Ssebaggala Awagira Omulabe Wa Buganda M7

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Kintabuli / Salmagundi Ssebaggala Awagira Omulabe Wa Buganda M7

 • This topic has 3 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
 • Author
  Posts
 • #18383
  MachatiMachati
  Participant

  Emivuyo egyetobese mu bukulembeze bwa Ssebaggala
  1285428962seya11-20100926.jpg
  Haji Nasser Ntege Ssebaggala.

  Bya Anthony Ssempereza

  EBULA mbale ekisanja kya Al Haji Nasser Ntege Ssebaggala kiggweeko era by’akoze abikoze nga Meeya wa Kampala. Tukuleetedde emivuyo gy’akoze n’enkonge ezimuteze.

  lYagobye Town Clerk, Ruth Kijjambu, bwe yagaanidde mu ofiisi kwe kumuleetera eggye lye limufulumye. Kyokka ne Kijjambu yayungudde erirye olwo poliisi n’eyingirawo okulemesa enjuyi zombi okulwana. Sebaggala yagambye nti abadde agoba ba Al- Shabaab.

  Bwe yagenda mu katale ka Park Yard nga kayidde mu 2009, abantu baamukasukirira amayinja nga bamulangira okwekobaana n’alemesa abasuubuzi.

  Yasuubiza Bannakampala okunnyukanga n’akaveera kyokka bwe kaabula n’abagamba nti yali abagamba kukola nnyo.

  Yasuubiza okuleeta bbaasi okumalawo akalippagano mu kibuga nakyo ekitatambudde bulungi.

  Yayagala okugaba akatale ka Owino ne Nakasero eri yinvesita kyokka abasuubuzi beekalakaasa ne bamulemesa.

  Yawaayo n’ak’ewa Kisekka eri yinvesita, abasuubuzi ne beekalakaasa ekyavaako Pulezidenti okuddiza eyali akaguze ssente ze.

  Mu by’abakazi teyeetya, alina Gera, omukazi omulala gwe yazaalamu abaana abakulu, yawoowa Nava Nabagesera ate abalala tayagala kuboogerako.

  Yaggalirwa mu Amerika mu 1997 mu musango ogw’ebicupuli n’aleka abalonzi mu kyangaala.

  Nambooze yamuwandiikira ebbaluwa emugoba mu DP n’akigaana awaava okutabuka n’ennyombo.

  Yava mu DP nga Feb 23, 2010 n’atandikawo ekibiina kya LDT avuganye Obwapulezidenti kyokka abawagizi be tebaakimatira. Oluvannyuma yeekyusa n’agamba nti ayagala bwa Meeya.

  Yaggadde akawunti za KCC ng’akimanyi nti ekibuga kibaamu kasasiro ne kicuuma olw’obutamuyoola.

  Yatunda ebifo by’amasomero nga Buganda Road, Bat valley n’amalala.

  Bwe yawangula akalulu yatandika okutambula ne Pulezidenti Museveni. Abantu abaamulangira nti NRM yamugula yabaddamu nti tayinza kwewala mukulembeze ali mu buyinza.

  Ennyumba ye ey’Obwameeya yagipangisa gavumenti ne kinyiiza abamu.

  Yagugulanako ne munywanyi we, Mabikke n’ab’ekiwayi ky’abavubuka ekya Youth Brigade, bwe yawagira Moses Makumbi n’alekawo Henry Lubowa. Ssebaggala yalangira Mabikke nti ye yamuleeta mu byobufuzi. Kuno yagattako okutiisatiisa omubaka wa Kampala mu palamenti, Erias Lukwago nga bw’ajja okumubetenta.

  Mu Ttabamiruka wa DP mwe baalondera Ssebaana Kizito, Ssebaggala yagabira abalonzi obukadde 30 kyokka Ssebaana n’amumegga.

  Wadde Ttabamiruka wa DP yamusuula, yeesimbawo ku lulwe mu 2006, oluvannyuma n’abivaamu.

  Beewuuba nnyo mu kkooti n’eyaliko omukulembeze wa DP Paul Kawanga Ssemwogerere ng’awakanya ebikolwa bya Ssebaggala.

  Mu 2001 gavumenti yakizuula nti talina buyigirize bumusobozesa kwesimba ku Bwapulezidenti bwe yanyiiga kwe kulagira abawagizi ba DP bawagire Kiiza Besigye era abamu baalemerayo.

