OLULIMI OLUGANDA AMAKULA

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebitabo / Books OLULIMI OLUGANDA AMAKULA

 • This topic has 2 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • Author
  Posts
 • #18800
  KulabakoKulabako
  Participant


  Bonnie Matthias Lubega 64yrs ye muwandiisi wekitabo Olulimi Oluganda Amakula .
  Asibuka Kikondo Kabuwoko gye yava n’asomerako mu Holy Family Seminary, Bukalasa;St Henry ‘s College,
  KitovuSt. Joseph’s Teachers’ College ,Bikira.

  Oluvannyuma lw’okusomeseza emyaka 6 n’okukolako mu gavumenti emyaka 4 , yeesogga mu by’amawulire.
  Yasooka kugu tendekerrwaamu mu London, 1958, n’atandikawo ne Ssanyu Magazine akaaganja ennyo ke yayimiriza oluvanyuma lw’ebizibu ebitali bimu

  Mu 1963/4 yeeyongera okukuguwazibwa mu by’obuwandiisi bw’amamawulire, obwebitbo n’obwe’ebya
  Public Relations mu FriedrichE bert College ,Berbneustadt mu Germany. Y’omu ku bofiisa abatandika ekitongole
  ky’e byamawulire mu Mministule ya Foreign Affairs (1964)

  Oluvanyuma yawalirizibwa okugenda mu buwanng’anguse mu 1965 n’akolera mu East Africa Institute of Social
  & Calctural Affairs n’oluvanyuma n’akulira Kampuni y’Abangereza ey’ Ebyamawulire mu
  Nairobi ,Kenya :Africa Features Ltd.

  Mu bitabo bye yawandiika mu lungereza mwe muli: the Outcasts ekyakyusibwa mu Lugirimani, Die Verfehmten

  The Great Animal Land , Pot of Honey ,Cry jungle Children ne The Burning Bush ky’akyusibwa mu Luganda n’ akituuma ,Nakamwantette Omunnamaalo.
  Olukimi Oluganda Amakula yasooka ku kibagako mu 1985 ng’akyaali mu buwanng’anguse.

  #19234
  MulongoMulongo
  Participant

  Omuwandiisi ono mbadde simuwulirangako yadde okusoma ku butabo bwe. Buli mu print? Mu bookshops e Kampala mwebuli? Kubanga waliwo ndowoza nabalala abandiyagadde okubusomako. Ate alabika mumanyirivu bulungi. Mumbejja ssebo webale kutuyiggira byakuyiga nga bino. Oyinza okwongera okutunyumiza ko mu bufunze ku katabo ke ako ako Luganda naddala?

  #19275
  KulabakoKulabako
  Participant

  Kanzigyeyo ku bitono kubiri mu mpapula ezisooka ,kuba akatabo kennyini wekatandikira omulimu gwako kalina empapula 184

  Tulina ebigambo nfaafa ebikozesebwa mu misoso egyenjawulo egimamidde embeera zaffe n’ebikolwa ebya buli lunaku nga buli
  kigambo
  kiwa makulu malala mu neneyambisibwa yaakyo. Okugeza okulya emmere si kwe kulya olukanda .
  okulya mu ndago si kwe kulya mu ngere.
  Awo okulya netukijjamu ebyo byetuyita ebisoko byaakyo .Naye ate ne kibeera n’ebibbeere byakyo bye tutayinza
  kuliraanya oba okuwanyisa amakulu gaabyo nakyo, sso nga kumpi nabyo bitegeeza ennono emu .
  Bwogamba omuntu nti : “emmere eyidde, jjangu okavvule ” oba nti “… jjangu ovabiire olwo oba omuvumye

  Sso nga ebigambo byombi bitegeeza kulya, Ensoro yonna endi y’ennyama ekkavvula bu kavvuzi songa
  Ow’omulugube ye avabiira buvabiizi!
  Oyinza okukuba omuntu oluyi , naye tomuwuula luyi,.Kwekugamba okukkuba nokuwuula bigambo bibbeere ,kyokka ng’okuwuula kwekusinza amaanyi nga bwetugakozesa nga tuwuula omuwemba .
  N’olwe’ekyo omuntu gwe bawuula emiggo , bw’egitamutta , gimwoosa muliro!

  Nga neyongerako mumaaso ko

  Ate wabaawo ettuluba lya bemanyi obuyigirize .

  Bw’atatabula oba bw’atavuluga oba bw’atagoya Luganda na Lungereza mu mboozi ye ng’a anyumya ,alowooza nti ekyo kiba kimussa wansi oba nti aba asigadde mabega.

  Tubawulira ne ku radio sso nga ku BBC towulira Lungereza luvulugevuluge !
  Okugeza ” Last night naswallowinze beer mungi nng’nze okuzukuka mu morning nnina headache.
  Kye nkoze kutwaala bu asprini bubiri era kati ndi o.k!”
  Bu asprini ng’abutwala wa? Olwonno nze lwe lulimi lwe nnaandiyise OLUGANGEREZA
  Omugoyo gwennyini oba vvulugu wo lugand n’olungereza

  Ate abemanyi obuyigirize mu luswayiri bo ne beyogerera olulimi lwe nnaandiyise OLUSWANDA

  Anti wullira:

  “Katibu waffe nga bw’agambye , afazaali tukozese nnyo enguuvvu zaffe zonna, lwe tunaafuna emmali”!
  Anyumya nnyini entula obugenyi!

  OLUGANDA , NG’ETTEEKA LULIMI LUKKAKKAMU ERA LWA MALOBOOZI MASEENEEKEREVU;

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.