Nzaaba owe myaaka 20 yasse Kisitu

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Masangaanzira / Crossroads Nzaaba owe myaaka 20 yasse Kisitu

  • This topic has 8 voices and 24 replies.
Viewing 10 posts - 16 through 25 (of 25 total)
  • Author
    Posts
  • #21468
    KulabakoKulabako
    Participant

    Over 80 spouses killed in 2008
    Friday, 2nd January, 2009

    OKUSINGA EKIBADDE WANO MU BUGANDA NGA BAMAWANGA AMALALA BEBATTA ABAGANDA

    By Lydia Namubiru

    AT least 86 Ugandans were murdered by their spouses during 2008, according to serious crimes records at the Criminal Investigations Department. Western region leads with 33 spousal murders, followed by eastern with 17, Buganda 16, northern 10 and northeastern 10.

    September was the most dangerous month for spouses in Uganda. Sixteen cases of spouses killing their mates were recorded that month, which translates into one case every two days.
    Suspicion of adultery domestic squabbles and drunkenness were the major causes of the murders, according to Police.
    In 73 cases, the victims were wives. They were beaten, hacked or strangled to death. In 13 cases the victims were husbands, as was the case Mustafa Kassim and Sarah Naula on April 11.
    In the heat of the argument, Naula allegedly darted into the house, got a panga and hacked him on the head. Mustafa died on the way to hospital.
    from New Vision

    #22798
    MulongoMulongo
    Participant

    Taata yatemyeko maama omutwe
    Written by Luke Kagiri
    Bukedde Sunday, 29 March 2009
    afam.jpg
    Nnanyonjo ne Bulauli nga bwe babadde bafaanana. Baali basitudde Masiko.

    OMUSAJJA akkakkanye ku mukyala we n’amutemako omutwe n’agussa mu kikapu ng’omwana waabwe ow’emyka ena gwe babadde bakaayanira, alaba.

    “Taata yazze ekiro n’asooka okuyombera ebweru n’amenya oluggi, n’asikayo ejjambiya n’atema maama omutwe ne gugwa wali,” Omwana Masiko, mutabani wa Lauberi Burauli bwe yannyonnyodde engeri kitaawe gye yasseemu maama we Godliver Nannyonjo.
    Babadde batuuze ku kyalo Kitayiza ekiri mu ggombolola y’e Kiganda mu disitulikiti y’e Mubende.

    Olwamaze okutta mukaziwe yakutte omwana n’omutwe gw’omugenzi gwe yabadde atadde mu kikapu n’agenda nagwo.
    Oluvannyuma omutwe yaguziise mu lusuku, olwo ye n’omwana ne beekukuma mu kasaka gye baamaze ennaku ssatu okutuuka enjala lwe yamuyinze n’awenya ku kavubuka akaabadde kayitawo n’akawa ssente kagende kamugulire eky’okulya wabula kko ne katemya ku batuuze omuyiggo ne gutandika.

    Abatuuze bamuwenjezza ne bamuggukako ne bamukuba emiggo oluvannyuma ne bamukumako omuliro ng’atunula naye n’afa.
    Oluvannyuma baakutte omwana ono afuuse enfuuzi eyasigadde ettayo ne bamutwala ku poliisi y’e Mubende nti ab’ekika gye banaamuggya.

    Bulauli okutta mukaziwe Nannyonjo kyaddiridde okwawukana naye omwezi oguwedde kyokka nga buli lunaku abadde amulumba ku luuyi lw’ekyalo gye yanobedde n’amusaba okumuwa omwana gw’abadde yamuzaalamu kyokka Nnanyonjo ng’agaana.

    Ensonga Nannyonjo bwe zaamuyitiriddeko kwe kuzikwasa aba LC gye buvuddeko ng’omusango gwabadde gwa kuddamu ku nkomerero ya wiiki ewedde nga kigambibwa nti Nannyonjo abadde agonze nga ku lunaku olwo kwe baamuttidde lwe yabadde ayagala okuwa bba omwana nga LC eraba olw’ebyokwerinda kw’omwanawe.

    Kyokka bino Bulauli teyabikkirizza. Ku Lwokusatu ekiro yalumbye Nannyonjo mu nnyumba ye n’amukonkona n’amulagira amuwe omwana ku kifuba.