  Bwe yatunda ebisaawe by’omupiira e Lugogo, abantu beekalaakaasa n’abakudaalira nti tebategeera bya nfuna.

  Mu 2007 yagaana okudda mu kkooti bwe yayitibwa abitebye ku bigambibwa nti yalyazaamaanya Micheal Ezra.

  Yagugulana ne Nyakana ku nziruganya ya Kampala nga bw’awa ebiragiro Nyakana abiziimuula.

  Kigambibwa nti yatunda ekitundu ky’oluguudo olugwa ku Yusufu Lule Road e Nakasero era ne bakimuteekako nti yali omu ku baaluka olukwe lw’okukuba Betty Nambooze n’omubaka Lukwago mu kuziika Matild Meeme e Masaka.

  Yalonda mukyalawe, Geera Mosha okuddukanya kantiini ya KCC kyokka ne kizuulibwa nti yali amaze emyaka musanvu nga tasasula za bupangisa ne ziwera obukadde 43.

  Yayagala okuteekawo omusolo ku buli mmotoka eyingira Kampala era tagwa bivvulu by’abayimbi. Ku nkomerero ya byonna, Ssebaggala yegasse ku kibiina kya NRM .

  Published on: Saturday, 25th September, 2010

  #27069
  NdibassaNdibassa
  Participant

  EYEBUUZA LWAAKI ERA ENKAYANA ZINO M7 AZIYINGIRAMU AZIMALE ABA YERABIDDE NTI M7 YAKOLA EMIRIMU GYONNA MU YUGANDA OKUVIIRA DDALA MU GYO MUKISENGE ERA KYOOVA OLABA NGA BAMU BALINA KUSULAMU KADE NE BAMUSISINKANA EKIRO MU STATE HOUSE
  NGOJEEKO ABALINA BAKAZI BAABWE BEMULUGUNYA DDA OLWENKIIKO ZAKUBA NEZIGYA BAKA BANNE MUBULIRI KU MWENDA OGWEKIRO BETABE MUNKIIKO ZAABA AKUBYE NEBAKOMAWO NGA BAWUNYA OBUSA BWENTE
  EBYO BIGAMBO BYABANABUFUZI ABESANGA NGABALINA OKUWEREZA M7 BUBEERE KIRO BUTYA MUBULI NGERI YONNA MBU ERA BI DONZI EBITAYAAYA MU GWANGA ETTAKA TTONO

  Ssebaggala bamuli bubi lwa nnyumba ya KCC

  MUSASI WAFFE
  Abakozi ba Kampala City Council (KCC) beerayiridde obutakkiriza kumala gafiirwa nsimbi za musaala gwabwe ate ng’eno ebintu by’ekitongole bitwalibwa abantu abalinawo.

  Nga baakulembeddwamu ssentebe w’abakozi mu masekkati ga Kampala era nga ye mukiise mu palamenti mu kitundu kya Bukoto Mid West, Isaac Ssejjoba, baateeka wansi ebikola ng’entabwe eva ku butasasulwa.

  Baategeezezza nti amayumba g’ekitongole gabadde gagabirwa abantu awatali kye bafunako, kwe kwerayirira obutakkiriza Mmeeya Nasser Ssebaggala kutwala nju ya tawuni kiraka kubanga nabo bagirinako obuyinza.

  “Tetujja kukirizza Ssebagala kutwala nju eyo kubanga naffe tugirinako obuyinza. Ebintu bya KCC ffe abalina okubikuuma. Twasooka kuwambibwako enju ya town kiraka eri ku luguudo Mabuwa eKololo ekitongole kye byokwerinda mu Ggwanga, naye eno tewali meeya gya gitwala”

  Mmeeya yeddizza enju eno oluvannyuma lwa Ruth Kijjambu, abadde akola nga tawuni kiraka wa Kampala obutagisulamu. “Ebyo mmeeya by’ayogera nti enju yagifuula ofiisi ye alimba. Ffe kye tumanyi yagifuula ya mirimu gye.” Ssejjoba bwe yategeezezza n’agattako nti Ssebaggala yagifuula kibanda kya mmotoka mw’azitundira n’okukoleramu ddiiru ze endala ng’omuntu.

  Abakozi abasoba mu 1000 beerayiridde okulaba nti ebintu by’ekitongole kya KCC tebimala gakozesebwa mu ngeri ya gadibe ngalye. Wabula Ssebaggala yategeezezza ng’enju gye bakaayanira bw’agitaddemu ensimbi ze ennyingi ennyo okugiddaabiriza.

