Owek. D. Muliika Anayogera Ku Radio Leero 09/01/10

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio Owek. D. Muliika Anayogera Ku Radio Leero 09/01/10

  • This topic has 5 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #18304
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Owekitiibwa Daniel Muliika eyali Katikkiro wa Buganda, agenda kwogera ku radio leero kulw’omukaaga nga 09/01/10. Essaawa nga bulijjo ziri 4 eze kiro eze Buganda. Abanaabeera basobodde mubeerewo era buli awulidde ategeeze nabalala.

    #25819
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Naye kyandibadde kirungi bwekiba kisoboka, ne mutubulira nga wakyaliyo ku kadde, netusobola okwetegeka kubanga twagala nnyo okuwuliriza abakulu ngaabo nga bogera eri Abaganda.

    Tujja kufuba nnyo tubeerewo, era nekirango tukyongerayo.

    #25821
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Twesiimye nnyo okuba nti tukyalina abantu ngo wekitiibwa Muliika nze kulwaange mbadde njagala kujjayo kaliba ntuule wansi okumpi nekyooto ndiise obwongo bwange nga tuddiramu ebyafaayo byaffe.

    Owe Kitiibwa Muliika ebintu ebyo byonna tubyagala mu buwandiike tubibunye mu buli kasonda Omuganda wasangibwa, waliwo ensonga nyingi ezisobye kati abe Mengo ze batambulizaako ebyobuwangwa bwaffe ,naye nga tumaze okwenunula ebyo byonna abaganda bajja kutuula wamu bagolore ensobi ezikolwa mu bugenderevu olwaabo abntu abaagala okudobonkanya ebintu byaffe .
    Owekitiibwa Muliika webale nnyo okututangazaamu mu byafaayo byaffe Mukama akwongere emikisa.

    #25823
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Owekitiibwa Muliika tweyanzizza nnyo ebigambo byo ffe twalabye akasaawa kabadde katono nnyo ketwabadde naawe , watulese tukyayagala okuyiga nokwejjukanya ebyafaayo byaffe nange mpagira omumbejja ebintu byaffe ebyo mubitukunganyize tubeere nabyo mu buwandiike bano abagwiira abatubulira ebifa ku Buganda ekifuula nnenge tetukyabamalirako ssente zaffe , twagala bantu baffe bebaba batubulira ebitukwatako , bwooba olina ekitabo kyonna kyowandiise ssebo twandyagadde okukimanyaako

    A mind is a terrible thing to waste

    #25842
    MulongoMulongo
    Participant

    Nange nawulirizza Owekitiibwa ono nga ayogera era navuddewo nga ndowooza nga bwogambye naawe Mumbejja. Ebintu biino byetaaga kubeera mu kyaapa, abantu baffe bangi tebamanyi byaliiwo, biki biriwo nabiki kigenda mu maaso. Atenga nga bwetumanyi knowledge is power, okumanya kujja kutuyamba okutegeera era kutuwe nobuvumu bwokulwayisa ensobi nokujja nyaffe Buganda mu matigga.

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.