Otulo Twaali Tukumazeko Entegeka?

  • This topic has 3 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #17801
    MulongoMulongo
    Participant

    Waali osumagiriddeko mu bifo ebitateekwa? Otulo twaali tukuswazizzako mu ba nnakibiina banno? Nyumya!

    #19332
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nze nnali nkoze emisana n’ekiro nenesanga nga bangambye nti ananzirira mu kifo takyazze naye bansalako essawa nga bbiri ngende mpumulemu konze ezo ziyinza okummala okwebakamu n’oluvanyuma ngende, nga bwe lwaali lwa sabiiti nga tulina olukiiko lwa bayizi naye era ekyanyamba nti obutebe obusembayo ddala emabega gye nafuna ekifo .
    Salina mutawaana gwonna bwenasigala nga nyimiridde naye kenageza ne ntuula otulo otwamaanyi netunjikira nagezaako okutakiriza amaaso gange obutazibiriza naye nga notulo tulinga twebaali bampendulidde ne mmaliriza nga nyimiridde.

    , Nensabirira Mukama Awe amaaso gange amaanyi galeme kuzibiriza kagenderere , kuba teri kiswaaza nga kutema bisiki mu bantu ate bwosisimuka osooka n’omagamaga olabe oba eriyo akulabye , naye nga mubuli ngeri yonna kiba nga buli omu akusabirira otulo tukusinze amaanyi osinantuke ku katebe ogwe wansi
    Kyokka banange otulo tulina effujjo.

    #19334
    KulabakoKulabako
    Participant

    Bwaali budde bwa butiti nga nkyasoma, naye nga nina okukola ekiro , eggulo limu twafuna emirimu mingi ekiro bwentyo nenzira eka nga nninga zombi mu kkubo era nga bwombuuza byendabye mukkubo nga nkomawo, nga nnyinza nange okubuuza nti kkubo ki? kuba nnali nkooye nga kintu kimu kyokka kyenjoya buliri era olwabutukamu mubimpimpi tuyinza okukiyita okugenda mu kkoma kuba singa satega saawa kugenda kusoma olweggulo sandizukuse .
    Kati tebereza omuntu omukube omubiri, ate nga n’empewo nayo entaddeko agattimba ku mbwa kwe kutukira mu kubiina, kwoolwo omusomesa lweyasalawo okusomeseza ku slides nazikiza ettala nga ndi mukooti yange, nga mbuguma bulungi ate navaawo natugamba tuwandiike ne byatugamba konze mukazikiza akalungi bwekati lwaaki ayonoona akadakiika akawoomu kano.
    Simanyi oba yayagala kunnemesa naye nakyuusa nedoboozi oba nze nnali omukoowu ennyo nga mpulira linsisitira . Naye olwobutayagala kutenguwa musomesa nakwaata ekkalamu naye nga nange kennyini sisobola kusoma byempandiise , nali nkyebaza eya yiiya lesson eyo, eyo mukazikiza nebasaako ettala nensisimuka era ne nekazakaza anti omukalu tajja busera , naye oluvannyuma nannyonnyola omusomesa wange embeera zensomeramu , aleme kulowooza nti njanga kujja kusasula ssomero na hotel.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.