Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ebyeddiini / Religion › OKWESIGA KATONDA MU KIZIKIZA
- This topic has 1 voice and 0 replies.
-
AuthorPosts
-
November 30, 2014 at 8:45 am #16903
OKWESIGA KATONDA MU KIZIKIZA
Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.” (Yokaana 13:7).
Malyamu ne Maliza banakuwala kulwokubanga Yesu teyajja okutuusa nga mwanyinaawe Lazaaro amaze okufa. “Awo Maliza n’agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.” (Yokaana 11:21)
“Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy’ali n’amulaba, n’agwa ku bigere bye, n’amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.(Yokaana 11:32).
Naye mu kifo kyokubawa ensonga, Yesu yabaddamu nti, “Sikugambye nti Bw’onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” (Yokaana 11:40).Katonda bweyagamba Abraham okusaadaaka mutabani we Isaaka, Abraham teyakitegeera, naye oluvanyuma yafuuka omujulizi we ekisa nobwesigwa kya Katonda bweyaddizibwa omwana we.
Musa yali takitegeera lwaki yalina okumala emyaaka ana 40 mu ddungu, naye oluvanyuma Katonda bweyamuyita okukulembera Israel okuva mu buddu okugenda mu ddembe, olwo nakitegeera.
Yusufu yali tamanyi lwaki bagandabe bennyini baali bamuyisa bubi, oba lwaki yasibibwa awatali nsonga, naye oluvanyuma yalaba omukono gwa Katonda mu bintu bino byonna. Taata we yabuuza lwaki Yusufu yali atwalibbwa okuva okumpi naye, naye oluvanyuma, bweyali nga atunula mu maaso g’omusajja eyali afuuse gavana, era eyali awonyezza obulamu bwe ggwanga lye lyonna, ebigendererwa bya Katonda nebimweyolekera.
Nga nabaana bo bwebatalowooza bulijjo nti byosalawo birimu amakulu, bwetutyo naffe bwetutategeera makubo Katonda gakozesa. Kyekyo lwaki Yesu yagamba Malyamu ne Maliza, “Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.” (Yokaana 13:7).
Katonda takulinda kutegeera, naye akusubira okumwesiga.
Newankubadde nga yali ajudde ebizimba ebyengeredde, nga ali mu buyinike nobwaavu obususse, Yobu yagamba: “Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw’alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.” (Yobu 23:10).
Katonda akugezesa? Bwabeera akugezesa oyigaamu ki? Byoyitamu bikwongera kubera muntu muzibu oba mulungi nga weyongera okubeera okumpi naye? (Is the experience making you bitter, or making you better by causing you to draw closer to Him?)
Tusabe Mukama atwongeremu okukkiriza tusobole okumwesiga wadde nga tuli mu kizikiza, tukungule okuyiga mubigezo byatuwa. Era tusobole okutuuka ku birungi byatutegekedde mu maaso. Amiina.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.