nze nyanjulwa bambeja boka………….

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Okweyanjula / Introduction nze nyanjulwa bambeja boka………….

  • This topic has 10 voices and 17 replies.
Viewing 3 posts - 16 through 18 (of 18 total)
  • Author
    Posts
  • #21791
    MulongoMulongo
    Participant

    Naye ate emboozi ya mukulu Sunu eno njagadde nange tugyongereyo. Okwemanya kuno, okulungi okutali kwa kwewulirira ku banno, wabula okwetegeera, tukutuukako tutya? Era tumanya tutya nti kati twemanyi nga bwekisanidde?

    #22155
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    Ekyo kwemanya oba okwejukira Alex yakikolako, fe kyetulina okukola kwe kugenda mu Main Menu waggulu ku nsandago yolupapula luno, netukona ku Ebitufaako, bwetumala okusima ebyo, netukona ku Ababaka wansi wa Ebitufaako, bwetumala okubisoma nebyo nga tumaliriza ne Nnono.

    #22246
    MugerekaMugereka
    Participant

    Justus bwensomye byowandise,nenzirayo nenziramu okusoma ebintu ebyo byogambye. Naye nange nyongera okukutiira abaja wano nti byetagisa nyo okubisoma, Omuganda wemanye oba wejukire, ate nomugenyi omulala omanye wa wozze. Abaganda tuli muganda gumu, ogwekute mu bweyagalire, mu mukwano.

Viewing 3 posts - 16 through 18 (of 18 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.