Okukola Ebiraamo Mu Mateeka Ga Uganda

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Machati Machati 7 years, 2 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18362
    Machati
    Machati
    Participant

    Ekiraamo: Ataakole kikye ensi eyinza okuba ng’emumenyera bwereere
    Jun 15, 2012
    [attachment=2567]Abe Mbogo.jpg[/attachment]

    Katambala (wakati) ne Katikkiro w’Ekika ky’Embogo nga bakuba omubala gw’Ekika ky’Embogo mu lumbe olumu.

    Bya Ahmed Mukiibi

    BANNAYUGANDA bangi batya okukola ebiraamo nnadala abakyali ku myaka emimpi! Balowooza nti kuba kweyitira kufa.

    Abalala bamala kulaba nga gabawedde, nga bali ku kannyo ne balyoka bakola ebiraamo oluusi n’afa ng’ekiraamu tekiwedde oba nga tekiteredde n’aleka enkaayana mu baana n’abenganda.

    Okukola ekiraamo kwava dda ng’ekitiibwa kya Buganda. Abafuzi b’amatwale baagenda okujja kuno mu myaka gya 1890 baasanga Abaganda bakola ebiraamo mu ngeri yaabwe wadde baali tebamanyi kusoma na kuwandiika.

    Enkola eyabangawo ebiseera ebyo nga musajjamukulu oba mukazimukulu emyaka gwe giwuubidde akatambaala ng’abaako nfa nfe we oba Omutaka gw’azza mu kyama n’amugamba nti, “omwana gundi njagala y’aba ansikira, ekintu kyange nkiwadde gundi, nzikibwanga gindi , omwana ono si wa luggya luno..” n’ebirala.

    Bakabaka nga Ssuuna ll Kalemakansinjo eyakisa omukono mu 1856, ne Mukaabya Walugembe Muteesa l eyakisa omukono mu 1884 baalaama. Ssuuna yalaama ng’ayagala abakungu be bamusikize Omulangira omuto.

    Yasikizibwa Mukaabya Walugembe eyalina emyaka nga 13, okusinziira ku J.S. Kasirye mu katabo ke, ‘Abateregga ku Namulondo ya Buganda’.

    Naye bwe yakisa omukono mu 1884, waaliwo obubonero mu bakungu okumusikiza Omulangira Daniel Basammulekkere Mwanga ll.

    Ono ate ye yalaamira ddala mu lujjudde, kubanga okusinziira ku J.S. Kasirye, bwe baamuyita okugenda mu kisaakaate kya Sir Apollo Kaggwa mu 1896, eyali Katikkiro we okulaba ku Mulangira eyali azaaliddwa, kigambibwan nti yamusongako nga bw’alaamiriza Katikkiro nti, “Omuntu wammwe wuuno, omuntu wammwe wuuno!”

    Teyamanya nti mumwa gumu, gwe yayita “omuntu wammwe” yali ajja kuba ng’amaze okumulyako Namulondo ng’akyali na mulamu!

    Amadiini gwe gaabukala mu Uganda, enkola y’ebiraamo n’eyongerwamu amaanyi kubanga buli ddiini ekkaatiriza okukola ebiraamu mu bagoberezi baayo.

    Mu Busiraamu, okuwandiika ekiraamo (al wasiyya) kukakata ku muntu yenna ali waggulu w’emyaka 12 era amateeka ga Sharia galambika ebirina okugobererwa mu kuwandiika ekiraamo.

    Waliwo hadith ezoogera ku kuwandiika ekiraamo ng’emu ku zo egamba nti Omusiraamu bw’amala okukola ekiraamo akakatibwako okukitunulamu buli luvannyuma lw’ennaku bbiri okulaba nti kituukana.

    Bayibuli nayo eyogera ku kukola ekiraamo mu Bassekabaka eky’olubereberye 2.1-2., Kabaka Daudi bwe yalaamira mutabani we Sulemaani.

