Omukazi anzisa emiggo

 • This topic has 3 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • Author
  Posts
 • #17765
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Mukazi wange anywa omwenge n’ankuba

  MAAMA w’abaana bange buli lw’anywa omwenge afuuka nsolo, era emirundi egisinga nsibira mu ddwaaliro okujjanjaba ebinuubule by’aba antuusizzaako.

  Nze Godffrey Nsereko, ndi musawo wa kinnansi. Emirimu gyange ngikolera Ggaba mu Mission Zooni ku luguudo olugenda e Munyonyo.

  Mukazi wange mmaze naye emyaka etaano era tulina abaana babiri wabula omu si nze muzaala yajja naye.

  Maama w’abaana ono mwagala nnyo naye awoomerwa akabisi okukamala. Buli lw’anywa alaluka, era aba ayagala kukeeseza mu bbaala. Bwe mmunonayo luba lutalo lwennyini era ankuba nzenna ne ntonnya omusaayi.

  Wiiki ewedde nnamututteko e Kabalagala ku Capital Pub okumusanyusaamu ng’era abaagalana bwe batera okukola.

  Naguze omwenge ne tunywa kyokka zaabadde ziwera ssaawa 10:00 nga bukya ne mugamba tudde awaka tuwummuleko. Yagaanyi okugenda n’andagira okuddamu okumugulira omwenge omulala.

  Bwe nnagaanyi, n’ayambulamu akakondo ke yabadde ayambadde n’akankompola mu mutwe. Abakozi b’ebbaala eno baaluddewo okututaasa nga balowooza tuli mu mukwano.

  Omanyi mukazi wange bamumanyiira nti alaluka ng’anywedde omwenge.

  Nagenze okulaba ng’atandise okunjagula enjala mu ffeesi ne ndaajana bantaase. We bajjidde okututaasa nga nzenna ntonya musaayi.

  Guno si gwe mulundi ogusoose okunkuba, olulala yankuba ne nsibira ku kitanda e Nsambya ng’antuusizzaako ebisago ebyamaanyi. omuli n’okunnumaaluma.

  Mu biseera by’ennaku enkulu ng’Amazuukira ne Ssekukkulu ate kiyitirira, bannange gye baba basanyukira nze mba nnyiga biwundu, mukazi wange by’aba antuusizzaako.

  Ngezezzaako okubuulirira mukazi wange, ave ku mwenge naye agaanyi.
  Oluvannyuma bakanyama ba Capital Pub baakutte mukazi wange ne bamutwala ku poliisi y’e Kabalagala gy’akuumirwa. Yagguddwaako omusango ku fayiro SD 03/03/10/08.

  Mpulira omukwano gunzita era njagala mukazi wange akomewo eka kubanga sirina anzijanjaba. Saayagadde asibwe wabula njagala akomye okunkuba buli lw’atamiira kuba ntya nti olumu ayinza n’okunzita.
  bukedde
  Published on: Friday, 10th October, 2008

  #19918
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Ha naye abaffe. Anyway, kyoyagala kikuuseeza.

  #19920
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Olwo ono munnafe bamuseera ki miggo oba mapenzi? ate wuuyo atutegezezza nti amwagala nnyo mukazi we akomewo amujjanjabe asobole okuwona amangu ayongere okumuwuttula nate, munsi temuggwa byeneena

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.