    Nannyonjo yagaanyi era wano olutalo we lwatandikidde, oluvannyuma lwa Bulauli okumenya oluggi atwale omwana ku mpaka.
    Balauli yabadde azze n’ejjambiya enjogi era bwe batandise okulwana kwe kusikambula omukazi n’amutemako omutwe nga n’omwana waabwe alaba!.

    Ejjambiya yakutuddeko omutwe gwa Nnanyonjo n’ekwasizaamu n’engalo omugenzi ze yasoose okuteekayo nga yeetaasa.
    Bulauli yakutte omutwe gwa mukazi we ono n’agusibako, olwo n’akwata n’omwana eyabadde abayombya n’abulawo, ne yeekukuma mu nsiko okutuusa ku Lwomukaaga lwe yakukunuseeyo ng’enjala emutta n’omwana era nga wano abatuuze we baamukwatidde naye ne bamutta.

    Aduumira poliisi y’e Mubende Charles Rwakisheka eyakulidde eby’okugyawo omulambo gwa Nannyonjo okugutwala ku ddwaaliro e Kiganda Health Center gye gwaggyiddwa oluvannyuma ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mityana ne gwekebejjebwa, yalese alagidde abatuuze bwe balaba Balauli babayite.Omugenzi yaziikiddwa e Miseebe mu gombolola y’e Bulera mu disitulikiti ye Mityana.
    Abatuuze olwamaze okutta Bulauli ate ne bazinda amaka ga Moses Tumuhiwe gwe bagamba nti y’abadde abeera ne Bulauli ku kyalo ekyo kyokka yabatebuse n’adduka ne yeekweka ku poliisi y’e Kiganda nga nakati gy’akyali ate ab’omu maka ge tebamanyiddwako mayitire.

    Oluvannyuma abantu baagudde ku kinnya omubadde mwaziikiddwa omutwe gwa Nnanyonjo ne bakiziikula ne bagugyayo.
    Bulauli y’abadde omusajja owookusatu okuwasa Nna-nnyonjo era babadde n’omwna omu. Nanyonjo alese bamulekwa 11 mu basajja abalala.

    #22887
    MulongoMulongo
    Participant

    Man slits wife’s tummy with panga
    New Vision Thursday, 2nd April, 2009
    abadde.jpg
    Nalwadda lies in pain at Nakaseke Hospital after her husband cut her with a panga

    By Frederick Kiwanuka

    A jilted husband in Nakaseke is on the run after he allegedly cut open his estranged wife’s belly with a panga, before seriously wounding his two sons.

    Emmanuel Muhiire, a boda boda rider, committed the offence on Monday at his in-laws’ home at Birambwa village in Kapeeka sub-county.
    Following a separation, Muhiire’s estranged wife, Prossie Nalwadda, had taken refuge at her parents’ home with her children. Nalwadda was on Tuesday admitted to Nakaseke Hospital with deep cuts on the chest and abdomen.

    Nakaseke medical superintendent Dr. Emmanuel Mukunya, who described Nalawadda’s condition as an ‘open chest injury’, said she had to undergo a major operation because her lungs, spleen and intestines were damaged.

    The children, aged 10 and 12, were cut on their hands.
    The criminal investigations boss, Paul Kasangaki, said the Police were hunting for Muhiire, who took off with the panga, leaving the victims lying in a pool of blood.
    He said Muhiire waylaid his Nalwadda at around 10:00pm near her grandmother’s house.

    John Masumba, a relative who is attending to Nalwadda at the hospital, said Muhiire emerged from a dark corner holding a panga, and asked Nalwadda to give him their three children to which Nalwadda objected. In the scuffle, Muhiire hacked Nalwadda and later turned to the children who were nearby. Musumba said Muhiire ran away after relatives made an alarm.

    Birambwa LC! boss Disan Kibirige said Muhiire had been threatening to harm his in-laws and wife who had refused to return to hios home.

    #22996
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    Kasibante bw’onkyawa omu ku ffe agenda kufa
    1239467819bukkedde.jpg
    Maria Nimusiime ng’ali ku poliisi ne bba Kasibante.

