Obulombolombo Bw’okusogola Omubisi.

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Enfumba y’ Abaganda / Baganda Cuisine Obulombolombo Bw’okusogola Omubisi.

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #18416
  NdibassaNdibassa
  Participant  Lameka:
  Nga sinnabayigiriza, ka nsooke nkuwe obulombolombo bw’okusogola omubisi.

  -Ffe abasogozi, tetubuuza bantu ku makya, tuba tugema njuki.

  -Olulyo olulangira telunywa mubisi gwa mabidde gaziikidwa mu ttaka.

  -Bw’oba owanise amabidde ku kibanyi, mu kiyungu tofumbiramu nva za nnyama

  -Enjuki esooka okujja nga musogola, mugitta ne muginyigira mu mabidde.

  Ggwanga: Owange obuwangwa bwe butyo!

  Lameka: Omubisi ngusogola mu mabidde amaganda, Musa ne Kisubi bwe mba mmufunye. Nkozesa ssenke oluusi n’ebireka, essubi bwe liba limbuze. Nfaayo nnyo ku buyonjo era amazzi ge nkozesa gaba mafumbe bulungi.

  FROM GGWANGA NEWS

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.