Okufumbirwa Abazungu Bano Baakulabamu ki?

This topic contains 2 replies, has 2 voices, and was last updated by Efulansi Efulansi 7 years ago.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #18954
    Efulansi
    Efulansi
    Participant

    Kyama ki ekiri mu Bazungu?
    Jul 01, 2012
    ENSANGI zino Bannayuganda bettanidde okufumbirwa oba okuwasa Abazungu naye abaffe, kyama ki kye basanze mu laavu y’Abazungu. Hasifah Naava ne Josephat Sseguya batuukiridde abamu ku balina Abazungu era bagamba bwe bati:

    [attachment=2587]nakimera ne bba.jpg[/attachment]
    Grace Nakimera

    Bba ye Andre Ringen enzaalwa y’e Norway. Baasisinkana bwe yali amukuba ebifaananyi era kati gye myaka musanvu nga bali mu laavu Nakimera gy’ayita ey’ekimemmette era nga balina omwana omu ow’emyaka etaano.

    “Twasisinkana ne Andre bwe yali ankuba ebifaananyi ku wooteeri emu mu Kampala. Twakkiriziganya okusisinkana akawungeezi n’ebyavaamu bufumbo era nga tubeera ffembi e Namugogo.

    Omusajja yandaga nti Abazungu bamanyi laavu oba lwakuba owange gwe mmanyi yekka . Siyinza kugamba nti Omuzungu oba Omuddugavu buli omu asinga munne kuba buli omu wa njawulo abantu buli omu yakula bubwe. Waliwo nga twakalabagana lwe yajja n’ebimuli n’afukamira we nali n’akimpa.
    Omwami ono olw’okuba omukwano gw’ampa gwansukkako nneebuuza kye nyinza okumuwa kwe kumuyiiyiza akayimba ka Nkwagala kufa. Olumu tusalawo ne tugenda ‘awutu’ n’omwami wange naye era tugenda mu bifo bisirifu okugeza tusobola okugenda mu wooteeri etaliimu kerere ne tulya ekyeggulo ne tudda awaka. Ky’atayagalirako ddala kwe kubeera mu bintu ebiwoggana era embeera ze naziyiga.

    IRYN NAMUBIRU N’OMUZUNGU WE FRANC MOREL
    [attachment=2588]namubiru ne bba.jpg[/attachment]
    Iryn Namubiru
    Bba ye Franc Morel gw’alinamu abaana. Iryn asinga kubeera Bufalansa ewa bba. Bw’ajja mu ggwanga abeera azze kulaba myuziki we bw’atambula na ddala ng’alina ennyimba empya. Naye konsati bwe ziggwa abeera alina okuddayo asange bba n’abaana baabwe. Namubiru agamba nti Abazungu bamanyi omukwano kubanga tebapapa.

    [attachment=2585]cindy ne bba.jpg[/attachment]
    CINDY SSANYU

    Bba ye Mario Brunetti nnannyini bbaala ya Cayenne e Bukoto.
    Cindy agamba nti Brunetti ye muntu gwe yalabamu laavu ey’ensi yonna era ye buli kimu kye nandyagadde. “Abazungu bwe baagala tebeekoza ng’Abaddugavu abamu abatangatanga.

    [attachment=2584]weasel ne mukazi we.jpg[/attachment]
    Weasel
    Ono amannya ge amatuufu ye Douglas Sseguya muto wa Jose Chameleone. Weasel yakoppera ddala mukulu we Chameleone olw’okwagala abakyala abeeru nga bwe bataba Bazungu wakiri babeeramu Oluzunguzungu. Essaawa eno alina Mujapani bwe babeera e Makindye.

    [attachment=2586]heard ne bba.jpg[/attachment]
    Judith Heard

    Nnaalongo Judith Heard alina bba Alex Heard Omumerika. Omukwano gwa Alex ne Judith buli muntu kasita oba ng’otambula ekiro na ddala mu mabaala oba ojja kubalaba okakase omukwano gw’Omuzungu ono.

    Judith agamba nti baasisinkana emyaka mwenda egiyise. Wadde ng’abantu batenda Abazungu nti bamanyi laavu naye be bamu n’abaddugavu kubanga abasajja bonna tebalina njawulo.
    We nayagalira okufumbirwa Omuzungu ne Heard we yankwanira. Alex musajja mulungi si mu ndabika yokka naye taata w’abaana mulungi kubanga afaayo. Balina abalongo n’omwana omu gwe bayamba.

    Mary D
    Amannya ge amatuufu ye Maria Akullo ng’Omuzungu we ye Alex gwe yaakamala naye emyaka 14 ng’amulinamu abaana 2 okuli Juliana ne Andre. Agamba nti baasisinkana ku Rock Gardens era nga baasooka kubeera baamukwano oluvannyuma ne batandika ebya laavu.Agamba nti omusajja tamusanzeemu buzibu, kubanga ky’ayagala ku mutima ky’ayogera era ensobi gy’abeera akoze agimugambirawo.

    #28024
    Efulansi
    Efulansi
    Participant

    Tebateeka kuyimbira baana baffe nga bawaana abagwiira. Tewali nsi yonna ekikola ekyo. Okwo kulya mu nsi lukwe kwenyini.

    #28027
    Mugereka
    Mugereka
    Participant

    Nze nno kyendaba kirungi bagende bayimbire mu nsi za bantu baabwe abo. Balyooke balabire ddala obanga ennyimba zaabwe banazigula. Era balyoke balabire ddala omukwaano oguli mu nsi zaabwe. Bave ku muntu omu gwebabeera bakutte, anti nomucungwa gugwa wansi wa muti mucungwa. Ebyo byebeyogeza mbu abazungu balina omukwaano, balekere awo okukola okuyimba nokukamula Abaganda nga babajjamu sente, balyooke alabe oba omukwaano gwo muntu oyo gunabeera gukyaaliwo. Ate ebyo byebagamba nti nze nayagala dda okufumbirwa omuzungu, kitegeeza ki? Oyagala muntu oba langi ye? Balowooza abasajja nabakazi bebakwaana basiru nnyo tebamanyi kyebaliko? Oba nga nno bbo babakozesa ku langi, nabo balina kyebabetaagako. Ate balina okumanya nti mu bubbi ba nsusu-njeru bebasinga okubeera ba kafulu. Abantu bano balina okuleekera awo okubuzabuza abaana ba Buganda nga babajja ku bintu bye nono yaaffe eya Buganda. Kubanga ffe Abaganda twagala mpisa okusinga byonna.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.