OLUTALO KU KIBUGA KYAFFE KAMPALA

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Baliranwa / Neighbours OLUTALO KU KIBUGA KYAFFE KAMPALA

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Ndibassa Ndibassa 5 years, 10 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17632
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Bya MUSASI WAFFE

    Olukiiko olwenjawulo olwatuuziddwa Katikkiro Amama Mbabazi lwasazeewo ensonga ttaano ezirina okussibwa mu nkola okutereeza Kampala.

    Mu lukiiko olwabaddewo ku Lwokutaano, akulira KCCA Muky. Jennifer Musisi yalagiddwa okudda amangu ddala ku mulimu n’abakozi be bonna, n’okugoba abatembeeyi bonna ku nguudo.

    Muky. Musisi yatandikiddewo era abaserikale ba KCCA baakedde kugoba batembeeyi ku nguudo ku Lwomukaaga.

    Ku Mmande abakozi b’emirimu gy’ekikugu n’abakulira ebitongole bonna bajja kukeera mu ofiisi.

    Omubaka wa Gavumenti mu Kampala, Samuel Mpimbaza Hashaka ng’ali n’akulira ebikwekweto mu poliisi Grace Turyagumanawe n’Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Felix Kaweesi baalagiddwa okuwa obukuumi abakozi ba KCCA bonna okuli abayoola kasasiro, abasolooza emisolo n’abayonja enguudo.

    Bonsatule bakkiriziddwa okukolagana obutereevu n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala okuli amagye n’ekitongole ekikessi ekya ISO okukakasa nga balina abaserikale abamala okussaawo obutebenkevu wonna mu kibuga.

    Mw. Mpimbaza Hashaka eyabadde mu lukiiko olwo yategeezezza Bukedde Ku Ssande nti Ssaabawolereza wa Gavumenti Mw. Peter Nyombi yabategeezezza nti mu mateeka Erias Lukwago takyali Loodi Meeya era ne kisalibwawo aleme kuddayo kukkirizibwa kukola kintu kyonna nga yeerimbika mu bwameeya.

    Hashaka yagambye nti olukiiko lwasazeewo abasrikale bakozese amaanyi okuziyiza Lukwago, Kiiza Besigye n’omuntu omulala yenna agezaako okutabangula ekibuga, kubanga Lukwago gwe babadde beerippako nga Loodi Meeya kati naye takyalina kitiibwa kyonna atwalibwa ng’omuntu waabulijjo.

    Okusinziira ku Hashaka, olukiiko era lwasazeewo okusaba akakiiko akawa olukusa leediyo okubeera ku mpewo kayise ekiragiro ekirabula leediyo zonna obutassa ku mpewo bisasamaza bantu wadde ebiyinza okuvaako okutabangula Kampala oba eggwanga. Leediyo eneekikola eggyibwe ku mpewo.

    Olukiiko era lwasazeewo okussa amaanyi ku kumanyisa abantu pulogulaamu za Gavumenti z’etaddewo okukulaakulanya Kampala kubanga abavuganya Gavumenti bagenda basasaanya obulimba nti Gavumenti terina ky’ekoze mu Kampala.

    Olukiiko lwetabiddwamu Baminisita Sulaiman Madada avunaanyizibwa ku bakadde, Nyombi Thembo ow’Ebyakompyuta, Ow’ensonga Zomunda Aronda Nyakayirima,Lukia Nakadama, Frank Tumwebaze owa Kampala, abakulira amagye ne ISO gattako Hashaka, Kawesi, Turyagumanawe, Muky Jannifer Musisi n’abalala.

    Oluvannyuma lw’olukiiko Mbabazi yatuuzizza olukung’aana lwa bannamawulire era bino bye byabaddeyo okusinziira ku Ahmed Kateregga.

    Mbabazi yategeezezza nti gavumenti netegefu okuteesa ne Erias Lukwago gw’egamba nti takyali Loodi Meeya wa Kampala.

