Omufumbe Ssenoga omu kubayiiya oluyimba lwa Kenya

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements Omufumbe Ssenoga omu kubayiiya oluyimba lwa Kenya

  • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #17285
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Omufumbe Ssenoga Zake omu kubayiiya oluyimba lwa Kenya afudde
    senoga.jpg
    Ssenoga

    Bya Semei Wessaali

    YADDE yamala emyaka 59 nga tali mu Buganda, Polof. George Senoga Zake, agenze okufa nga by’alese akoze bimufudde omuzira ataliiko awakanya. Ekimu ku by’alese akoze kwali kuyiiya luyimba lwa ggwanga erya Kenya.

    Obulamu bwe bwonna bubadde bwa byafaayo era y’omu ku Baganda ababadde bamanyiddwa mu nsi yonna.

    Mu 1956, kata asse Omuzungu eyali amusomesa enseko bwe yamusaba okwegatta ku ssomo erimanyiddwa nga Licentiate of Royals School of Music (LRSM).

    Essomo lino bw’olisoma ofuluma olina dipulooma ng’osobola okusomesa abayizi okuyimba. Dipulooma eno etwala ebbanga lya myaka esatu.

    Omusomesa bwe yawulira okusaba kw’omuyizi we yamukuba bibbo bya nseko. Yamugamba nti kkoosi gye yali yeepankako ekolebwa Bazungu bwatyo n’amuwa amagezi akole by’anaasobola.

    Ennyanukula eno teyamuterebula bwatyo n’amusuubiza nti tagenda kukoma ku kusoma kkoosi eno nga muddugavu, wabula agenda kugisomera mu mwaka gumu mu kifo ky’esatu ng’Abazungu!

    Era bino tebyakoma mu bigambo kuba yabituukiriza, kkoosi n’agikuba oluku mu mutwe. Kino kyamufuula omuddugavu asoose mu buvanjuba bwa Africa okukuguka mu kuyiiya ennyimba ssaako okuyita essomo lino.

    Obukugu bwe obw’okuyiiya yabukola nga mu nnimi ez’enjawulo omuli Olungereza, Olulattini,Olufaransa n’Olugirimaani. Mu kiseera kino, essomo lino ery’okuyiiya ennyimba lisomesebwa mu Kampala Music School e Wandegeya wokka mu ggwanga.

    Okuweebwa ekifo, olina okuba ne satifikeeti ne dipulooma mu kuyimba. Bwe bamala okukola ebigezo, abigolola bamuggya mu kibiina kya Associated Board of Royal Schools of Music okuva e London mu Bungereza. Obwo bwe bukulu bw’essomo lino.

    Senoga yasomera Pulayimale mu Mengo Central n’agenda e Kings College Budo n’atandika okuyiiya ennyimba. Bwe yali akyali e Budo, ssematalo II n’abalukawo. Bwe yamaliriza siniya eyookuna ne yeegata ku ggye lya King’s African Rifles. Mu 1943, yagenda e Burma n’abalwanyi naye ng’omulimu gwe kuyimbiramu balwanyi bafune amaanyi nga tebannaba kutabaala mulabe. Mu 1946, yatandika bbandi gye yatuuma Kaawonawo Rhino Band ng’ekuba emiziki ekika kya JAZZ era yeeyasooka mu kitundu kino.

    Bandi eno yagenda etabaala East Africa ng’esanyusa abantu era mu lumu ku ndaga ze yali akola, waliwo omuyimbi nnakinku amanyiddwa nga Phillip Foster eyamwegomba n’amwongerayo okusoma okuyimba e Kenya.

    Eno gye yeegattibwako banne ne bayiiya oluyimba lw’eggwanga lya Kenya.

    Bwe yali anyumyamu n’olupapula lwa The NewVision mu February wa 2006, Senoga yategeeza nti oluyimba teyaluyiiya wabula okulongoosa ebigambo ebyali mu luyimba lw’abantu abamanyiddwa nga Pokomo abasangibwa mu Kenya.

    Mu kitabo kye “Folk Music of Kenya”, Senoga yawandiika nti; waaliwo olukiiko nga May 4, 1963, ne bassaawo akakiiko okuyiiya oluyimba lw’eggwanga. Ku kakiiko kwaliko abantu nga Peter Kibukosya, Thomas Kalume, Washington Omondi n’abalala. Twasooka okufuna ennyimba ssatu oluvannyuma ne tusalawo okugenda n’olwa Pokomo”.

    Agamba nti oluvannyuma lw’okulugezesa, baalukkiriziganyaako era nga September 25 ne 26, ne lukwatibwa ku lutambi mu Lungereza n’Oluswayiri. Olwali mu Luswayiri lwayimbibwa kkwaaya ya Railway Training School ng’ekulirwa Senoga ate olw’Olungereza ne luyimbibwa kkwaaya engatte omuli eya Alliance High School, All Saints Cathederal Nairobi, Graham Hyslop ne Alliance Girls School.

    Senoga agamba nti tebaawebwa yadde ekikumi wabula ku meefuga ga Kenya, Pulezidenti Jomo Kinyatta yamusiima n’aweebwa sikaala ya myaka esatu okwongera okukuguka mu kuyiiya ennyimba mu ttendekero lya Trinity College of Music e London.

    Bwe yakomawo, yeegatta ku Kenyatta University College okumala emyaka 13 ng’asomesa ne bamufuula Polofeesa mu Yunivasite eno.

    Oluvannyuma yakomawo mu Buganda mu maka ge ku Bayitababiri ku lw’e Ntebe. Ku myaka 84 gy’abadde nagyo, yandibadde awummudde naye kino yakigaana. Abadde agenda ku Yunivasite e Kyambogo n’agenda mu maaso n’okusomsa okuyimba, okuyiiya n’okuwandiika ennyimba buli lw’abadde afunayo akadde.

    bukedde
    Published on: Wednesday, 10th September, 2008

    #19623
    MulongoMulongo
    Participant

    Yebale kukuuma kitiibwa kya Buganda Omufumbe Sennoga. Mukama amubalire mu babe, amuwe ekiwummulo ekye mirembe.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.