NGA TONNAYINGIZA MULAMWA SOOKA OSOME BINO

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Forum Titles & Rules NGA TONNAYINGIZA MULAMWA SOOKA OSOME BINO

This topic contains 3 replies, has 3 voices, and was last updated by Alex Kigongo Alex Kigongo 10 years, 11 months ago.

Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • Author
    Posts
  • #18660
    Alex Kigongo
    Alex Kigongo
    Keymaster

    Abakiise mutusonyiweko, tubadde tukyategeeka ennungamya kwemunasinziira okumanya wwa buli mulamwa wegugenda mu Lukiiko lwaffe. Wabula nga ennungamya eno namateeka kwetutambulira tebinnafuluma, mujjukire bulijjo nti luno Olukiiko lwa Baganda. Emitwe egisinga obungi gikwaata ku Baganda. Omulamwa ogukwata ku batali Baganda, oba abalala betutamanyi bulungi gugenda Omw’Africa, Omuko Ogusooka, mpozzi neebyo ebikwatra ku batulinaanye nebigenda mu Bamuliranwa. Bweguba omulamwa gukwaata ku bintu ebikolebwa abateeka Buganda mu Matigga, ogwo guyinza okugenda mu Masanganziira. Ebirala byonna bikwaata ku BAGANDA BOKKA nembeera zaabwe, edda, kati, negyebujja.

    Mwebale nnyo kukiika.

    Awangaale Sabasajja.

    #19591
    Jona
    Jona
    Participant

    Kino kikulu nnyo. Naffe twegazaanye.

    #20307
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Eri bakiise banaffe abamaze okwewandiisa temwerabira kuddayo ku email zemukozesezza okwewandiisa ne mukoona ku LINK okusobola oku activating-a
    Account zammwe ekyo bwemumala okukikola nga account zammwe ziri activated mukomawo ku ababaka site oluusi oyinza okutukira awasooka nebakugamba okusaawo USER NAME lyonokozesa wano n,oluvanyuma nosaamu PASS – WORD yo.

    Bwomala okuyingira osanga emitwe mingi ku KKONO gye mitwe gyonna ku DDYO gyegiba giddibwaamu , bwosangawo ekuddibwaamu kwewandyagadde okuteesaako koona awo osobole okutuuka woyagala okuwandiika ngotuseeyo ojjakusanga wansi wokuddibwaamu okwo ebigambo qiuck reply, reply , quote

    Koona ku reply ngoyagala okwongereza kumulamwa oguliwo
    bajja kukutwaala ku Post anew message in furum title &Rules , awo awali box enjereere wowandiika ngotandikira wali awali ekigambo message.

    Bwomala labayo ku left wansi waliwo aka box kakoneko kaveewo ka tick aka kiragala kasigale ka box kereere bwooba toyagala buli kinyumizibwa mumutwe gwooba owandikako kujja mu mail yo, kino tewerabira kukikola buli lwooba owandiika.

    Bwooba oyagala okuleeta ekifananyi koona ku kigambo Browse, img wajjakujjawo files zoonooba olina ku computer yo omusangibwa ekifananyi kyoyagala okuleetera ku kino kyooba owandiiseeko kinooneko .

    Bwomala ngomaze okuwandiika byonna byoyagala nga biweddeyo , sooka oddemu okugisomako olabe nti tokoze nsobi oba ogolole zosanzeemu, koona ku kigambo
    Submit post yo eja kugenda yo mumulamwa gwewabadde oddamu .

    In case ngokoze ensobi koona kukagambo akamyuufu Edit kajja kukukomezaawo byowandiise osobole okugolola mu ebyo byolaba ebikyaame bwomala odemu okoone ku submit owereze byowandise .

    Kuno kulabula bwooba oleese ekifananyi naye nokyuusa ekirowoozo tosobola kuddamu kuleeta kirara kikuwa omulundi gumu gwokka nolweekyo sooka wekakase nga kyoyagala okuleeta kyeekyo kyolonze.

    NGA TONAYINGIZA MULAMWA SOOKA OSOME BINO .
    kino kikuyamba okumanya kyooba oloose wa woteekwa okukissa in case nga oleese article oba nomanya ensonga zo omutwe mwoteekwa okuziwandiika , kino tukikola okukuuma site yaffe nga nnyonjo, ate kitwanguyira okuzuula ensonga ze twagala okuteesaako we zisangibwa.

    Ekyokusooka okusoma wa buli mutwe wegugenda kikuyamba naddala ngoyagala kuleeta kiteeso kirala ekitaliiwo naye kiba kirungi nosooka okebera mumulamwa gyokitwaala nga tekiriiyo tusobole okwewala okuleeta emitwe emingi nga gyogera kukintu kimu .

    okuleeta omutwe omulala genda mu mulamwa ku left waggulu ddala oja kulabawo ekigambo NEW THREAD mu langi eya blue okikoneko kikutwaale ku box enjereere wali waggulu awali ekigambo SUBJECT wojja okussa omutwe omupya gwonooba oleese , oserengete mu box ennene oguwandikeko, ntegeeza omulamwa ngomaze okoone ku submit, kino kiba kirungi omukiise obutasomba mitwe myereere nagisula awo nga tagyogedeeko , kuba eno parliament yaffe fenna tunyumya buli omu kyaaba aleese.

    Kyonna kyooba wetaaga okumanya oyinza okukibuliza wano ku site kuba ofuna okuddibwaamu okwenjawulo tewali kitabuzibwa oba tewali kitalina kuddibwaamu
    Fenna tuyiga buyizi yengeri yokka gyetuyinza okweyambamu.

    Ssebo web master yongereza kukyendeseeyo, oba kyusaamu era twandikusabye bino obiteeke abakiise webatukira fenna kitwanguyize emirimu

    Ssabasajja awangaale

    #27253
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    abakiise abeebuuza bwebawandiika endagiriro yeeno wano

Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.