“Nze sikiriza. Nabantu bange tebakkiriza”

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio “Nze sikiriza. Nabantu bange tebakkiriza”

 • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • Author
  Posts
 • #17447
  MugerekaMugereka
  Participant

  Ha oluyimba luno lwatandikanga lutya? Twalusanga mu nursery, nga olumu ku nyimba za Baganda eza byafaayo, nga lwogera ku kyetumanyi kati nga ekya Bangereza okugezaako Okunyigiriza Kabaka Muteesa II okukola byebagala. Awo webamuwangangusiza nebamutwaala mu busibe mu Bungereza, nebagezaako okumukozesa byebagala. Oluyimba kyeluva lugamba bweruti;

  Bamuwa abakazi abazungu
  Yabatunulira era yabasekerera
  Nti nze sikkiriza
  Nabantu bange tebakkiriza

  Bwaatyo bweyayogera
  Nti nze sikkiriza.

  Wabula ebirala sibijjukira. Naye twabiyimbanga ne pride yamaanyi nokwesiima nga bwetwasomesebwa. Waliwo ajjukira ebisingawo ku luyimba luno?

  #20732
  MulongoMulongo
  Participant

  Oteekwa okuba nga wasomera mu masomero ga Baganda nnyo, oba nga walinawo omusomesa Omuganda ddala, oba nga mpozzi mu maka mwewali ge ga Baganda abaggumivu, okusobola okubanga wazimanya zino. Maama wange yaluyimbanga nnyo luno, kuba yatendanga omugaso gwobwegaffu, nga obwakolebwa Abaganda mu ’57, bwebawangangusa Muteesa II.

  Bamuwa ne sente, nazo nazitunulira era nazisekerera. Naye nange sijjukira bigambo birala. Naye lutandika; “Kabaka Muteesa wa…” Nelubaako lwebimwogerako awo. Nelulyoka lutandika okwogera byebamuwa.

  Waliwo nolwa Kwa kwa, Olugamba nti; Ebirungi nga tebikoma, Kwa kwa, buli omu abyeyagaliza Kwa kwa,

  Ensi yaffe eno Buganda, kwa kwa Buganda nga etweyagaza,kwa kwa

  Eehe sikyabijjukira.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.