Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Masangaanzira / Crossroads › ‘Obufumbo si bwa kwegezaamu ng’engoye’
- This topic has 2 voices and 2 replies.
-
AuthorPosts
-
August 19, 2008 at 9:41 am #18318
Mulongo
ParticipantAbagole ne Nnaalinnya Nassolo (ku kkono).
Bya Richard Ssemakula
OMUSUMBA w’essaza ly’e Masaka, John Baptist Kaggwa aloopedde Kabaka abantu abalemedde mu bufumbo obw’ensonga n’agamba nti abasinga babufudde bwa kwegezaamu ng’abeegeza mu ngoye.
“Beene weekenneenye abantu bo, bangi ennaku zino bawasa abakazi ne babatulugunya kuba baba tebayise mu bufumbo obutukuvu mu Klezia. Nazzikuno ng’abaami n’abakyala tebawasiza wadde okufumbirwa ku luggya nga bwe kiri kati, ekyo kye tuyita okwegeza mu bufumbo ng’omuntu bw’akola okwegeza mu lugoye olupya ng’agenda okulugula,” Omusumba Kaggwa bwe yategeezezza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi mu Lutikko e Lubaga ku Lwomukaaga.
Yabadde agatta Timothy Nkata, mutabani w’omumyuka wa Katikkiro wa Buganda asooka Emmanuel Ssendaula eyeewangulidde Naava Victoria Nabakka muwala wa Nnaalinya Dorothy Nassolo mu bufumbo obutukuvu.
“Baana bange muyingidde obufumbo obutukuvu era mufube okulaba nga mubunywereramu kuba Katonda ky’agasse tekigattululwa. ate muli baamukisa okulaba nga mukubye ebirayiro byammwe nga n’Omutanda abeegese a-maaso,” Omusumba Kaggwa bwe yakuutidde abagole bano. Oluvannyuma abagole baasembezza abagenyi baabwe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero.
Bukedde
Published on: Monday, 18th August, 2008August 21, 2008 at 8:37 am #19410Musajjalumbwa
ParticipantBakiyingi bajaguzza emyaka 10 mu bufumbo
Mw. Kiyingi ng’aliisa mukyala we Nakiwala ku mukolo.Bya Robert Masengere
BAKIYINGI baakoze akabaga kwe baajagulizza emyaka kkumi bukya bagattibwa mu bufumbo Obutukuvu.
Omukolo gwabadde ku Pope Paul Memorial Community Centre mu Ndeeba wiiki ewedde. Mw. Deo Kiyingi ye bba wa minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku bulambuzi, Muky. Florence Nakiwala Kiyingi nga batuuze e Mutundwe mu Ggombolola y’e Lubaga. Aba Kkampuni ya Lisa Medical Centre e Mengo ssaako eya African Medical Solutions, amalwaliro agaddukanyizibwa Bakiyingi be baawomye omutwe mu nteekateeka y’omukolo guno.
Minisita Kiyingi yeeyamye okusigala nga munywevu mu bufumbo bwabwe bakolerere ezzadde lyabwe ery’abaana abana.
Minisita wa Kabaka omubeezi ow’amawulire Medard Lubega Sseggona, omulung’amya w’olukiiko lw’abataka abakulu b’ebika, omutaka Nakirembeka Allan Waliggo, Omulangira James Wasajja ssaako omwogezi wa poliisi mu Kampala, Simeo Nsubuga n’abalala be beetabye ku mukolo guno ogwakulembeddwaamu Mmisa eyasomeddwa Fr. Simon Jude Kanyike.
Bukedde
Published on: Wednesday, 20th August, 2008August 21, 2008 at 10:17 am #19411Musajjalumbwa
ParticipantEbiseera ssi bya kusajjalimba. Ebiseera bizibu. Mwenyweeze. Twetaaga okunyweeza omusingi gwe ggwanga lyaffe. Ate nga ne ba jjajja bwebagamba, amaka gwe musingi gwe ggwanga. Bemutwaalako omukwano babatenda bujega, bagala kutunafuya. Abaana baffe bonna tubagala, naye tewali ajja kubeera bulungi nga Obuganda tebuli bulungi. Saawa ya kunyweera mayuga, enyweera yelima.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.