Okwagala atakwagala n’okwagalibwa gw’otayagala

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Mutaayi / Best Buddy Okwagala atakwagala n’okwagalibwa gw’otayagala

  • This topic has 5 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #17377
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Okwagala atakwagala n’okwagalibwa gw’otayagala olowooza kiruwa ekisinga okunyiga omutima?

    #19935
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nze nfunda nokwagalibwa gwesagala , omutima gwange sagala kugusaako gawundu gesisobola kutukako kunyiga, kasita gwemba sagala asigala gyaali kuba teri kikoyesa nga kwekweeka muntu nga tomuliiko , ate nga ye akwemaliddeko oluusi oyagala okubeera polite omugambe nti nze siri mu line yaabo abakufa notandika okumwegayirira ngo musongera kubugugu bwewettisse asobole okweyongerayo .
    naddala bwakusanga ngozibuwalirwa okumenya omutima gwe ngo mubulira amazima.

    Oludda olulala teri kikwaasa busungu nga kwagala muntu nga ye yelowooza nti ali almighty wa waggulu nnyo omukwaano gwo nga laba talina gyagutwaala, akulaba nga ali ku class eya wansi kuyye , atya mikwano gye okumanya nti omwagala, songa kabe kasinge mikwano gye bwagikuba amabega nga akweyambisa mungeri ematiza omubiri gwe, naye bwawulira akakuba nga kusindika wala eri baleme kumusanga nti ali naawe, kabe kasinge nga aba amaze nokukirangirira nga bwomwesibako nga te ye takwagala, nolaba bweyekomba amangu engalo baleme kumutegeera nti omukono yabadde yagukubye dda mu kibya.
    Owengeri eno aba yetaaga kimu kyokka to bitch slap and go Rambo on him.

    #19947
    MulongoMulongo
    Participant

    Kalibattanya ggwe wandisoose okutubulira ebibyo. Ssi kutukubirawo kibuuzo nokalya. Kale katukole obuntu bulamu tukiddemu ekibuuzo kyo. Yye oba lwaki abantu twagala nnyo okwogera ku nsonga z’omukwano?

    Okwagala omuntu atakwagala kiruma ssebo, naye ekirungi ekikiriko wakiri ggwe oyinza okwe controlling-a. Bwolaba nga munno gw’oyagala era gwoyagaliza obulungi nga ate otandise kumukooya, oyinza okusalawo okumulekera eddembe. Ekireeta obuzibu lye ssuubi eryo, mbu anamanya omukwano gwo bweguli ogwe kimmemmette, nakkiriza okuguyingiramu. Oluusi wabeerawo nokwemanya nti nga angaana atya nze? Nze tebangaana! Songa ate ggwe bulijjo ogaananga abalala.
    Ebyo byebikulema okussako ekipimo, nga olwo ofuuse owo omutawana.

    Kati su side yokwagalibwa atakwagala, nga ebyobuntu bulamu bigaanye okumatiza munno nti mumutima gwo talimu. Awo nga atandise okufuuka omutawaana. Kyaava akulundanga bute. Kyaava akola obujja, n’alowoozesa gwoyagalana naye nti obaliga. Oluusi ayagadde n’okumukolako obulabe. Abakazi tumanyi nokukaaba. Abasajja begayiriira, bamanyi nokufukamira nebamyuuka namaaso. Ate waliwo bannaffe abamawanga agamu abasindika nebiteega bikuleete lwa mpaka, bwooba obadde okyabiyita bya kubalaata.

    Nedda, mmala gagala atanjagala, nesagalibwa gwesagala.

    #19953
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Tewali musajja atayagala bakazi bamwagale, nabeera nga yeloboza, nga buli lwayagala yemala eggoga. Bangi kitwagaza okufuna sente, okwambala obulungi, ebitiibwa … Ekizibu ekiri ku kukwaana abakazi, bangi tebakkiririzaawo. Basooka nebageeganya nomwaka omulamba, nokusukka wo ate bwebamala nebakkiriza. Waliwo nabefuula hard to get, okunyumisa akazannyo. Bwatakukooya kumala bbanga ddene nnyo, bwakkiriza zibeera fireworks. Ekibi kizibu okumanya enjawulo. Akakodyo kali mu kwesenda abo abalina emotional insecurity, nga bwebagamba nti hell knows no evil like a woman scorned. Omukazi omutawanyako ebiri nga yagenze dda ku basawo. Komala nogenda ewuwe olwo lumu luti, nga ojja kubirya ebiragala, obinywe, obinaabe, ate yenna nabyewereba nga mmu byo mwowugira. Naye bbo abakyala bwebanyiga ayinza nokukusindikira abazigu. Naye abo bebatono, ate bangu bakumanya nobetegula. Nze nnondawo banjagale bangi, benjagala nebesagala. Laba ba film stars sente zebakola mu kwagalibwa abakazi?

    #19987
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Nasomako mu mawulire omusajja eyasobya ku mwana wo mukazi omuto kubanga omukazi yali agaanye okwagalana naye. Ewa Senga wange eyo e Semuto – Bulemezi waliyo nomukazi eyasindikira muka omusajja amayembe namutta kubanga bba womukazi oyo yagaana okumwagala. Naye ogwo bannange gubeera mukwano? Kubanga ogwo bwegubera mukwano, nedda sagala. Naye nze bwenjagala omuntu nebwaaba tanjagala ndowoza aganyulwa. Mberanga omuwala eyayagala nga mwanyize natuwanga ebintu mu dduka lya kitaawe kate alisule.

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.