Omudingidi Ssempeke Abbulukukidde Mu Mutabani We

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ennyimba n Emizannyo / Music, theater and movies Omudingidi Ssempeke Abbulukukidde Mu Mutabani We

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 8 years, 10 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18270
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Omudingidi Ssempeke abbulukukidde mu mutabani we

    John Ssekitooleko n’endingidi.

    Bya Terah Kaaya

    [attachment=2426]1267880994buke.jpg[/attachment]

    EYALI kafulu w’okusuna endingidi n’okufuuwa omulere, omugenzi Albert Ssempeke azuukiridde mu mutabani we.

    John Ssekitooleko Ssempeke ye mutabani wa Ssempeke omukulu ali mu kibiina ekimanyiddwa nga Abooluganda Kwagalana ekyatandikibwawo kitaawe mu 1953 era ebimukwatako abinyumya bw’ati:

    Ndi wa mukisa nti natandika okuyimba n’okukuba ebivuga nga ndi wa myaka etaano mu 1960. Nafangayo okuyiga taata bye baali bakola naddala ku Ssande bwe baatuulanga ne babwatula embuutu nga bava ku mikolo gy’embaga.

    Nasooka kukola ndingidi mu buti bw’emmwaanyi bubiri era kwe nayigira. Bwe nagenda e Naggalama nga nze nkulembera ennyimba z’ekinnansi.

    Saakoma awo wabula ne mu siniya ku Bilal nagenda mu maaso n’okuyiga ebivuga ebitali bimu. Nakeeranga ku tterekero ly’ebyafaayo (Uganda Museum) ne njiga ebivuga akawungeezi ne ng’enda ku ssomero.

    Okuyiga ebivuga n’amazina kyannyamba nnyo kuba mu 1991 bannonda okugenda mu yunivasite mu Alberta Amerika okubisomesa gye nava ne ng’enda e Sweden nayo okusomesa.

    Taata baamuyita addeyo mu Amerika okwongera okusomesa ebivuga n’antwala ne nnyongera okubikugukamu.

    Waliwo Abazungu babiri, Andrew Cook Mukasa ne Davidson Musoke be twatendeka era bano be baatutuusaako ewa Kkwiini mu lubiri ne tumuyimbira n’okukuba ebivuga eby’Ekiddugavu.

    Mu mawanga ge natalaaga e Canada bampa ekitiibwa kya pulofeesa gye nava okudda mu yunivasite e Makerere ng’omusomesa. Eno namalyo emyaka ebiri ne nsalawo kwemalira mu kibiina kya taata e Lutengo -Naggalama gye tutadde n’essomero erisomesa ebivuga.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.