Obuganda obuumu

This topic contains 7 replies, has 8 voices, and was last updated by Eddiect16 Eddiect16 eddiect16 eddiect16 1 month ago.

Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)
  • Author
    Posts
  • #18402
    Solo
    Solo
    Participant

    Mbalamusiza mwena abaganda mu linya lya mukama Katonda waffe.
    Lwaki Abaganda tulinga amdala gabuli gwanga okutambulilako? Ekisinga okuntabula omutwe,yeffe fenyini abamu obutagaliza baganda banaffe.
    Buli lwolabibwako ngolina kyogeza okukola mukiffo kyabano okuyamba mukiteke munkola oba kikulakulane ate basala magezi kusula.Ate nebatamanya mudda kiyinza nabo bandikiganyulwamu.

    Kyensaba Tukole feena KWE KUBEERA OBUMU Tewali kikola nekiba successfull nga tewalikwegata. Wade nga omusajja omumu asoobola okulya enkoko ye.

    Mubeele bulungi

    #21707
    Mulongo
    Mulongo
    Participant

    Solo wrote:

    Quote:

    Webale kujja kwetaba mu lukiiko munnaffe Solo.
    Ensonga gyoyogerako nkulu. Naye kino kisangibwa nnyo mu bantu abali mu kanyigo, mu buwambe. Abantu bangi mu mbeera eno bafuuka nga baana bato, okwagala okusanyusa ababawambye, nga bakosa bannaabwe. Kinajjukirwanga, nti mu Buganda eyalinanga obusobozi, yeyaweebwanga ekitiibwa mu kifo kyalinamu obusobozi obwo. Buganda yamanyika lwa kubeera na bantu batuufu, mu bifo ebituufu. Ba nnakatemba baali ba kika kya waggulu, abayimbi baali bayitirivu, mu njiiya ye bigambo nemumaloboozi. Abasawo nga bakuyunga namagulu nga tovudde wuwo… Obumanyirivu bwaali bungi nga abamu baliyita na ddogo. Naye kati laba na baana abeyisa obulungi bafuuka entanwe yomuntu okukukyaawa! Twaava mu Katonda waffe, naye nasemberayo. Yye ssaawa eyo kwejuna.

    #21713
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Solo mwattu tusanyuse okujja okuteseza awamu naffe
    Bino byennyini byetugezaako okujjayo tulabe entaanwa we yava era bwokitunulira ojja kusanga nga okusinga embeera eno yayingirawo nnyo ngekintabuli kimaze okunoga nze ndowooza walingawo nokugamba nti Omuganda owe nkula eyo, bwanekweeka mu bagwiira abewaabwe tebajja kumannya ,naye webimalidde nga akaali akatuli ko buzibu kifuuse ekinnya ekitalinaako ntobo

    #21727
    Musajjalumbwa
    Musajjalumbwa
    Participant

    Ate Solo ssebo nga oyagala okumanyira ddala ekyaagwa ku Buganda, soma ne ku byafaayo byensi endala. Laba Abayudaaya bwebaali mu biseera bya Yesu nga Aba Roman babafuga obumbula. Ddala ensi eri mu ddembe eyemanyi eyinza etya okuwaayo omuntu waayo owebyamagero bwaatyo omulabe amutte? Omuntu waabwe akwata obukwasi ku balwadde nebawona, omuntu azukiza abafu baabwe? Genda oyogere nabantu abageezako okuyamba Abaganda ekiseera kino. olabe ebibi byebakolwebbwa abantu benyini bebagezaako okuyamba!! Ggwe tolaba nti bwetukumira Baganda bannaffe wansi tubeera tuyamba mulabe? Naye lwaki tukikola? Kubanga tukyatambulira mu kkubo lyelimu elyatutuusa wetuli. Tulina kukola ki? Okujja wano okuteesa kirungi, naye ne kubalala okwegatta mu bibiina byonna ebiteseeza Obuganda kijja kututuusa ku buwanguzi. Bangi balowooza nti katugende tubeere awalala, mu nsi endala, ewali eddembe. Naye tewali nsi etefuna bizibu, ate mukunoonya nokufuna amagezi agajja ensi yaffe mu matigga, naffe tufuna okusasirwa kwa Katonda nokuvumulwa emyooyo. Yye ate negyetubadde tulowoza gyetwaddukira laba kati olwe byenfuna, nabo bannaffe bangi kubo eno batansise okwekulula! Ate olwenkya byeluleeta tewali amanyi. Nyaffe Buganda mulwadde, mujje tumujjanjabe, tewali bingi byetuyinza kukola nga maama muyi. Oluvanyuma abagala bagende bakyaale gyebagala, abagala batandike business, tujja kusanyuka ffenna kubanga tujja kutandika okulaba nga emirimu gyaffe gyonna gigenda bukwakku.