    JOSEPH Kasibante awanjagidde ku poliisi e Kammengo akkirizibwe okwawukana ne mukazi we Maria Nimusime era aweebwe n’abaana be ow’omwaka ogumu n’ow’emyezi esatu. Agamba nti Maria alwalalwala nnyo era amumazeeko ssente. Ben Ssentongo y’abaddewo n’abireeta bwati:

    Kasibante: Ndi mutuuze w’e Nakirebe mu ggombolola y’e Kiringente. Mukyala wange Miria Nimusime annemeredde. Nnaakamala naye emyaka ebiri naye nkooye okumujjanjaba kubanga yatandika okulwalalwala okw’obutasalako nga ndowooza bya lusaago kyokka obulwadde bwe bugenda mu maaso nga bugolo.

    Bampa amagezi mmutwale mu basawo b’ekinnansi era tutambudde ku basawo abawerako buli omu atugamba nti biva ku luuyi lw’ewaabwe tebamunjagaliza kumuwasa. Ssente ezimugenzeeko zigula emmotoka era kati we bituuse mmwenyiyiddwa ampe abaana bange adde ewaabwe nfune emirembe.

    Maria: Togenda kunjagalako ate onsuule. Nkyali mukyalawo era okyali mwami wange. Eby’okunkyawa weerimba obulwadde bwe weekwasa si nsonga nange saagala kulwalalwala.

    Kintu (akola ku nsonga z’amaka): Omukazi oba omukooye mupangisize enju abeeremu n’abaana etteeka terikukkiriza kubaggya ku nnyaabwe nga bakyali bato.

    Kasibante: Awo tewali njawulo nze njagala ebyange naye bikome.

    Maria: Ssebo, bw’oba osazeewo kunkyawa, omu ku ffe ateekwa okufa. Sikkiriziganya na kunjagalako ondekewo nga nkyakwagala. Nnina buli lugoye lwo okuviira ddala ku paajama waakiri nnaagenda mu basawo ne bampa eddogo.

    Kintu: Ensonga zammwe ng’enda kuziweereza ewa ‘Pulobeesoni ofiisa’ asalewo ekinaabakolerwa.
    Bukedde Published on: Saturday, 11th April, 2009

    #23364
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Ssemaka ne mukaziwe abeeyokedde mu nju bafudde

    Bya Meddie Musisi

    SSEMAKA ne mukaziwe abeeyokedde mu nju bafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga gye baddusiddwa nga bali bubi. Kino kiddiridde omukazi okusibawo ekisenge nga bombi mwebali n’akikumako omuliro ng’agamba nti omusajja ayitirizza obwenzi.

    William Ddamulira abadde omutuuze w’e Wakaliga-Lungujja mu Zooni 7 okumpi n’e Nateete yafudde ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ku Lwomukaaga mu ddwaaliro e Lubaga gy’abadde ajjanjabirwa.

    Mukazi we Harriet Mbabazi eyakazibwako erya Ssenga Nankya Nkuziweze yakwatidde bba mu bwenzi n’amusibira mu kisenge n’akikumako omuliro ng’ayagala bombi bafe.

    Aboomuliraano be baabataasizza bwe baawulidde emiranga ne bamenya eddirisa ne babaddusa mu ddwaaliro kyokka nga bayidde nnyo.

    Mukwano gwa Ddamulira bwe babadde bakola mu kifo kya PINE ekitunda mmotoka, Moses Nsibambi yagambye nti Ddamulira atutte akabanga nga mweraliikirivu nti era olumu yabagamba nti mukaziwe amwewerera okumutta.

    Ddamulira aziikibwa leero (Ssande) e Kasawo mu Bugerere ku ssaawa kkumi.
    Bukedde Published on: Saturday, 9th May, 2009

    #27370
    MulongoMulongo
    Participant

    Omujaasi akubye muganzi we amasasi
    Bya JUDITH NALUGWA
    Monday, 03 January 2011

    [attachment=2451]redcaps.jpg[/attachment]

    OMUJASI akuuma ofiisa wa UPDF omukulu akubye omukazi owolubuto amasasi agamuttiddewo ng’ava mu bbaala e Bbunga oluvannyuma lw’okumusanga n’omusajja omulala.

