OWA BUGANDA LAND BOARD NE OWEK. NSUBUGA KU REDIYO

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Okweyanjula / Introduction OWA BUGANDA LAND BOARD NE OWEK. NSUBUGA KU REDIYO

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Alex Kigongo Alex Kigongo 6 years, 11 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #19161
  Alex Kigongo
  Alex Kigongo
  Keymaster

  Akalango ka Progam za Weekend 16 ne 17 July 2012
  Weekend eno ejja kubeera yabagenyi ku mukutu ogwammwe ku bwammwe oguyitibwa Rediyo Y’Abaganda mu lufuutifuuti kyetuyita Baganda Radio esangibwa ku http://www.Ababaka.com.

  Kulw’omukaaga nga 16 July 2012 ku programe “Lwoyalwamunyindo” okuva mu Studio Ekikutteobudde esangibwa e Dallas Texas, omuweereza wammwe Jjumba Nkakalukanyi ajja kukyaaza Omukungu okuva mu office ekola ku bye ttaka e Mengo(Buganda Land Board). Omulamwa gugamba nti ‘OLUTALO LW’ETTAKA MU BUGANDA’. Program etandika ku ssaawa 2:00 ez’akwungeezi e Buganda (12:00 Noon US Central Time) EZe London zijjakubeera 12 ezolweggulo.

  Ebimu ku bikulu ebyokwogerako mu mulamwa guno:
  1 Ebika bye ttaka mu Buganda (mile ne public land)
  2 Empanyisiganya ku bwa nnannyini ttaka (transfer of land ownership)
  3 Omulimu omukulu ogwa Buganda Land Board n’ebituukiddwako.
  4 Entangira ku kibbattaka mu Buganda nga bwekiwulirwa.
  5 Lwaki ettaka litundiddwa nnyo mu Buganda omulembe guno/
  6 Enkola eyokupangisa ettaka (Lease) ekyakola mu Buganda?

  Essimu ya Studio eri +1 817 485 4848 ate Skype: Nkakalukanyi ne Email: Ekikutteobudde@gmail.com

  Ku Sunday nga 17 July 2012 ku program Wooli Nyweera okuva mu Studio eya NgaboyaBuganda e Ilford ku njegoyego za London ekya Bungereza, abaweereza bammwe Major Kigozi, Haruna L. Mutabaazi ne Buganda Tebwasabwa bajja kukyaaza eyali Minister wa Ssaabasajja Owe byobuwangwa ne nnono, atenga ye muwandiisi wekika kye Mmamba, Omw. Gaster Nsubuga. Omulamwa gugamba nti ABAKUTULAKUTULA MU BIKA BYA BAGANDA BALABE BA BUGANDA. Program etandika ku ssaawa 2:00 ez’akwungeezi e Buganda (12:00 Noon US Central Time). Eze London zibeera 12 ezolweggulo.

  Essimu ya Studio eri +44 208 911 7298 ate Skype: NgaboyaBuganda ne Email: NgaboyaBuganda@gmail.com

  Okumanya maanyi. Mubeeyo mwenna muwulirize era mubuuze nebibuuzo, mwongere okunyweera mu mazima agajja okutuwa eddembe.

  Awangaale Ssaabasajja.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.