Okwalula Abaana mu Buganda

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #17791
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    .Kuno Kwe Kwaffe – Okwalula Abaana mu Buganda .
    Bya Alex Lubwama
    kuno_kwe.jpg
    Okwalula abaana gwe gumu ku mikolo gy’obuwangwa emikulu ennyo mu Buganda. Wano abazadde we baayanjuliranga abaana abaabanga bazaaliddwa mu kika, oluvannyuma lw’okubakunngunta okuggyamu abatali ba musaayi.

    Omukolo guno oluusi gwetongola ate olulala ne gugattibwa mu kwabya ennyimbe.

    Omukyala bw’azaala, akalira k’omwana akakuuma butiribiri era yakasibanga ku lwebagyo,nga luno lwe luwuzi abakyala lwe beesibanga mu kiwato.

    Okwalula abaana kwawukana mu bika,naye nga bino bye bitabula ku mukolo ogwo;omunnyo gw’ensero, omuzigo omuganda, amazzi, enkejje, essubi, ekitooke, ate Abalangira bakozesa mata.

    Abaana nga banaayalulwa, abakyala abazaala abaana bakeera ku lusaalu ne batema eggugu, guno guba muddo gufaanana ng’essenke naye nga gutunngununa.

    Bagwanika era bwe gukala, bafuna ebibya bibiri, ekiramu n’ekibotofu. Bakunya ebireka ne bagattamu evvu ly’eggugu. Evvu lino balissa mu kibya ekibotofu ne bassaamu ebireka bye baakunyizza. Amazzi agasengejjeddwa nga gayiika mu kibya ekiramu, gwe bayita omunnyo gw’ensero.

    Jjaja w’abaana omukazi azaala kitaabwe oba omusika we, y’akulembera omukolo guno. Bwe baba tebaliiwo, ssenga w’abaana asobola okugukola.

    Maama w’abaana atuula mu ddiiro wakati, n’ekibbo ekirimu amata, amazzi oba omwenge, abaana ne bamwetooloola.

    Maama w’abaana akwata akalira k’omwana asooka n’akakwasa jjajja era n’amubuulira n’erinnya lya nnyini ko. Jjajja akwata akalira n’akasiiga omuzigo nga bw’agamba nti ‘Oba oli mwana waffe zannya’. Akannyika mu kibbo ekirimu amazzi, omwenge oba amata. Omwana bw’aba wa musaayi, akalira kadda kungulu ne kaseeyeeya.

    Jjajja akuba akaluulu, era abali ebweru nabo bamwanukula n’akaluulu. Ekyo ekigezo ekisooka nnyina w’abaana aba akiyise. Singa akalira k’omwana kagaana okudda kungulu, kaba kabasa. Omukyala tebaakomanga kumukuba lwogoolo, naye baamugobyanga omwana, nga bwe bamulangira obwenzi.

    Jjajja yanaazanga abaana abakakasiddwa, n’abasiiga n’omuzigo. Buli mwana bamwokera enkejje n’agirya ne nnyina. Ekijjulo kifumbibwa era bassaamu guli omunnyo ogw’ensero. Jjajja akoleza abaana abaaluddwa ne bannyaabwe. Jjajja addamu okunaaza abaana era amazzi agafikkawo agayiira bannyaabwe.

    Mu bika ebimu, jjajja agenda mu lusuku n’obulira bw’abaana n’abufumita mu kitooke ne busulamu, addayo ku kitooke enkeera, bw’asanga ng’omutima gw’ekitooke gukaze omwana aba si wa waka. Akalira bwe kalinnya ne katuuka ku mumwa gw’olulagala oluto, oyo omwana aba wa musaayi.

    Omusajja ye yasalangawo ku nsonga ya mukazi we eyabanga asangiddwa n’abaana abatali ba mu nju. Abamu baabagobanga ate abalala baabasonyiwanga.

    Okwalula abaana kugenze kudibizibwa era kiviiriddeko abaana abende okwegazaanyiza mu bika ebitali byabye ne batuuka n’okulya obukulu bw’ekika, z’ensowole z’owulira mu Ddiiro lya Kisekwa ezitaggwa. Abatakakasa baana baabwe, ennaku zino babakebera omusaayi mu ngeri ey’ekizungu DNA test, ekakasa nti omwana oyo wuwe oba si wuwe.

    Omukolo guno ogw’okwalula abaana gwateekanga abakyala abazaala abaana mu nju ku bunkenke ne bwe baabanga nga si benzi.

    Nga Ssaayansi bw’atulaga, omuzigo n’amafuta biwewufu okusinga amazzi, era olw’okuba akalira akakalu kaasigibwangako omuzigo, kaabanga kalina kudda ku ngulu kaseeyeeye ku mazzi.

    Akalira kaabanga kalina okuteekwa awatuufu mu mutima gw’ekitooke kasobole okutambuzibwa amazzi g’ekitooke okutuuka waggulu ku lulagala. Singa jjajja takatereeza bulungi mu mutima, tekatambula.

    Noolwekyo, entaanya entono ennyo yagobyanga omwana w’omunju, n’aboolwa n’akula ng’emmomboze etalina kika.

    #46852
    EugeneJer EugeneJerEugeneJer EugeneJer
    Participant

    [url=https://expert-zaim.online]???????? ????????? ?????[/url]. 100 ???? ??? ?????????! ?????? ????????? ?? 2 ??????. ???????? ? ???? ??????!

    #46855
    EugeneJer EugeneJerEugeneJer EugeneJer
    Participant

    [url=https://expert-zaim.online]Получить кредитную карту[/url]. 100 дней без процентов! Онлайн одобрение за 2 минуты. Достапвка в день заявки!

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.