaana ba Nnambi ne Kintu, Abaganda ba Katonda mwenna Wakitimba wammwe owa Ababaka.com abakulisizza okutuuka ku lunaku Buganda lweyafunirako Akalembereza okuva ku bafuzi ba matwaale. Ku lunaku luno akanyumizo kaffe, mu lufuutifuuti ketwandiyise chatroom, kagenda kuggulawo mu butongole. Twaali tusubira nti ne Baganda radio eneebera ku luno etandise okukola, naye tukyalina ebitusiba ebitonotono. Naye ekyo tekituugaana kugenda mu maaso nakutandika tusisinkanangako wano, nga tutandika ne kwoolwo 8 October essaawa 11 ezolweggulo eze Buganda.

    Era okuva ku lunaku luno, buli lwa Sunday essaawa 11 ezolweggulo eze Buganda, tujja kubeerangawo mu kanyumizo, nga tuwuliriza Ekiggunda nga bwetunyumyaamu.

    Katonda ne Buganda omwooyo gumu ne mmeeme emu.
    Awangaale Sabasajja Kabaka.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.