    Shamim Namakula ow’e Bbunga mu Trading Centre zooni yakubiddwa amasasi ku ssaawa 10 ez’oku makya bw’abadde ava mu bbaala emanyiddwa nga Ankoz esangibwa ku luguudo oludda e Kawuku. Namakula abadde akola wa Muzungu e Bbunga.
    Mukwano gwa Shamim gwe baabadde naye mu bbaala era nga basula bonna mu nju, Judith Nampijja anyumya bwati : Bwe twabadde mu bbaala ku ssaawa 10 ez’ekiro Shamim n’ang’amba nti muganzi we gw’amanyiiko erya James amukubidde essimu. Yafulumye ng’ayogera ng’akutte n’eccupa ye eya bbiya mu ngalo.

    Nnamulinze nga takomawo nze kwe kudda eka. Kyokka nnabadde nnaatera okutuuka we tusula ne nsanga muganzi wa Shamim omulala omujaasi wa UPDF Private Hakim Buniya era ng’akuuma maka ga Col. Sam Kavuma agazimbibwa mu kitundu kino n’ambuuza mu bukambwe nti, “Shamim omulese wa?” ne mmuddamu nti asigadde mu bbaala nze ne nzigulawo ne neebaka.

    Nampijja agamba nti kyokka ku makya Ssentebe w’ekyalo, James Luyimbaazi n’abaserikale baakedde kumukonkona ne bamubuuza munne era be baamubikidde nti afudde.

    Ate omutuuze Sheikh Abdullah Kawooya agamba nti omupangisa we eyabadde akedde okusiika capati ku ssaawa 10 abasajja babiri ne bajja nga beegoba oluvannyuma lw’okukuba essasi eryasoose ye n’alowooza nti bagoba mubbi kyokka nti waayiseewo akaseera katono n’essasi eryokubiri ne livuga.

    Abatuuze abalala baawulidde Shamim ng’akonkona ku geeti y’omutuuze ng’alaajana okumuyamba n’oluvannyuma ne bawulira essasi.
    Kiteeberezebwa nti Buniya yawondedde Shamim ne muganzi we James Henry Lumu mu bbaala era ng’alina ekigendererwa ky’okutta omusajja kyokka essasi bwe litaamukutte obusungu n’abumalira mu Shamim.

    Poliisi yakutte Lumu asangiddwa nga yekwese mu nju wansi w’ekitanda kye ng’ono ye yabadde ne Shamim we bamukubidde essasi. Lumu ategeezezza nti yakomye okulaba Shamim ku ssaawa bbiri ez’ekiro.
    Moses Talemwa omujaasi omulala bwe bakuuma ne Buniya agamba nti yayawukanye ne munne ku ssaawa emu n’ekitundu ey’akawungeezi buli omu n’agenda gy’asuula nti kyokka enkeera bwe yategedde nga Shamim gw’abadde amanyi nga muganzi wa Buniya bamusse n’agenda abikire Buniya gwe yasanze yeebase kyokka munne teyafuddeyo.

    Poliisi yegattiddwako abaserikale ba militale abaazinze amaka ga Col. Kavuma okunoonya Buniya kyokka yeemuludde n’adduka emmundu n’agireka mu nju.

    Poliisi yazudde ebisosonkole by’amasasi bibiri mu kifo awaabadde omulambo gwa Shamim nga bifaanana amasasi agakozesebwa mu mmundu Buniya gye yabadde nayo.

    Poliisi e Kabalagala eguddewo omusango ku namba SD:07/03/01/2010.

    Omwogezi wa UPDF, Lt Col. Felix Kulaigye agambye nti emmundu ya Buniya yasangiddwa ng’ebulamu amasasi abiri era bamunoonya nga bamuteebereza nti ye yasse Shamim.

