OKWEYAGALIZA OBUMANYIFU

  • This topic has 8 voices and 10 replies.
Viewing 11 posts - 1 through 11 (of 11 total)
  • Author
    Posts
  • #18828
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Nasomako ku musajja omu eyayagala ennyo amanyibwe namawulire gamuwandiikeko. Naye bambi ndowooza nga talaba kyayinza kukola kya mugaso kiyinza kuleeta nsi kwagala kuwulira bimukwatako. Kyeyava asala amagezi, nagenda nayokya Ekanisa. Era bwebatyo abamawulire nebamuwandiikako nga bamukubye nebifaananyi, police nga emutaddeko empingu emutwaala mu kadukulu.

    Bye biseera bino abantu bangi bagala okufuuka abamanyifu mu nsi. Twogereko ku mulamwa guno, kubanga ekintu kino kikeeta bangi.

    #21822
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Ngamba bwenti waliwo ekikula kyabantu nga ekyokuba nti bamufaako oba bamuwaana nga kyekimuwuliza obulungi natuuka okukola ekintu nebwekiba ekikyaamu wakiri bamwekokkole naye era nga bamwogeddeko.

    Nze ndaba abantu bano baba tebekakasa nga balowooza nti engeri yokka gyebasobola okuja mu balala bateekwa kubaako kintu kyebakoze kiwawaaza balala matu
    Kuba omuntu eyekakasa aba teyetaaga kugenda kutta oba kubba okukola ebya mbyoone erinnya lye lisobole okwogerwaako ono aba aliko ekirwadde ekiyitibwa inferiority complex

    Ate nga abantu benkula eno tulabye bangi ate wewuunye tayagala kuba yekka kwekufunirako banne nabagamba nti babalowooza nti muli bawansi, babanyooma, nge kimukoza bino asobole okufuna abagoberezi era amaliriza ate ye yayagala okuba omukulu waabwe nga kyabadde ayagala awo aba akifunye. awanibwe bamutende

    #21826
    JonaJona
    Participant

    Abantu abeyisa obubi batera okuba nekirwadde ekyo “inferiority compex”. Ekyokulabirako: Adulf Hitler, M7.

    Inferiority complex eva kuki, oba omuntu agifuna atya? Kino kitera kuva ku “unfinished business” mu bulamu bwomuntu. Oba, oluusi kiva ku ngeri omuntu jeyakuzibwaamu okuva ku myaka 0 – 10.

    Mumyaka ejo, omuntu wakolera personality ye. Enkula ye mumyaka ejo bweba embi, naye akula bubi n’ebirwadde bingi. Nga mwemuli inferiority complex, suicidal tendency, drunkardness, murder, rape, obubbi, prostitution, nebirala.

    Abantu abakulira ku muzadde omu (single parent) batera okuba mubuzibu bungi, okusinga abakula n’abazadde bombi mumaka gegamu (married family).

    #21832
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Naye ekizibuwaliza abaana aba maka agomuzade omu, oluusi kibeera muzadde yenyini, sso ssi kuba nga ali omu. Bwosangibwa olwensonga yonna nga omwana omuliko wekka, teekawo Yesu nga ye Taata we bwobeera omukazi, Maria nga ye maama we bwobeera omusajja. Mukuze nga omugamba nti oyo ye muzadde we owokubiri. Naddala nga munno tewayawukana naye bulungi. Kubanga abaana ba bazadde abava mu nsi, tebaba na bizibu bya baana ababazadde abaawukanye mu bubi, nga bayomba. Kale tebereza obubi buno businga okufa, eri abaana abakula!!!

    Okudda ku mulamwa: ndowooza kino kiva ne mu baana oluvanyuma abakula nebafuuka abantu bakulu okubeera ba “attention seekers.” Nga omu ku bazadde tabalaze nti abafaako nebakulilamu omuze gwokwekubira endulu abamanye oba ssi ekyo ensi ebamanye nti nabo webali emugambe. Abaana abalekebwa ba nyabwe batera kutawanya nnyo bakazi. Abaana abalekebwa ba kitaabwe, ba maama yagenda naye ku ngugu e gundi, abo batawanya nsi yonna. Taata gyaali ne kika kye kyonna bawulire batende. Ndowooza aba ayagala taata oyo yejjuse. Oba yeewane agambe nti omwana wange mumulaba bwabba ensi yonna nemukaaba? Anti ne Taata alekerera omwana we naye abeera mulyaake.