  “Ntadde ensimbi zange nnyingi mu kuddaabiriza enju eno. KCC tempaddeeyo nnusu yonna, era mmwe abagikaayanira mwerimba kubanga n’omukulembeze w’eggwanga eginjagaliza.” Ssebaggala bwe yakakasizza.

  Abakozi ba KCC baakiikidde omukulembeze w’eggwanga ensingo obutalwanirira bintu bya kitongole kyabwe n’asalawo okugiwaayo mu mikono gy’abantu ssekinnoomu.

  “KCC erina akakiiko kaayo ne minisitule y’abakozi weeri naye pulezidenti y’alabye okuyingira mu mivuyo gino? Mpozzi nga waliwo akakodyo akakusike. Ate ebyo Ssebaggala by’ayogera nti enju agitaddemu nsimbi nnyingi, ani yamugamba okuziteekamu? Mpozzi nga era yalina ekigendererwa kya kuginyaga.” Omu ku bakozi bano bwe yategeezezza n’asaba Pulezidenti Museveni okuvaayo atangaaze ku nnyumba eno ekaayanirwa n’ebyobugagga bya KCC ebirala.
  24, Mutunda, 2010

  some comments

  sseeya afuuse nnakigwanyizi.

  Abaganda bagamba nti ‘bamutenda kukomaga______’ ssebaggala bwe y’akuba bank of boston, abantu b’agamba nti kasita abye z’abazungu. naye ne bu banka obutono obw’antu aba bulijjo nga portuguese credit union ne
  east cambridge savings bank teyabutaliza.

  Bwe b’amukuba ekiggi mu plymouth county house of corrections n’akomawo,banne ne baddamu okumulonda, kati atandise kubba bya kampala city counsil,nga yegasse ku banne aba nrm (national robbers movement).

  mpozzi era ayagala kuddako ku bwa meeya nate?

  zi limbo y’azisituliramu dda,wetlands nazo azirumbye! temwewunya nga ekinaddirira city hall yennyini ng’agitutte, naye nga abakozi abasukka 1,000 tebasasulwa!
  bakulu mukwate ku nsawo zammwe. bagamba nti ‘ennungu enjokereze ekisa,____’, mugira mwe mumulonda. cry the beloved country.

  sebagala temumuwa kalulu kona
  sebagala atunze obuganda tewaba nomu amuwa kalulu nga yesimbyewo ku bwa meeya afuse muzibu nnyo yatambuza ebigere nga alimba obuganda nti abwagala so nga mulabe wa baganda kati ebyobufuzi abyerabire ade mu bya busubuzi sebagala weraba tukusibula 2011 tokomawo

  #27085
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Balangidde Meeya

  BYA MARTIN NDIJJO
  TUESDAY, 28 SEPTEMBER 2010 16:53
  MASAKA
  MEEYA wa Kampala, Nasser Ntege Sebaggala yeevumye ekyamututte e Masaka mu lumbe lw’omugenzi Ali Kibirige, taata w’omugagga Bulayimu Kibirige, Abasiraamu abakulembeddwamu Mufuti Zubair Kayongo bwe baamulangidde obwannakyegwanyizi Mufuti n’agaana n’okumulombera edduwa nga bwe yabadde amusabye.
  Sebaggala yawotookeredde Mufuti bwe yamugambye nti ye tasoma dduwa za jjenjeero n’agattako nti bakooye ne bannabyabufuzi abasuubiza ne batatuukiriza.

  “Nze simala gasoma dduwa za jjenjeero.

  Abantu balina ennyonta bye wabasuubiza tobituukirizza, olowooza balowooza ki.
  ”Okwogera bino abasiraamu abakung’aanidde mu kifo kino bakira bwe basaakaanya nga bwe bagamba nti “wama yongera okumusomesa ayige”

  Sebaggala ye yasoose okwogera mu lumbe luno olwabadde ku kyalo Matanga e Mukungwe ku Ssande n’ategeeza nti amaze ebbanga ng’alwanira bbali tatuuka kyokka ku mulundi guno yasazeewo okutta omukago n’aba NRM kwe kusaba Mufuti Kayongo okumulombera edduwa ebigendererwa bye bisobole bituukirira.

  Ye Shiekh Nooh Muzaata yalangidde Sebaggala nti omukago gwe yakoze guyambe ye ng’omuntu kubanga eno yabadde ddiiru ye so ssi ya bantu kuno kwe yagasse n’okumubuuza nti ebbanga ly’amaze ku bwameeya kiki ky’akoledde abantu abamulonda oba ky’asakidde Abaisiraamu n’akubiriza Abasiraamu obutalonda bantu batabayamba.