    #27505
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Balwanidde omwana omukazi n’afumita bba ekiso mu kifuba
    Bya Moses Nyanzi
    Thursday, 10 March 2011

    [attachment=2469]akama.jpg[/attachment]

    Kabakama ne Ssenkungu: Yafudde
    OMUKAZI alwanye ne bba olw’omwana n’amufumita ekiso mu kifuba n’addusibwa mu ddwaaliro e Mulago gy’afiiridde oluvannyuma. Bino byabadde ku kyalo Lusanja-Kiteezi mu Ggombolola y’e Nangabo mu Wakiso, Maureen Kabakama bw’afunye obutakkaanya ne bba Kenneth Ssenkungu gw’alinamu omwana omu owobulenzi n’amufumita ekiso mu kifuba ku Lwokubiri.
    Efransi Nabyonga nnyina wa Ssenkungu yagambye nti abafumbo baasoose kuyomba Ssenkungu bwe yakomyewo ng’omwana ayidde omuliro ebyaggweredde mu kulwanagana omukazi n’afumita bba akambe mu kifuba n’akamulekamu.

    Ssenkungu ku lunaku lw’okulonda bassentebe b’amagombolola ku Mmande teyazze waka ng’agamba nti yasula Wakiso gye yali awerekedde kansala w’ekitundu kino Batulumawo Kabunga okuwulira ebyali bivudde mu kulonda.

    Bwe yakomyewo awaka ku Lwokubiri yasanze omwana waabwe yayidde omukono kyokka bwe yanenyezza ku Kabakama naye n’amwambalira nga bwe yabadde asuze mu bwenzi kwe kulwanagana.

    Nannyonga: Bampise ng’omwana wange Ssenkungu alaajana ng’omukazi amufumise akambe n’adduka. Ssenkungu namusanze akutte mu kifuba ng’akambe kakyamulimu ne tumuddusa mu kalwaliro ka St.Stephen e Mpererwe gye yakoleddwako akatono n’addusibwa e Mulago gye yafiiridde ku Lwokusatu ng’obudde busasaana.

    Kabakama yali yanoba ewa Ssenkungu n’agenda ewaabwe e Mbarara oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba kyokka n’akomawo omwezi nga gumu ogwakayita.

    Kansala Kabunga yagambye nti baasula ne Ssenkungu ku lunaku lw’okulonda naye kyamumazeeko enviiri ku mutwe okumubikira nti afudde. Kabakama oluvannyuma yakwatiddwa Poliisi y’e Kiteezi n’emuweereza e Kasangati gy’akuumirwa kati ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

    #27990
    MulongoMulongo
    Participant

    Ayokeza bba butto ng’amutebeereza okufuna omukazi omulala n’amulekawo
    Jul 15, 2012

    [attachment=2579]namara.jpg[/attachment]

    Batte mu ddwaaliro e Mulago. Ate ku ddyo, Namara eyayokezza bba ng’ali ku poliisi e Buloba.

    Bya Job Nantakiika

    OMUKAZI ow’abaana omunaana atadde butto ku ssigiri n’atokota bulungi oluvannyuma n’amuyiira bba ng’amteebereza okuba n’omukazi omulala.

    Jamil Batte, 35, omusuubuzi mu katale e Nateete gwe baayiridde olweje lwa butto, mukyalawe Sumayiya Namara 31 omutuuze w’e Ssumbwe mu Wakiso bwe yamuteeberezza okuba n’omukazi omulala. Batte kati apooceza mu ddwaaliro e Mulago.

    Namara yategeezezza nti omusajja ono abadde ayitiridde okumutulugunya oluvannyuma lw’okusuulawo famire ye ey’abaana omunaana n’agenda n’abakazi abalala nga buli lw’akomawo awaka ate n’atandika okumukuba emiggo nga n’oluusi mukaziwe amukubira essimu n’amuvuma.

    Gye buvudddeko, Namara yasitula abaana baabwe omunaana n’abatwala ku poliisi y’e Bulenga ng’agamba nti Batte yamusuulawo talina ky’aliisa baana bano nga n’okusoma tebakyasoma.

    Namara agamba nti baali bubi nnyo kwe kugenda mu bazadde be n’afunayo kapito era n’agulira bba pikipiki n’atandika okuvuga bodaboda era n’agula ne poloti omuli enju enju gye basulamu kati, kyokka embeera bw’eteredde bba n’amwefuulira.

    Namara agamba nti abadde asuubula amatooke n’agaleeta mu Kampala kyokka Batte bwe yali agenda awa mukaziwe nti n’amunyagako kapito obukadde busatu n’emitwalo 30 n’amuleka nga talina ky’aliisa baana nti era n’endagaano ya poloti nayo yagenda nayo.