    #21839
    N.KibuukaN.Kibuuka
    Participant

    Waliwo ekitayogerwa ku ntalo z’abayimbi
    NZE omu ku bantu abatannakkiriza mboozi eyanyumiziddwa omuyimbi Chameleon n’abaleebeesi be ku bizibu ebyamutuuseeko wiiki ewedde.

    Siwakanya nti baamukubye naye omutima gung’amba nti bino byabadde bipangirire. Guno si gwe mulundi ogusoose nga Chameleon ‘akubibibwa’ banne naye ddala kiki ennyo.

    Nze ndowooza nti ensonga ziri bbiri. Abayimbi bano olw’okuba bafunye ettutumu eritasaanidde oba eritabagwanira, bambi beesanze nga nabo tebamanyi ngeri gye bayinza kulikuumamu. Engeri yokka gye bayinza okwekuumira mu mawulire ya kwerwanyalwanya n’okukola ebintu eby’ekito baboogereko.

    Ekirala obwavu n’obutasoma nabyo bikoze bubi eggwanga lino. Teebereza eggwanga eririna ebizibu enjolo ate bwe limala ebiseera nga linyumya ku Chameleon bwe baamukubyemu!

    Ebbula bikolwa lino eritulemesa okukola emirimu gyaffe n’okulowooza ku bizibu byaffe naye ne tudda mu kumalira ebiseera ku bantu abatasobola na kunnyonnyola lwaki bali nga bwe bali lyakutwavuwaza nnyo.

    Tutandike okusuusuuta abo bokka be tukakasa nti bajja kutwongerako okuva mu bwavu okusinga okumala ebiseera mu bitaliimu.
    19 January 2009
    Julius Ssettumba,
    Makerere.

    #21848
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    MulimU abantu abalowooza nti ensi yonna etudde awo kwagala kukola kimu kyokka kusuUlawo byebakola bajje boote ebyekito bya bantu abakulu abagaanyi okukula, oba bewandiyise ba big baby ate ndowooza nyinza okukigumikirizaako nga mukazi yakikola kuba awo ngamba nti he! ssebo emyaaka gitiisa naddala bwegitandika okuddira omubiri gwo negitandika okuguzannyirako duyiro, negireka nga buli wegiyise wefunyizza amavuunya , kale ngooyo bweyerwanako ogambako kale naye era nyanguwa okwesegula nga sinayisibwa bubi nnyo.

    Naye kyesisobola kugumikiriza ye mwaami Omuganda abalala sibafaako nyinza nokubaterawo excuse nti osanga kiri mu bulombolombo bwaabwe, naye eyeyita Omuganda bwagaana okukula mu birowoozo andetera okunsiyisa engalo mba njagala to bitch him upside his head kuba mmanyi nti mu Buganda omwaana omulenzi bamulaganga mangu nti akuze , nokusobola okukulembera banne mu bintu byo buvunanyizibwa , kati bwowulirayo ensajja enkulu nga zikyeyisa ngo bulenzirenzi obugenze okukuba gogolo kuluzzi weralikirira.

    Kyoova olaba nti Buganda yaffe eyedda teyakulembezanga ssente wabula buntu bulamu nekitiibwa omuntu kyeyewanga.

