Home › Forums › Meeting Greeting & News Reports › Omw Africa / The African › NRMKigongo alimba ebyokulwanirira ensi tabimanyi!!
- This topic has 2 voices and 1 reply.
-
AuthorPosts
-
October 8, 2010 at 7:32 am #17893
Musajjalumbwa
ParticipantMusajja mukulu ono Kigongo kati buli kyakola nekyafulumya mu kamwa ke kikwaata ku ssebbuto we. Takyalina kirowoozo kirala kyonna. Omusajja eyeyita Hugh omulamba, mbu yalwaana mu nsiko, bwayogera nti ensi yomuntu alina wakoma okugirwanirira aba alaga bulyaake nabutumbaavu nobubbi nobutemu obyekika ekya waggulu. E Somalia, Iraq, Afghanistan, nensi endala ezirwaana kati, teli masimu? Agende mu maaso nokufuma n’okutiisatiisa naye analaba ekinamutuukako.
Abagamba okudda mu nsiko mwerimba – Kigongo
Bya Samuel Kanyike
Thursday, 07 October 2010
Kigongo (ku kkono) ng’ayogera ne Anna Kirabo Asiimwe (ku ddyo) eyeemulugunyizza okumubba ku kifo ky’omubaka omukazi owa Luweero. Wakati ye Rebecce Nalwanga eyamuwangula.OMUMYUKA wa ssentebe wa NRM, Haji Moses Kigongo alabudde Bannalu-weero bave mu kutiisatiisa nga bwe bayinza okudda mu lutalo, olwa vvulugu w’okubba obululu kuba tekikyasoboka.
Yalabudde abaawangulwa mu kamyufu ka NRM abaagala okukomawo okwesimbawo n’okwagala okuddukira mu bibiina ebirala nti bagenda kubalwanyisa.
“Abawoza tugenda mu nsiko beerimba kubanga ensi yakyuka. We twagendera mu nsiko nga n’essimu tewali kati gezaako ogendeyo olabe ebinaakutuukako”, bwe yalabudde.Yabadde mu kibuga Luweero ku Bukenya Foundation Hotel ng’asisinkanye abaavuganya mu kamyufu ka NRM okuva mu Luweero, Nakaseke n’e Nakasongola kyokka nga tebaamatira byava mu kulonda nga baagala okwesimbawo ku lwabwe n’okulabula okugenda mu nsiko.
Yabagumizza nti yayungudde ttiimu okufeffeta ebyalo okulaba oba waaliwo obuvuyo bw’okubba obululu nti anaazuulibwa waakuunaanibwa.
Ku beesimbawo ku bubaka bwa palamenti abaabadde baagala okugwang’ana mu malaka, Kigongo yagambye nti alowooza kuleeta kirowoozo bateekewo akakiiko katunule mu mudidi gw’ensimbi ababakaze bafuna ezituusa abantu okufiirawo okufuuka ababaka zikendeezebwe ekizibu kiveewo.
October 8, 2010 at 11:45 am #27137Machati
ParticipantOyo ne Sebaggala tewali njawulo. Balinga abakulira okwe njala. Banyonya kyakulya essawa yonna, tebafaayo oba Abaganda bafa oba bakaaba ennaku. Ne Buganda nabo bwetyo bwegenda okubayisa. Tebeyibala.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.