OMUGOMA WA KABAKA DEZIDERIYO KIWANUKA MATOVU

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ennyimba n Emizannyo / Music, theater and movies OMUGOMA WA KABAKA DEZIDERIYO KIWANUKA MATOVU

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 8 years, 8 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17825
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Eng’oma yampasiza omukyala -Dezideriyo

    Dezideeriyo eng’oma agitenda okumutuusa ku birungi.

    OMUGOMA wa Kabaka Dezideriyo attottola ebibala by’okukuba eng’oma gy’agamba nti ye yamuwasiza maama w’abaana. Byonna abinyumirizza Anthony Ssempereza bw’ati:

    Abasinga bammanyi nga Deziderioyo Ssaalongo naye amannya gange gonna nze Kiwanuka Matovu. Ndi mutuuze w’e Nakawuka kyokka ebirungi eng’oma by’entuusizzaako bwe ntandika okubinyumya buziba ne bukya.

    Ndi mudongo wa kabaka era nze nakubiranga Ssekabaka Daudi Chwa ne Muteesa eng’oma. Ffe ng’abadongo ba Kabaka twabeeranga mu lubiri e Mmengo.

    Nnina emyaka 83. Nzaalibwa Busiro, kitange ye Matyansi Mukasa era naye yali mugoma. Jjajjange naye yali mugoma era obugoma bwa kika anti nange nzadde abagoma n’abazinyi.

    Nkuba ebika by’eng’oma byonna omuli baakisimba, muwogola, nnankasa n’embaga kwe ngatta okukuba engalabi n’endingidi. Eng’oma endabisizza ebirungi bingi anti lumu bwe nakuba ekisoko kya muwogola, Nnaalongo n’annengera era ye yali emmanduso y’omukwano gwaffe.

    Ffe twakubanga eng’oma ku mikolo gy’embuga era ne Ssekabaka Muteesa bwe yakomawo mu buwang’anguse mu 1955 ffe twamwaniriza e Ntebe nga tusindogomya eng’oma.

    Eng’oma ezze ekula:

    Okusooka eng’oma twakubanga emu n’engalabi nga tugattako empuunyi emu naye oluvannyuma twazigattamu endala. N’ebisoko byeyongera mpolampola okugeza bwe nakuba oluyimba; “Emmere y’embaga tesabwa, essaawa y’okulya etuuse abadongo twagala kulya byaffe essaawa y’okunywa etuuse, abadongo twagala kulya mmere.”

    Oluvannyuma bino twatandika okubikuba mu ng’oma olwo ekisoko kino ne kiyingira mu ng’oma. Ennaku zino bakiyita ‘Abadongo twagala kulya mmere’.

    Kyokka mu myaka gya 1960 omusajja ayitibwa Ssekubuge okuva e Masaka yajja n’ekisoko ekya ‘Nsaba Katonda akumpe mwana ggwe kye ndikukola olikirojja” olwo nakyo ne kiyingira mu ng’oma ne tutandika okukikuba.

    Obukodyo bweyongera mu ng’oma era waliwo omusajja Yosefu Bbosa (Bakongola) gwe twakubanga naye eng’oma mu lubiri eyaleeta engalabi n’agyongera mu ng’oma. Ono bwe yakwatanga ku ngalabi ng’agikuba bwe yeemoola, embaga n’enyuma.

    Oluvannyuma ensaasi zaayingira mu ng’oma zino era zaatandikira Masaka. Amadinda nago gaayingira mu ng’oma nga gaava Kyaggwe.

    Bassenkubuge okuva e Masaka be baatandikirza okukuba eng’oma ennyingi era be baaleeta okukuba eng’oma empuunyi ebbiri ne bongerako ne ziba ssatu, engalabi bbiri, namunjoloba bbiri olwo ne bakutabulira eng’oma.

    Ssekabaka Muteesa yatwagalanga nnyo era nga tetuva mu lubiri. Obote bwe yalumba olubiri mu 1966 eng’oma zaffe zonna n’azookya wabula nze nasimattuka kubanga nali ng’enze kutema mabidde nga mutabani wange eyali agenda okuwasa.

    Eng’oma entwala e Bulaaya.

    Ntambudde amawanga mangi lwa ng’oma, ng’enze e Japan, Australia, Bungereza, n’e Buyindi era nawerekera ne Kabaka Mutebi mu Swaziland.

    Bwe nakomawo okuva e Bungereza nayiiya oluyimba olwacamuukiriza abantu era lwe lwasinga okuntunda, lugamba nti, “E Bulaaya nagenda lwa ndongo saagenda lwa Luzungu, saalusoma bwe nadda ne nnyumiza abaalusoma.”

    Waliwo era lwe nayimba abantu ne banfuuwa ensimbi empitirivu, lukwata ku ssente nti ‘Rupia etengezza, Rupia esaana kukola nnyo etengezza bannange Rupia, n’alifa tagifunye ng’aliraba ennaku, kubanga n’alifa tazadde talizuukira…”

    Ennyimba zange bwe zaatandika okukwatibwa mu leediyo mu myaka gya 1970 kyannyongera ettutumu nga buli muntu ayagala mbeereko ku mbaga ye era nange olwatuukangayo nga nteekamu akayimba akaggumiza kye ndi nti, “Abange mulabe nze Dezideriyo gw’owulira ku leediyo” olwo ng’abantu beesukuma bandabe, eng’oma endabizza ebirungi.

    Okumanya eng’oma ewooma, tewoomera oyo agikuba yekka, wabula ewoomera n’agiwuliriza. Omukubi w’eng’oma omulungi tamala budde ng’akwana bakazi, bw’oyogeza obulungi eng’oma ekusabira omukwano kuba buli kisoko ku ng’oma kirina ekigendererwa. Waliwo ekisensera abakazi, ebisokoola ensimbi mu bantu, ebisoko ebisindirire bigendera ku mazina gano nago tugamba abagazina okutunuza abasajja ababalaba enkakaba era eng’oma bwe ziwummula, abagoma n’abazinyi bwe baba baagadde basobola okuwummulira mu bifuba by’abalala kuba ziba zaayogedde dda, ng’obubaka butuuse.

    Kati nakola ekibiina kyange eky’abadongo ekiyitibwa ‘Badongo Dancer’s’, kisangibwa e Katwe.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.