  #27086
  KulabakoKulabako
  Participant

  +

  Obufumbo bwa Ssebaggala mu NRM

  KAZIBWE BASHIR MBAZIIRA
  Ekya mmeeya wa Kampala, Al-Hajj Nasser Ntege Ssebaggala okulangirira nga bw’agenda okunoonyeza Pulezidenti Museveni obululu mu kulonda kw’omwaka ogujja kya kulwawo nga kijjukirwa, newankubadde nga tekyewuunyisa okusinziira ku batunuulizi b’ensonga z’ebyobufuzi.

  Ssebaggala eyayatiikirira ennyo mu kulonda kw’obwammeeya bwa Kampala mu 1998 n’oluvannyuma n’anoonyeza Col. Kizza Besigye obululu mu kulonda kwa 2001 olwobuganzi bwe yalina naddala mu bitundu by’amasekkati g’eggwanga, ayongedde okukinogaanya nga bw’atakyalaba makulu mu kuvuganya gavumenti, bw’atyo kwe kusalawo okugyegattako.

  Olukwe lw’okutunda DP mu NRM
  Munnabyabufuzi ono amanyiddwa ennyo ng’omupanzi era omusuubuzi atasubwa ddiiru yonna, kigambibwa nti aludde ng’akukuta n’abanene mu kibiina kya NRM naddala omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti Yoweri Museveni era nga waakayita ennaku ntono ng’alayiziddwa ku bwammeeya, Ssebaggala yalinnya emmotoka ya Pulezidenti Museveni ne babaako akafubo ke beevumba okumala essaawa mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero.

  Nga 12 omwezi guno, “Seya” ng’abawagizi be bwe batera okumuyita, yamala eggobe mu kibya bwe yalabikako mu lukuŋŋaana lw’ekibiina kya NRM ttabamiruka olwali e Namboole, nga wano Pulezidenti Museveni we yasinziira okumwanjula eri bannakibiina kino ng’omugenyi ow’enjawulo. Guno gwali ng’omukolo gw’okwanjula Ssebaggala mu banna NRM gy’aludde ng’avumirira okumala emyaka egikunuukiriza mu 20.

  Okusinziira ku omu ku baali ba fanfe ba Ssebaggala okumala emyaka, era nga ye munnamateeka wa DP, Fred Mukasa Mbidde, Ssebaggala yalina ekigendererwa ky’okwabuluzaamu ekibiina kya DP n’okukitunda mu kibiina kya NRM singa yali alondeddwa okukikulembera mu ttabamiruka eyatuula e Mbale ku ntandikwa
  y’omwaka guno. Mbidde agamba nti, “Yali ayagala kukozesa kifo kye ng’omukulembeze w’ekibiina akiweeyo eri NRM wabula naffe akakodyo ne tukagwamu era y’emu ku nsonga kwe twesigama obutamulonda kubanga talina bwesimbu.”

  Ssebaggala nga bamwaniriza mu NRM

  Engeri Ssebaggala gye yasaasaanyaamu ensimbi mu ttabamiruka w
  a DP ono yaleka bangi nga beewuunya era ng’obukadde obukunuukiriza mu 700 bugambibwa nti bwe yakozesa era ng’omu ku baamuli ku lusegere wabula nga kati yamwawukanyeeko, agamba nti, “Naffe tetumanyi Hajji gye yaggya nsimbi ezo era tulowooza nti zandiba nga zaalimu omukono gw’abanene mu gavumenti.” Ssebaggala yennyini yagamba nti, “Nina akawumbi k’ensimbi kalamba mu mpeke era abaagala okufuna ku ssanyu ly’ensimbi banneegatteko mu kulonda kw’e Mbale.” Eri abatunuulizi b’ensonga z’ebyobufuzi, okwesimbawo kwa Ssebaggala akulembere DP, kaali katego ka NRM okusensera n’okusaanyaawo ekibiina kino ekisinga obukulu era nga kye kimu ku bisinga amaanyi mu ggwanga.