    Akulira poliisi y’e Bulenga, Peter Hibugo yategeezezza nti ayogedde ne Batte emirundi mingi ng’amugamba akyuse ku mpisa atandike okuyamba famire ye naye yeeremye nti era fayiro kwe babadde bamuvunaanira omusango gw’okusuulawo famire ye eri nnamba SD/14/04/07/12.

    Batte yategeezezza nti baludde nga bagugulana ne mukaziwe nti kubanga awuliriza nnyo eng’ambo era aludde ng’amwewerera okumutuusaako obulabe. Yeegaanyi eky’okubba ssente n’agamba nti omukazi yamusanze mu buliri ku makya ssaawa 3.00 n’amuyiira butto. Poliisi y’e Buloba yabadde ekutte omukazi kyokka oluvannyuma n’emuta era O.C, Gerald Kaheesi n’ategeeza nti tebasobola kumusiba na baana munaana. Yagambye nti bagenda kumubuulirira amanye nti kye yakoze kikyamu.

    #27991
    MulongoMulongo
    Participant

    Agambibwa okusalaasala muganzi we poliisi emutaasizza
    Jul 10, 2012
    Bya Sarah Zawedde

    OMUSAJJA eyasazeesaze muganzi we ebiso n’amuyiwa ebyenda awonye okuttibwa abatuuze ababadde batabuse bwe bamuzingizza ng’ayingira ekikomera kya mukamaawe w’akolera.

    Edwin Tinkasimire 25, yakwatiddwa ku ssaawa nga 2.00 ez’ekiro ky’Olwokutaano.

    Abatuuze mu Sempa Zooni e Kawempe baamutaayizza ku ggeeti ya mukamaawe, Patrick Tumwine gy’abadde akola ogw’okusaawa mu luggya ng’akonkona bamuggulirewo ayingire.

    Baamukubye nga baagala okumutta wabula poliisi yatuuse mangu n’emubataasako .

    Kiddiridde Tinkasimire okuzingiza abadde muganziwe, Peace Nalwadda (25) mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano n’amusalaasala ebiso mu lubuto ebyenda ne biyiika. Tinkasimire yafulumye omuzigo muganzi we mw’abadde asula nga yeewaana nga bw’amumalirizza. Omupangisa eyasoose okumusanga, Latifah Nanyiti yamulabye nga yeeyambuddemu essaati ng’ajudde omusaayi wabula n’abulira mu kakubo akatono akasalinkiriza ku kiyumba ekizimbibwa mu maaso g’omuzigo mwe yamuttidde.

    Ssentebe wa LC1 mu Sempa zooni, Sulayiman Kibirango yagambye nti abatuuze baasoose kumukuba ne baagala okumutta era poliisi we yatuukidde nga takyategeerekeka n’emutaasa natwalibwa ku poliisi y’e Kawempe gy’akuumibwa.

    Akulira bambega ba poliisi e Kawempe, Wilber Wanyama yagambye nti Tinkasimire yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okumujjanjaba ebiwundu by’alina ku mubiri era akuumibwa butibiriri. Yagambye nti yagguddwaako omusango gw’obutemu nga fayiro yaakutwalibwa ew’omuwaabi wa gavumenti, oluvannyuma atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.

    #28013
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Wano waliwo Mukama kyagamba abaganda nti buli gwanga yalyawula era ne mpisa nafuba okuliwa ebyaalyo kasita ogatta Mukama kyatagatta bino byofuna lwaaki abaganda tebayiga kuguno omulembe gwokumalawo abaganda banange lwaaki buli omu tanywerera Katonda gye yamutondera obutemu buno bulitusaawa . Wano woddirayo ku byaffe ebyedda abazadde abamalanga okusooka okubuliriza ku agenda okutwaala omwaana waabwe oba naani omwana waabwe owobulenzi gyamujja kuba kuno okutta abaganda kuyise wekuteekwa bo bano abatemu bati besiga ki kubanga tewali Katonda gwatatonderamu busungu

Viewing 10 posts - 16 through 25 (of 25 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.