    #21735
    Justus Zagudu
    Justus Zagudu
    Participant

    Musajjalumbwa wrote:

    Bino Musajjalumbwa byayogedde nange byembade ngendaokogera.

    #21752
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Tusanyuse okutwegattako Solo nga tugonjoola ensonga ezituluma
    Kyoyogerako kituufu ddala ffe kennyini ffe twakkiriza okufuuka amadaala kuba ddala waliwo omuntu okukukozesa ekintu ku gun point omulundi ogusooka, naye bagamba nti sekawuka kaali kakulumye kuluno bwokalengera okajjirayo mangu effunfugu nga bukyaali nokabetenta nga tekanakusaako mannyo.

    Kyeekyo Abaganda kyetutakola amawanga amalala tegagoberera muwawa nga tegalina kyegafunamu , singa gwe wetegereza obote bweyabagamba okumuwaranirako Abaganda ya making-a sure nti bo tabatta era abakorela kyebagala , m7 bwazze nandibadde abo mu West bamufubutulayo ngatutte olutalo lwe naye bweyabannyonnyola nti nammwe mujja kulya era sijja ku batta nga nkutte obuyinza olabye nabo tebaviriddeemu awo.

    Abaganda abasigadde bakozesebwa naawe olaba engeri gyebajogebwa noono kafulu mu kunyakula obuwale mu supermarket ofwono naye kennyini abayita poodle’s za m7 gwe era nga tova ku nsonga ngo jeeko nti bwamala okubakozesa ngayungirira ebisango nga bakasuka mu mbuzi ekogga nga gamba next

    Kati ekya Abaganda obutagaliza balala nakyo okusinga kiyingiddewo nga banyaguluzi bebali mu buyinza kuba jjukira luli nga buli omu nebwaaba akola katono nga sobola okweyimirizaawo naye kati buli Muganda kyakola kuba babatya nti bakozi bano banaffe bangalo bunani bebasooka okukuba emimiro kuba baba balaba nti bo tebalina webaliira kati bwebatamussa misolo kwekupangawo ebisongasonga kuba bamanyi nti bwebanamuleka nakola ngaawa na Baganda abalala amaanyi nganabo bakola nga bali babayitako.

    Kati ogwo omutima gwebasiiga nabano abatalina bo webajja kyakkola olwemisanvu egyasulibwa abagwiira, mukifo kyokwagaliza muganda munne, ko yye nga nange nga bwesisobola kufuna naawe oleme kweyagalira mu kikyo nebatamanya nti awo baba basanyusa mulabe waffe ffena okulaba nti tetugenda mu maaso .

    #21779
    Efulansi
    Efulansi
    Participant

    Ate oba obujja bwayingira nemu family munda mu bazaalwa omu. Kyova osanga nga abantu tabakyayagalana na bulungi. bakola kyona, okubba, okwenda okutesasira, babere nga be basinga, bebali waggulu ku balala mu kubera ne bintu. Laba nobuwangwa babukyusa, okwanjula okulinga embaga, okwaabya enyimbe okulinga party, nga bakola babalabe. Side emu eri mu kwelaga endala kukotoggera. Bonna nga bali mu kuwalagana.

    #39801
    Eddiect16 Eddiect16
    eddiect16 eddiect16
    Participant

    Blog about sissy life
    prohormone supplements jokes and humour the secret to no makeup makeup
    http://feminisation.xblog.in/?profile.elaina
    young teen fuck free video sissy boys boys boys quote for today womenseekingmen buy a vibrator oil painting transgender person women in prison

Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.