nze nyanjulwa bambeja boka………….

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Okweyanjula / Introduction nze nyanjulwa bambeja boka………….

  • This topic has 10 voices and 17 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 18 total)
  • Author
    Posts
  • #19049
    Sununusununu
    Participant

    Omumbeja nga oludewo okunyanula????

    Sununu

    #21270
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Munange Sununu nga tukusanyukidde kati sosotola nga tebinawola

    #21306
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Sununu nga Omumbejja bwamaze okukwanjula, kkiriza naffe tukulamuseko. Tukusanyukidde munnaffe.
    Admin.

    #21311
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kati banange bwewazze nkwanjule ate nosibulira ddala Sununu teweyisizza bulungi nalowozezza nti ozze tutandike okuteseza Nnyaffe Buganda

    #21346
    Sununusununu
    Participant

    Ndi mukubu nzija mwagala ntuke nebinubule….nzeja tutese….nga abatuuze bensi so si nga akabondo

    sununu

    #21370
    SengoobaSengooba
    Participant

    Ssebo Sununu ozze kukulira Lukiiko? Oba ozze kuteesa? Otandika otya okussa amateeka ku lukiiko lwosanzewo?

    #21375
    Sununusununu
    Participant

    Muganda wange sengooba,neyanziza ekibuzo oba ebibuuzo ebyo…..naye kankudemu bwenti:

    1.Obukulu buva eri katonda era gwe bwoba olaba nga nzize nga mukulembeze,ekyo mukyebaze nga abaganda,anti mu ntesa yange esose osobode okukilabamu…embera yolutekateka..olulaga nti ndi mukulembeze.

    2.Mpozi nze mbade nsaba nti nga tetunanganga omulabe tusoke twekebere,nga mubyetulina okwekebera tutunulire….
    (a)obusobozi bwafe.
    (b)obunafu bwafe.
    (c)nsonga ezitwawula yawulamu nga abaganda
    (d)wa wetuyinza okugezako okukwatagana nabo betusubira nti tetukwataganako nabo.
    (e)tugezeko okuwuliziganya,sosikumala gawakanya,nebetutayagala tubawuliriza kubanga kituwa omwaganya okutegera ebigendererwa byabwe,ate nokubako byetubayigako.

    Nze size namateeka wabula nandikide ku nsonga gyemanyi nti yenzibu…nga ngezako okubalaga nti bwembade nsoma ebimu kubyemuwandika ndabye nga njakwawukana namwe emirundi egimu,kubanga “strategies” zamwe ezimu zakititizi….tetwetaaga bakubi ba pokopoko boka twetaaga buli kika kyamuntu okusobola okulwanyisa kawumpuli”M7″

    kansubire siwabye

    mukama akunkumire

    sununu

    #21381
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    Sununu Sebo tukusanyukide. Kaakati singa obade osobola okutangaaza ku bugambo obwo bwolambye a) b) c) d) ne e). Yeeno ensonga yenyini etuleeta wano. Ne wolaba obutitizi yatuukiriza.

    #21392
    KulabakoKulabako
    Participant

    Sununu ebyo byebimu ku byoyogerako ebitukunganya wano tusobole okubigonjoola nga buli omu bwaawa endowoza ye nga bwalabamu ebintu naye nga mukulaba kwange Buganda yo yatandikira mu mutima mulungi singa bonna abagijjamu gwebajjiramu era nebagusigalamu tetwandibadde nabizibu biriwo ngo kuba nti abamu bagala kwekkusa bokka kyokka kussente zabonna.Wewaawo abaganda tulina obunafu bwaffe naye tebutuuka kumuntu kukola bitukoleddwa nga tulinga ababonerezebwa

    #21400
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    sununu wrote:

    Quote:
    Muganda wange sengooba,neyanziza ekibuzo oba ebibuuzo ebyo…..naye kankudemu bwenti:

    1.Obukulu buva eri katonda era gwe bwoba olaba nga nzize nga mukulembeze,ekyo mukyebaze nga abaganda,anti mu ntesa yange esose osobode okukilabamu…embera yolutekateka..olulaga nti ndi mukulembeze…..
    sununu

    Hahahahah – embera yolutekateka…Aha mwami Sununu omalako!
    Nze wabula ensonga nzo nzirabye zirimu omulamwa, era nteesa tuzisse mu miramwa tutandike okuziteesako. Nga bwooli mupya kanyambe nziteeke yo, gwe oyitayo nozanjula bulungi.

    #21506
    SengoobaSengooba
    Participant

    sununu wrote:

    Quote:
    Ndi mukubu nzija mwagala ntuke nebinubule….nzeja tutese….nga abatuuze bensi so si nga akabondo

    sununu

    Ebiteeso byo mbirabye ssebo, birimu eggumba era nsanze abakiise babikutteko. Wabula nkyalina ensobi endala eyokukugololamu. Owoluganda Sununu, wano tewali bubondo. Eno Website ya ggwanga lya bantu abayitibwa Abaganda, bannanyini era abatuuze bensi Buganda. Abalala bonna abali mu nsi yaffe nga bakimanyi tetubetaaga, bwe bubondo obwetaaga okutundula. Sununu ggwe ogwa mu kiti ki?

    #21512
    Sununusununu
    Participant

    Mukulu ssengooba eyo siyensonga enkulu si kiki kyendi naye nsobola okubalimba,nembalaga nti ndi na wamwanjo nyo ku ssabasaja…naye mbade njagala tusoke twemanye…kijakutuyamba okukola entegeka okulwanyisa abalabe baffe…oba abalabe bamwe nga nze bwonzigyemu

    Sinunu

    #21532
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    sununu wrote:

    Quote:
    Mukulu ssengooba eyo siyensonga enkulu si kiki kyendi naye nsobola okubalimba,nembalaga nti ndi na wamwanjo nyo ku ssabasaja…naye mbade njagala tusoke twemanye…kijakutuyamba okukola entegeka okulwanyisa abalabe baffe…oba abalabe bamwe nga nze bwonzigyemu

    Sinunu

    Sunu nange nkulamusizza munnaffe. Wamma nkulabye wazze kuteesa era webale, naye wabula, akaseera Buganda kerimu kazibu amaaso tulina okugejjako ffe nga abantu netutunulira ekyaffe ekya wamu. Nolwekyo tulina okufuba okulaba nga mu lukiiko tetukoleramu ntondo.

    Awangaale Sabasajja Magulu Nyondo Kabaka Muwenda Mutebi wa Buganda.

    #21551
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


    kati kano kaseera kalungi kakwezza buggya nokwegogolako buli kyetulaba ekitatuyamba na kwezimba nga tuzimba nyaffe Buganda

    AWANGAALE NANTAMEGGWA KABAKA WA BUGANDA

    #21768
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Okwemanya twemanyanga bulijjo, ekyetaagisa, kwejjukira.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 18 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.