    Yagambye nti kino bwe kinabaawo tekijja kuba kiggya kubanga oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna okwa 2006, gavumenti yatuula ku meeza n’ebibiina byobufuzi ebigivuganya okuggyako FDC ne bateesa ku nsonga z’eggwanga olw’okuba enfuga y’ebibiina byobufuzi ebingi yali ekyali mpya nga bonna bayiga njige. “Tulina ekibiina kya IPOD ekigatta ebibiina byobufuzi byonna ebirina ababaka mu Palamenti era tuteeseganya,” bwe yayongeddeko.

    Kwekutegeeza nti “Olaba tuteesa nek ywaggula Joseph Kony, Nze kennyini natandika okuteesa naye mu 1996 nga nyongereza munnange Betty Bigombe we yali akomye mu 1994” Yabadde ayanukula bannamawulire aabamubuuzizza oba gavumenti esobola okutuula ku meeza emu ne Lukwago ne bateeseganya naye okulaba nga bakkakkanya okusika omugwa wakati we ne Jennifer Musisi okuleeseewo obukenke mu Kampala.

    Olukung’aana luno lwe yatuuzizza mu ofiisi ye mu Kampala ku Lwokutaano lw’etabiddwaamu Ssaabawolereza wa gavumenti Peter Nnyombi, ow’ensonga ez’omunda Gen. Aronda Nyakairima, avunaanyizibwa ku nsonga z’Obwapulezidenti ne Kampala Frank Tumwebaze n’omubaka wa pulezidenti mu Kampala Mpimbaza Hashaka ne Muky. Jennifer Musisi Ssemakula.

    Mbabazi ne Nyombi baagambye nti Lukwago takyabalibwa gavumenti nga Loodi Meeya nti kuba ekiragiro ky’omulamuzi Yasin Nyanzi ekyali kigaana Minista Frank Tumwebaze okutuuza olukiiko lwa KCCA ku Mmande okumuggyamu obwesige, ky’agenda okuweebwa, ng’olukiiko lwatudde dda ne lumuggyamu obwesige. “Tugenda kujulira mu kkooti okusaambulula ebyo byonna omulamuzi Nyanzi bye yagambye,” bwatyo Nyombi bwe yategeezezza.

    Gen. Aronda ye yayongeddeko nti okuva gavumenti lw’egambye nti Lukwago takyali Loodi Meeya, bw’aba alina ky’ayagala okukola kyonna amala kugenda wa Jennifer Musisis n’amufukaamirira n’amusaba olukusa n’amukkiriza, okufaanana nga Munnakampala omulala yenna.

    Ate Jennifer Musisis bwe yabuuziddwa oba anaasaba ekisanja eky’okubiri oluvannyuma lwa kuntulakiti ye okuba ng’esigazaako emyezi etaano eggweeko.

    Jennifer Musisi yazeemu nti, “Nkyakirowoozaako…” wano Mbabazi n’amugumya nti, “Ffe by’okola tubiraba ng’amata obuta era ekisanja kyo bwekinaggwaako tujja kukizza buzza.”

    Bwe yayongedde okubuuzibwa kiki ddala ekibalobera okutuula ku lujjuliro olumu ne Lukwago, Muky. Musisi yazzeemu nti tewali kibagatta kubanga buli omu alina lubimbi lulwe.

    From Bukedde

    [video]http://www.youtube.com/watch?v=O2Q8Ez6jIlk[/video]

    eno ebadde comment

    Ffe eno tufa nseko. Ebyo byona Lukwago bireme kumukanga. Twalaba dda ba Nyindo Mpanvu, Nyindo Nyimpi, Nsusu Nzirugavu, Manyo ga Malibu, Kiviiri, Kijambiya etc. Twabera mu Road Block, Panda Gari nebigenderako. Naye Akaalo ka Buganda ka dda ne Kampala buli amusanga amulekawo. Nabano mbuyaga bajja kumala bagende. Nze olumu newuunya Mukama obugumikiriza bwalina kuba yandibadde yadamu dda okuleta amataba ga Noah. Abantu ku Gadaffi, Mobutu, Amin nabalala nandibadde bayiga nti ensi tekungulwa. Musisi munange bakama bo bwofuna akasera babuuze nti, “Munsindika okutulugunya Muganda munange atalina kyeyabba. Naye lwaki mwe abewamwe nga ba Muhwezi temubagambako? Nekirala bwemulinkoowa mulimpa akafo e Mbarara?”

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.