    Eddaame lya Kabaka Daudi Chwa ll eyakisa omukono mu 1939 lyakubwa mu luyimba lw’omugenzi Christopher Ssebadduka. Yalaamira mwana we eyava mu mpeta, Eduard William David Fredrick Walugembe Luwangula Mutebi Muteesa.

    Sir Edward Muteesa ll bwe yava mu buwanguse mu 1955, naye kwe kulaamira mutabani we Ronnie Mutebi ll ne muganda we Henry Kimera oluvannyuma eyasiramuka n’afuuka Rashid Kimera n’alekera Olukiiko okulondako omu.

    W e yakisiza omukono mu buwanganguse mu 1969, Mutebi ye yabikka akabugo, era n’akaddamu mu 1971 ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ng’enjole ekomyewo era n’asumikibwa Abataka mu Masiro e Kasubi ng’okuziika kuwedde. Amatikkira baddamu madde mu 1993 naye nga mu buwangwa bwa Buganda, Kabaka yali w’ali.

    By’ogoberera okukola ekiraamo

    Okusinziira ku kibiina kya, Uganda Network on Law Ethics and HIV/AIDS, (UGANET), okukola ekiraamu kulina okugoberera amateeka ga Uganda.

    Nga tonnakola kiraamo, aba UGANDET bagamba nti bino by’oteekeddwa okussaako essira;

    1. Oteekeddwa okuba ng’oweza emyaka egy’obukulu 18.

    2. Oteekeddwa okuba ng’otegeera bulungi era nga towaliriziddwa mu kiseera w’okolera ekiraamo kyo.

    3. Oteekeddwa okussa ekiraamo kyo mu buwandiike.

    4. Oteekeddwa okussa omukyala/abakyala/omwami n’abaana bo mu kiraamo, era oteekeddwa okubagabira ku bintu by’obusika. Singa osalawo obutabagabira kintu kyonna mu kiraamo, oteekeddwa okuwa ensonga lwaki osazeewo bw’otyo.

    5. Oteekeddwa okussa ennaku z’omwezi n’omukono gwo ku buli muko gwa lupapula lwonna oluli mu kiraamo kyo olw’okwewala abantu abalala okujingirira ekiraamo kyo.

    6. Oteekeddwa okussa omukono gwo oba ekinkumu ku nkomerero y’ekiraamo kyo era kino kiteekeddwa okukolebwa mu maaso g’abajulizi waakiri babiri abateekeddwa okuba nga baweza emyaka egy’obukulu 21 (abiri mu gumu) oba okusingawo.

    7. Abajulizi bano tebateekeddwa kuweebwa mugabo gwonna mu kiraamo.

    8. Kola kkopi z’ekiraamo waakiri ssatu era osobola okuteresa omu ku bano wammanga kkopi y’ekiraamo kyo: mukwano gwo gwe weesiga, looya wo, bbanka yo, ofiisi ya Administrator General , munnaddiini , omukulu w’Ekika oba omuntu omulala yenna gw’oba olonze.

    Wabula okujingirira ebiraamo naddala mu bannamwandu ne bamulekwa abakuluppya kungi nnyo ennaku zino. Eriyo omu ku Balangira b’emituba gy’olulyo Olulangira egisinga obukulu mu Buganda, agambibwa nti yalya nsowole, nnyina bwe yeekobaana ne mikwano gy’awaka ne baginga ekiraamo ekyasisa Omulangira omuto ne balekawo Abalangira abasajjakudde.

    Omu ku baali bakatikkiro b’omu luggya luno, eyalina ekiraamo ekituufu, yagenda okutuuka, nga baaginzeewo dda ekirala, n’afa manyige wadde alina abatono be yabbirako.

    Bamulekwa ne bwe baagenda mu kkooti, era Omulangira omuto yabasinga! Newankubadde abantu bajjumbiziddwa okulaama, naye bangi bakutya nti kukungula!

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.