Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ggwanga Mujje / Come Nation › Owembogo Bamusikizza Owe Ngonge!!!
- This topic has 1 reply, 2 voices, and was last updated 3 years, 6 months ago by Musajjalumbwa.
-
AuthorPosts
-
December 7, 2008 at 12:03 pm #18358
Obuganda busooke bweebuze, kubanga abantu bangi abagaana enyimbe, sako ne Makumbai wano, atandisewo kino. Songa ate waliwo negwenasomako eyalamira omwana we omuwala. Oba Abaganda bayononese nnyo enneyisa eri bannaabwe? Oba abantu tebakyayagalana bulungi? Okuwoza kivve kivve tekijja kugonjoola mutawana.
Makumbi awemukira atya mukyala we ng’amwabiza olumbe mu ngeri ey’ekivve!
Rev. Can Kisawuzi ng’asabira omwana Ivy Nanyanzi mu lumbe lwa nnyina mwe yaweerwa obusika.AMAJJAnkunene gaagudde omusajja Omuganda Moses Makumbi bwe yeetuulinkirizza n’ayabya olumbe lwa mukazi we Winnie nassonko Makumbi era n’amussizaako omusika atali wa kika kye.
Makumbi yeddira Mbogo, yaddidde muwala we Ivy Nanyanzi ow’embogo n’asikira nnyina Nassonko ow’Eng’onge.
Mu buwangwa bw’Abaganda omuntu asikirwa wa kika kye. Era ne bw’aba mukazi nga yafumbirwa nga Winnie bwe yafumbirwa Makumbi, asigala ng’assibwamu ekitiibwa eky’ekika kye so si kumusikiza atali wa kika kye si nsonga ne bw’aba nga y’amuzaala.
Kabaka yagamba nti mu kiseera kino Buganda eri mu masang’anzira. Ebyobufuzi byokka si bye bitadde Buganda mu masang’anzira naye n’ebirala gamba eky’okudibaga empisa, obulombolombo ebyobuwangwa bwa Buganda.
Newankubadde Buganda ebeera mu masang’aanzira egavaamu n’eddirayo ddala emabega mu biseera biri ebyaliwo ng’olukiiko lw’ennono mu Busujju terunnatuula okukola ssemateeka eyassaawo enfuga ey’Obwakabaka era eyanywereza n’Abaganda mu bika byabwe eby’enjawulo.
Omugenzi Winnie Makumbi yamanyibwa nnyo ng’omukazi eyali eyagala ennyo ebyobuwangwa bwa Baganda, eyali assa ennyo ekitiibwa mu Bwakabaka era eyali omuwagizi lukulwe eri ekika kye eky’Eng’onge.
Ggwe wamma, ‘awemukira omufu yeeteesa.’ Makumbi awemukidde nnyo mukazi we okumwabiza olumbe mu ngeri ey’ekivve n’amuteerako n’omusika atali wa kika kye.
Naye Makumbi bw’aba awemukidde mukazi we eyamufaako, mu ngeri endala ate ne Makumbi yennyini yeewemukidde. Anti n’ababadde batijja naye nga basuubira nti y’anaatwala mu maaso emirimu Winnie gye yali akolera Obuganda, abaloze akacca. Ggwe ate ani anaacapiza n’omusajja akoze ebyo ebityoboola ebyobuwangwa by’Abaganda.
Eno y’ensonga abakulu b’ebika mu Buganda gye batajja kukwata nga batudde wansi. Kampegaano ye Omutaka Kisolo omukulu w’ekika ky’Eng’onge yalangiridde dda ng’ensonga bw’agitutte ewa Katikkiro J.B Walusimbi n’oluvannyuma etuuke ewa Ssaabataka.
Abalokole be babadde boogerwako ennyo ng’abafutyanka ebika by’Abaganda wamu n’ebyobuwangwa byayo. Kyokka amazima gali nti n’abalokole awo awaddira kkapa esikire embwa tebannatuukawo okuggyako Makumbi yekka ye yatuuseewo.
Wabula mu kibi oluusi muyinza okuvaamu ekirungi. Makumbi mu kuddira ow’Embogo asikire ow’Eng’onge yakutte ku mmanduso. Kati ab’endowooza eringa eya Makumbi batunula ntatemya balabe ekinaddirira. Awo nno Katikkiro wa Buganda wamu n’olukiiko lw’Abataka ba Buganda beegekeddwa amaaso okulaba ki kye banaakolawo okutangira obugwi bw’eddalu buno obusituseewo.
Tewali kubuusabuusa ensi ejja kuba ng’egudde eddalu ebyobuwangwa bwe bitandika okukolebwa ekifuulannenge. Okutangira abo abeesowoddeyo okukola ebyavaagavaaga mu bika byaffe ekyo kye kisingako obulungi. Abo ab’emmeeme ez’oluwewere bwe banaalekebwa ne bagenda mu maaso ne baddira aboolugave ne babasikiza abenkerebwe olwo ensi eneeba etuuse okugwa eddalu lyennyini ekkankada.
Bukedde
Published on: Saturday, 6th December, 2008December 8, 2008 at 5:09 am #20917Prime Minister Prof Apollo Nsibambi of Uganda shocked his family and Baganda, in general, when he disowned his supposed cultural norms and declared a daughter his heir (musika). Nsibambi, who is reported to be fighting a bout of severe depression, chose a conference on population policy at Sheraton Kampala to declare his daughter, Rhoda, his official musika. Among Baganda, it is taboo for a person to have a musika who is not of the same sex and clan.
One Muganda elder who went to Mengo School with Nsibambi, told this reporter that Museveni’s prime minister is a very selfish man. Quote: “Since he was a small boy Apollo has been a self-centered ‘kabandabe’ (show-off) person. In primary school, he used to do very selfish things such as telling lies about classmates to gain teachers’ favors. Even at university level, he relied more on people manipulation skills than on his raw brains. His problem now is that today’s Baganda see through him, and his master Museveni knows it too. It is the ‘kabandabe’ inferiority complex mixed with insecurity that made him name the daughter as a musika. But now it is the daughter and her husband and children who will be stigmatized for the rest of their lives. Can a 70 year old be more selfish than that?”.
Posted on 23rd September 2008
Bugandapost -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.