  NRM esensedde Kampala

  Okusinziira ku Ssebaggala, ekyokusalawo okuwagira NRM agamba nti, “Oluvannyuma lw’okwetegereza ebibiina byonna wabula nga tewali kirina busobozi bwa kutwala buyinza, kale mu kifo ky’okwesiba ku by’okuvuganya, nze ng’omuntu amanyi ebyobufuzi bwe bitambula, mba nina kwegatta ku kibiina ekitambula ng’ekya NRM.” Bwe yategeezezza Eddoboozi n’agattako nti, “Twakkaanyizza ne pulezidenti ku ngeri y’okugabanamu obuyinza, ŋŋenda kumunoonyeza akalulu ate nange bwe nnaaba nneesimbyewo ku bwammeeya ankolere ekintu kye kimu. Tulina kukolaganira wamu mu kifo ky’okwerumaaluma nga ba Besigye, Mao ne Otunnu abalemeddwa okufuna obusobozi bw’okuwangula okulonda okujja.”

  Ssebaggala nga bamwaniriza mu NRM

  Ng’oggyeeko ekyennyumba ya Town Clerk esangibwa e Kololo, Museveni gye yamukkiriza okutwala, Ssebaggala nga tannaba kwegatta ku NRM aliko okukkiriziganya kwe yatuuseeko ne bannakibiina ekyo. Asuubirwa okusimbibwawo NRM abeere mmeeya wa Kampala ow’emikolo so nga Pulezidenti Museveni asuubirwa okulonda Peter Ssematimba ku bwa Executive Director bw’ekibiina kino.

  Eno y’emu ku ntegeka ya NRM okwezza ekibuga Kampala ekirudde nga kifuŋŋamyemu bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya. Ng’oggyeeko omubaka wa Nakawa, Fred Ruhindi, ababaka b’omu Kampala bonna bava mu bibiina bivuganya gavumenti era nga Pulezidenti Museveni azze akyogera lunye nga bw’agenda okukola buli kyetaagisa okulaba nga NRM esimba amakanda mu Kampala.

  Seya takyalina buganzi

  Nga yaakatuula mu ntebe y’obwammeeya, Ssebaggala yatandikirawo okukwata amakubo agamuggya mu mitima gy’abantu bwe yakola ekkobaane ne naggagga, Hassan Basajjabalaba mu kumuguza akatale k’e Nakasero. Engeri gye yakwatamu ensonga z’akatale ka Owino n’ebyewa Kisekka byamuviiramu okukyayibwa n’atuuka n’okukubwa amayinja bwe yali agenze okukubagiza abasuubuzi b’omu katale ka Park Yard nga kakutte omuliro.

  Omulundi omulala nate, bannakibuga baasalawo okunaabira mu maaso omusajja gwe baasituliranga ku bibegabega wakati mu mukwano nga seya era omwagalwa w’abangi. Okukwatagana n’abagagga nga yeerabidde abantu ba bulijjo abaamulinnyisa waggulu Seya yasalawo kutema ttabi lya muti kw’atudde.”

  Abamumanyi obulungi nga Mbidde n’omubaka Micheal Mabikke bagamba nti eyawadde
  Ssebaggala amagezi okwegatta ku NRM, yamuyambye okufuna we yeewogoma okuva lwekiri nti abadde takyalina kifo kyonna mu mitima gy’abantu be. Yabasuubiza okuddanga ewaka n’akaveera, wabula n’abeekyusiza ng’atuuse mu ntebe. Bannayuganda balindiridde okulaba obuwangazi bwa Ssebaggala mu kibiina kya NRM gy’afumbiddwa mu ngeri y’okunoonya obubudamu.

  #27089
  MachatiMachati
  Participant

  “Twakkaanyizza ne pulezidenti ku ngeri y’okugabanamu obuyinza, ŋŋenda kumunoonyeza akalulu ate nange bwe nnaaba nneesimbyewo ku bwammeeya ankolere ekintu kye kimu. Tulina kukolaganira wamu mu kifo ky’okwerumaaluma nga ba Besigye, Mao ne Otunnu abalemeddwa okufuna obusobozi bw’okuwangula okulonda okujja.” Sebaggala

  Ekyo kikumala bumazi okumanya nti ono omusajja abamusibira mu USA obubbi bandigize bamutuyambako, kubanga nobutemu mutemu. Anti mbulira gwoyita naye…

  Naye mu NRM temuli muntu yenna wadde muwagizi wadde omu ku bakulu baamwo atali mubbi atenga mutemu. BONNA nga toyawuddeeko noomu. Era bonna abo betaaga nebatuula mu mbuga okubitebya lwaaki babbye nokutta Abaganda abatabalinako musango.

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.