OMUTAKA WA KABAKA AKUBA ENGOMA YA B – BUMU YAFUDDE

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements OMUTAKA WA KABAKA AKUBA ENGOMA YA B – BUMU YAFUDDE

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Alex Kigongo Alex Kigongo 6 years, 5 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18105
    Alex Kigongo
    Alex Kigongo
    Keymaster

    http://www.bukedde.co.ug/news/70676-Omutaka-wa-Kabaka-gwe-yakwasa-ogw-okukuba-engoma–Buganda-Bu—.html

    Omutaka wa Kabaka gwe yakwasa ogw’okukuba engoma ‘Buganda Bumu’ afudde
    15 March 2013
    Bya Lilian Nalubega

    OMUGOMA wa Kabaka omukulu gwe yakwasa omulimu gw’okukubanga Engoma ‘Buganda Bumu’ afudde.

    Omutaka Emmanuel Zziwa nga ye w’Omutuba gwa Lusogobe mu kika ky’e Nkusu yafudde ku Lwokubiri nga yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okulwalira ebbanga eriwerako.

    Okusinziira ku bamu ku bataka abakulu ab’ebika okwabadde ne Bakatikkiro baabwe, Lusogobe amaze ekiseera ng’alumizibwa ekirwadde kya Kkansa w’omu mumiro era ono ye yamusse.

    Ssaabasajja Kabaka bwe yali atongoza engoma y’omulembe Omutebi gye yatuuma ‘Buganda Bumu’ gye buvuddeko, obuvunaanyizibwa bw’okugikuba n’engoma entono ezigiwerekera yabukwasa ebika bisatu nga engoma enkulu yagikwasa ab’ekika ky’e Nkusu nga Katikkiro waakyo Omutaka Lusogobe eyafudde y’alina okugikuba.

    Omugenzi newankubadde omulimu guno gwamukwasibwa emyaka ebiri n’ekitundu egiyise, w’afiiridde nga yaakagikubako omulundi gumu Kabaka lwe yagimukwasa mu butongole ku Bulange e Mmengo.

    Omugenzi yaziikiddwa ku biggya bya bajjajja be e Najjembe ku luguudo lw’e Jinja era Wamala Evans Omuyizi mu ssiniya ey’okusatu mu Mityana S.S y’akwasiddwa ekifundikwa ky’Obwalusogobe.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.