SEKANDI MUGANDA? ATEGEERA BYAYOGERA? MUTIITIIZI?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyobulamu n Ebyenjigiriza / Health and Education SEKANDI MUGANDA? ATEGEERA BYAYOGERA? MUTIITIIZI?

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Kalibattanya Kalibattanya 7 years, 4 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17581
    Kalibattanya
    Kalibattanya
    Participant

    …Oba yenoonyeza mmeere ya leero, oba mubbi bubbi owe kika ekya waggulu era nga Vice president mu governmanet ya babbi bweyandibadde? Kitalo omusajja omukulu okwogera ebye kiyaaye bwebityo.

    Mengo erabudde Ssekandi ku bya Buganda by’ebanja

    GARUGA
    Obwakabaka bwa Buganda buwakanyizza ebyayogeddwa omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi nti Obwakabaka bwaddizibwa ettaka lya mayiro akenda era n’alabulwa alekere awo okuwubisa abantu ku bintu bya Buganda by’ebanja gavumenti eya wakati.
    Mayiro akenda
    Omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga yategeezezza Eddoboozi eggulo nti, “Si kituufu nti Buganda yaddizibwa ettaka lya mayiro akenda era mukulu Ssekandi etteeka yalitapuse kifuulannenge kubanga mu Buganda ettaka lyonna liri mu District Land Board ate nga lirina kubeera mu mikono gya Kabaka.”
    Ssekandi nga Pulezidenti Museveni gwe yakwasa omulimu ogwokukubiriza enteeseganya wakati wa gavumenti ne Mengo ku bintu bya Buganda by’ebanja yasinzidde mu lusirika lw’ababaka ba Buganda olwabadde e Garuga ku Katomi Kingdom Resort n’ategeeza nti, “Tewali ttaka lya mayiro akenda Buganda ly’ekyabanja gavumenti.”
    “Mu 1966, ettaka lya mayiro akenda lyali livunaanyizibwa ku Buganda Land Board naye Obote bwe yawera Obwakabaka, obuyinza bwonna yabussa mu mikono gya Uganda Land Commission kubanga Buganda Land Board yali agiweze naye bwe twali tukola ssemateeka mu 1995, obuyinza bwonna ku ttaka twabuggya mu mikono gya Uganda Land Board ne tubuzza mu mikono gya District Land Board, ekitegeeza nti Buganda Land Board yafuna obuyinza.”
    Wabula Owek. Mayiga agamba nti, “Omulimu gwa Buganda Land Board mu mateeka gwa kutunuulira butunuulizi nga bw’olaba abatunuulira okulonda, so si kuba na bwannannyini ku ttaka. N’olwekyo babeera tebalituwadde era ensonga ez’okuteesaako weeziri.”
    Kyokka Ssekandi yategeezezza ababaka nti, “Okukomyawo mayiro akenda Buganda k’ebanja tekitegeeza kuteeka ttaka mu kisero ne balikukwasa olifuge, naye kukwasa buyinza era ssemateeka ekirambika bulungi okuggyako nti kati tetunnaba kussaawo Buganda Land Board nga bw’erambikiddwa mu ssemateeka.”
    Federo
    Yagambye nti Buganda bw’eba yaakufuna enfuga eya federo, yeewale okwetwala nti yanjawulo nnyo ku bitundu bya Uganda ebirala, ekwatagane nabyo bakkaanye kubanga ne bw’eba eyagala etya, tesobola kufuna federo eyaliwo mu 1962 eyali egiwa obuyinza ku poliisi, kkooti n’ebirala.
    “Nze ndaba bwe tuddamu okusaba federo nga gye twalina mu 1962 mwe twalina obuyinza tetujja kugifuna. Federo kitegeeza okugabana obuyinza wakati wa gavumenti eya wakati ne gavumenti ez’ebitundu (lijooni),” Ssekandi.
    Yannyonnyodde nti, “Nze ndowooza nti kino kiyinza n’okuzingiramu ebitundu ebirala ebitalina Bakabaka nga Buganda era nga kye kisinga okubagumya nga bakolaganira wamu naye bwe kirabika nga Buganda y’ekulembezza ng’egyagala yokka, kibeera kibi era y’ensonga eyaleeta obuzibu mu 1962, Buganda bwe yafuna federo ejjudde nga y’erina n’obuyinza obuddukanya poliisi, kkooti ate ng’abalala tebalina, ekyawalanya Buganda ng’abalala tebabirina ne bataddamu kwagala kukolagana nayo,” Bwatyo bwe yagambye.
    Owek. Mayiga ye yagambye nti kikafuuwe Buganda okwekukuutiriza ku kitundu ekirala kyonna ng’esaba ebyayo. “Ffe twogera byaffe ebitukwatako nga Buganda, tetwogerera buli muntu. Bwe bakubuuza nti oyagala okulya emmere? N’obaddamu nti njagala matooke ate toyinza kuŋŋamba nti ate Abanyankole bo baagala kalo kubanga byendya bo si bye balya.”
    “Ekyokubiri; federo kitegeeza kugabana buyinza ne gavumenti ez’ebitundu era kye twagala, naye ate ekyokubeera ne poliisi oba kkooti n’ebirala ng’okusolooza emisolo ebinaabeera mu federo eyo nsonga ndala. N’olwekyo Mw. Ssekandi ne banne bateekeddwa okumanya ffe kye twetaaga kugabana buyinza,” Mayiga bwe yagambye.
    N’okutuusa kati, enteeseganya wakati w’enjuyi zombi zirabika zoolekedde okufuuka olufumo, nga Ssekandi agamba nti okuggyako nga Mengo emutwalidde olukangaga lw’ebintu bye baagala okuteesebwako, “Si nze nina byemmanja gavumenti, n’olwekyo ninze Mengo kumpeereza by’eyagala biteesebweko enteeseganya zitandike naye sikola nga musiisi w’amenvu,” Ssekandi.
    Obukiiko
    Olusirika lwagenze okukomekkerezebwa ng’ababaka ba Buganda balonze obukiiko omuli; akagenda okunoonyereza ku kika kya federo Buganda kye yeetaaga, akakulemberwa eyaliko omumyuka wa Pulezidenti Gilbert Bukenya, akakiiko akagenda okulondoola ku nsonga y’ensimbi Buganda z’ebanja gavumenti akakulemberwa Tim Lwanga.
    Obukiiko obulala kuliko; ak’okutereeza etteeka erikugira abafuzi b’ensikirano okwogera ku by’obufuzi nga kakulemberwa Medard Sseggona, ak’okunyweza akabondo k’ababaka ba Buganda akakulemberwa Kintu Florence, akanaalondoola enteekateeka za gavumenti eziyamba abantu, akakulirwa Ameria Kyambadde ne bakwasa ne ssentebe waabwe, Godfrey Kiwanda obuvunaanyizibwa okujjukiza Sipiika ekiteeso ky’okubanja alipoota y’okwokyebwa kw’amasiro, ekyayanjibwa Ken Lukyamuzi.
    DEO WALUSIMBI

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.