    ABAAMI NA BAKYAALA ABALOWOREZA MUKWEKOLA EBYEKITO MUJJUKIRE WALIWO ATE ABATO BENNYINI ABABATUNULIDDE NGE KYOKULABIRAKO, NANDIBADDE TUKIMANYI NTI OBUKULU BUWOOMYA TOOKE LYOKKA NAYE SIROWOOZA NTI ERIYO OMUNTU AYAGALA NOKOLAGANA NOMUTO MUBIROWOOZO, OBUGANDA TEBUYINZA KUZIMBIBWA KUBANTU BAKYAYAVURA MU BWONGO

    #21893
    MugerekaMugereka
    Participant

    Ye Museveni bambi, yali ayagala bamumanye okuva mu kuzalibwa kwe, nga bwawandika mu katabo ke, yakula nga muntu ayali agezako okwejayo bamulabe. Abantu bwebati balowoza nti bwennata baja kundaba, bwenalya enkwe, baja kundaba, bantye wano okwagala okumanyibwa kufuka kwa Sitani. Kiraga nti omuntu teyafuna mukwano, ne nyina yenyini teyamwagala okuva lweyafuna olubuto. osanga ne nyina ne kitaawe bali bawalangana.Omuntu ono avamu mu kintu kino aja namanyi amabi mangi.Omuntu omulungi abantu bamulaba kubanga abakolera ebintu ebilungi, nebabulila banabwe.Ono takola bilungi, tewali ayagala kumumanya. ate bwaba akyali wansi amateka tegamuganya kukola bibi, eyo gyebamutulisiza, teli ali mumanya. Kyava alwana nakola buli kyabukusa okutuka ku ntiko. Nekibera kintu kizibu nyo.

    #21928
    MulongoMulongo
    Participant

    Wano kale obusungu obulwaanya abntu bwavudde wa? Okujjako Okwagala okuwandiikibwako mu mawulire, abantu babogereko?

    Awawaabidde Bebe Cool olw’okumukuba
    Bukedde 26 01 2009
    Written by VIVIAN NANKYA
    OMU ku bayimbi abapya Gentle King akubiddwa muyimbi munne Bebe Cool oluvannyuma lw’okumuteeberezza nti yabadde azze okumubanja ssente ze yayimbidde ng’ekivulu kiwedde.

    Gentle King agamba nti Bebe Cool yategese ekivulu ku Didi’s World e Kansanga ku Mmande ng’abayimbi bannayuganda bavuganya n’abayimbi bannakenya. Ekivulu olwawedde Bebe Cool n’abalagira bamusange ku wooteri ya Africana.

    Olwagenzeeyo ku Shell e Kabalagala n’amubuuza gwazze naye n’amugamba nti Kid Fox olwo n’atandika okumukuba empi ng’ate yabadde abadusseeko.

    Yagguddewo omusango ku poliisi e Kabalaga oguli ku fayiro SD:07/26/01/09. ogw’okulumya omuntu.

    #21965
    KulabakoKulabako
    Participant

    abayimbi baffe bakyalina olugendo twetagayo ekisakaate kya bayimbi abaana enzaalwa ya Buganda

    #21966
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Mulongo kano okabusiizza amaaso

    yabadde abadusseeko.

    Ebintu gyebigenda bikoma okukaluba kati buli omu akozesa olukujjukujju okusigaza nokubanja ssente okusobozesa okweyimirizaako , nze ndowooza wano munne yandimugaambye bugambi nti ssente zonna ba na Kenya bagenze nazo awo omusango negugweera awo.

    Kati abaana baffe abaganda beyisa kitujju buli kiseera wabaawo aggundibwa ebikonde, oba agenda nolusamba ggere lwaaki tebazimbira ddala boxing ring abantu nebasasula nga bamanyi ekibaleese okulaba nayagala okukuba naye naggwa ekiruyi na mawulire negabawandikako mu sports section nebafuna ettutumu erisasuliddwa ababa bazze okuberolera okusinga okweyisa nga bu schoolboys oba bakazi bajja abalwanira attention e wa bba waabwe.

    #21972
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Wali no abe Hollywood, nga bamaze okutegera nti ensiyona ebategede ate nga batandika okutya nti egenda kuberabira. Nga batandika okwelarikilila okuva eyo wagulu gyebali okugwa, nga batandika okumira amakerenda. Abamu bamira makerenda okwebaka nokuzukuka, ate nga abalala bali na ku njaga.sebo tewali kwesima mu nsi muno, buli omu nebizibu bye.

Viewing 11 posts - 1 through 11 (of 11 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.