Okubeera Ku Mawanga Tekugalya

  • This topic has 8 voices and 8 replies.
Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)
  • Author
    Posts
  • #18846
    MulongoMulongo
    Participant

    Ebiseera ebyedda nga omuntu okujja ku mawanga nga bigalya. Era nga naali eka anyumya ku mwaana we ali ku mawanga emboozi ye ebeera eraga bbeyi. Naye bwetweyongedde okubbira mu mbeera eno, kigenda kyelambika nti okubeera ku mawanga tekigalya nakamu. Kulinga kusula ku mulimu, nga oli live-in. Oba kiringa kugenda safari ya myaaka na myaaka. Gwe okiraba otya?

    #22103
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Okujja okubeera kumawanga kulinga okulaba essuuti mu dduuka nekulabikira bulungi nogyeyagaliza, ogenda okugituusa eka nga tekutuuka. Ate bweba ekutuuka nga tekunyumira nga ekutunuza nga ekisodde.

    #22110
    KulabakoKulabako
    Participant

    Okubeera kumawanga kyandibadde awo singa yonna gyetutambudde tubadde mu bantu abakwaniriza nga bwekiri mu Buganda naye okuyingira egwanga nga buli omu akulaba ngo mulabe azze okumutwalako ekikye, wewaawo ndowooza singa buli omu munsi ye bwaatyo bwayisa abagiggyamu batono ddala abandiwambye ensi zabanaabwe.

    Luli ngebintu bikyaali bulungi ngojja ngosoma bwooba munsi mwosobobola okukolera ekyo kyooba osomye oba nomukisa naye bwebiba nti okanda kusoma ngemirimu era okyaali ku gya nsi yakunsa awo wewava obuzibu, era awo wennyini bwooba nga ddala munsi yo teri ntalo, komala okusoma okwatamu byanguwa nga dda kubutaka kukungula kyooba osize.

    Ebyennaku zino byafuuka byakasanvu ate tetwandifuddeyo singa tuliko emirembe ewaffe noyita mu bulumi ebweeru nogamba nti bwendidda ewaffe nga ntuula nga ndya busente bwange nga mpummulamu akabaasa .

    #22133
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Ojja kulaba abantu benkanawa abatasiima kubeera ku mawanga amangu nga Obuganda buteredde. Ojja kulaba Exodus, ojja kulaba abantu abanasiba ebyaabwe okudda nga balabye omukisa gwokufuna byebakola mu nsi yaabwe kumpi ne bakwano baabwe abasinga mu bulamu buno.

    #22157
    BusagwaBusagwa
    Participant

    Bwensoma bino nebiyengeyenge binzija mu maaso,kubanga mbazeemu emyaka egyakayita nga tusuubira nti ewaffe tuliddayo,gyeyongera.Buli olukya mpulira mbu ba Sserwajja okwoota beyongera kunyagulula bitali byaabwe nga ate basiinziira mu Buganda.Wabula nga bwebalugera nti “Omugumiikiriza yatta enswa” naange ndi omu ku aabo agenda okubisiba nga eddeembe likomyeewo omwa bwoobwe.

    Awangaale nnyo..Sabasajja Kabaka..

    #22174
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Nze kyennatandika okwebuuza ye faida eri mu kyetuliko kati Abaganda; Maama ali London, Taata ali Norway, abaana bali India, ba jajja bali Buganda. Bitegeezaki ebyo? Muganyula mutya mu bumu bwa family? Jajja kyaava alwaala, nga mwenna abandimuwadde ku girasi yamazzi muli wala. Kyaava ayita bannange mujje, mbu ate empapula, nga ate abaana okusoma, ate bino, biri, yye ate munafunawa emirimu nga muzzeyo. Obulamu bwaaki nga toli ne banno boyagala, mbu kuba wewunika ku mawanga?

    #22183
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Bino byonna byajjawo okuva lwetwasuula obuvumu bwa bajjajja ffe netulekera bamusenze alanda okumamira ensi yaffe nebatulinnya kumitwe nga bwetwogerako nga batutunuliza emmundu nokutuvuma obusososze songa bo bebakalibusososze banumber emu netubaleka nebakola kyonna kyebagala mu nsi yaffe songa ewaabwe tosobola kwesaazaayO
    Kati ngo Muganda bwalozezza kukubona bona nga tali munsi ye bwaliddayo e Buganda agenda kumanya ekyo kkola.

    Ago amateeka gebalina ewaabwe mbu bwotoba waayo tosenga tofuna kibanja ate nebyettaka tobirota nako, naffe byetujja okukolerako buli omu abeere ewaabwe atuule mirembe so si ngeri za musenze alanda akako kaffe manyanga kange naye akange togeza nokasaako engalo zo.
    Kuluno tujja kubalaga okusososla kyekki mujja kukinnyonnyoka!

    #22192
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Ate kyekiva kituuka kukufiirwa bano boyagala. Bwabera omuzade oba omwana oba mugandawo awo nolyoka otegera enaku eri mu kubeera ku mawanga. Nolyoka okuba amasimu nga awulira milanga wali, bona bakunganye okujako gwe. Nebatandika nokukwerabira, nga tebakyabuza oba onoja. Ha kale abalabye ku naku ebweru eno etunoze nno!!! Nze enoze.

    #22262
    MulongoMulongo
    Participant

    Yye nga kigalya ki okusulana ku byaalo ne ku mitala nga olina ewammwe? Kubanga bantu bameka abali ebweeru eno abatandiyagadde kudda waffe singa baali basobola okukolerayo emirimu gyaabwe ate nga bwebalabirira nabantu baabwe nga bali wamu nabagalwa baabwe? Naye lwakubanga zino enkonkobe zigaanidde mu nsi yaffe ate nga zigifudde ettagalikiro. Kigalyaaki nti ebbanga lino lyonna tetusobodde kwekunga kugoba misota mu nju yaffe naye netudda mukutanga tanga ku mawanga? Kyandigalidde nga emisota tumaze okugifulumya, netulyooka abagala bagenda batambulako, nga ayagala okudda eka yadda nga yonna mirembe. Kigalyaaki okubeera ku mawanga nga bangi nekubali eno buli lunaku batubala, nokwebuuza obanga batweetaaga oba nedda? Leero mbu abantu baabwe bakaddiwa ani anabakolerera, enkeera nti tebalina mirimu gimala. Ensi yaffe yesinga okutwetaaga, mu bulungi ne mu bubi. Okubeera ku mawanga nga bwetuliyo kati tekigalya nakamu. Alowooza nti kigalya, alowooza mpola, sikutyoboola okwo, kwogera mazima.

Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.