Tetujja kugobaganya bagwira – Mengo

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Agafa e Mengo / News from Mengo Tetujja kugobaganya bagwira – Mengo

  • This topic has 9 voices and 10 replies.
Viewing 11 posts - 1 through 11 (of 11 total)
  • Author
    Posts
  • #19000
    MachatiMachati
    Participant

    Tetujja kugobaganya bagwira – Mengo
    Bya Ahmed Mukiibi
    Tuesday, 11 August 2009
    MMENGO egumizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka abatali baganda abaalya ebibanja n’ebifo mu Buganda nti emitima gibabeere wamu era batuule ntende, ebiri e Bunyoro eby’okugobaganya abagwiira abakiga tebijja kutuuka wano.

    “Ebyokusosola mu mwanga ffe wano mu Buganda awo twavaawo dda, Obugunjufu bwasookera wano mu Buganda , tetuyinza kudda mabega mu by’okusosola mu mawanga,” Minisita omubeezi ow’ebyamawulire e Mmengo, Medard Sseggona bwe yategeezezza.

    Yabadde atuukiriddwa okwogera ku biri e Bunyoro ebyatuusiza Minisita w’eggwanga ow’ensonga ezomunda, Matiya Kashaija okutegeeza nti Abafuluki (Abagwiira) abali e Bunyoro bateekwa okwamuka ekitundu ekyo, n’ettaka lyabwe Abanyolo balyegabanye.

    Bino biddiridde ebbaluwa egambibwa okuwandiikibwa Pulezidenti Museveni ng’agaana Abakiga abali e Bunyoro obutaddamu kwesimbawo ku bifo ebisava omuli obubaka bwa Palamenti, LC5 ne LC3 , ebifo ebyo babirekera Abanyolo bannansangwa.

    Kyokka Medard yagambye nti Pulezidenti yayolesezza obusosoze mu mawanga obutabangawo mu Uganda n’agamba nti ekyo kikyamu, wano mu Buganda tekiyinza kubaawo kubanga Abaganda bantu abasembeza era abaaniriza abantu bonna awatali kufaayo ku mawanga gaabwe.

    Yagambye nti ebifo bingi eby’obukulembeze mu Buganda birimu abantu ba Kabaka abava mu bitundu eby’enjawulo kyokka ekyo si songa kubanga Abaganda be babalonda olw’obusobozi bwabwe.

    Medard yawadde Abaganda amagezi obutagwa mu katego ka bannabyabufuzi okubasigamu empisa embi n’omutima ogw’obusosoze n’abasaba okugirywanyisa kubanga ekontana n’empisa z’Abaganda.

    Ababaka ba palamenti ab’enjawulo omuli n’aba NRM nabo baawakanyisa enkola eno ne bateegeza nti teyinza kukola kubanga emenya Konsitityusoni n’amateeka ga Uganda amalala.

    Baagambye nti Pulezidenti yabeewunyisizza kubanga Buganda kye kitundu ekirimu abatali Baganda abali mu bifo eby’obukulembeze kyokka nga tebangamu busambattuko yadde obugulumbo ne beebuuza lwaki akuliriza eky’abakiga okwesimbawo mu Bunyolo.

    #24794
    MachatiMachati
    Participant

    Ate olwo abalaalo bebakaleeta abagugubye ku bibanja bya bantu byebababyeko?

    #24796
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Wano nange sitegeera kigenda mumaaso kati bali bonna bebagobaganya awalala wonna kwekweyiwa mu Buganda kati olwo bo Abaganda balitulako ddi awaabwe ngaate bonna abava gyebavudde bbo tebatukkiriza kugenda waabwe .

    Kino eyagenze e Mengo okukibuuza yabadde anoonya anamulwanira kulutalo ze, omanyi Abaganda batulaba nga ffe abali ready okulwanira abalala bbo bwewabaawo akulussanya Omuganda nga batunula kyamuli ngowendali aliko ensenke ,nga befuula abatabitegeera butegeezi era nga buli omu yefuula atalaba kigenda mu maaso nga tayagala kubimuyingizaamu .

    Wano tetuwulira yebuuza lwaaki Abaganda mumawanga amalala yonna gyebagenda mu Uganda babagobayo nokubattirayo, kyokka nga bantu bebamu bo bamamidde Buganda yonna era tewali kyebatabbye nokusenda bannyini nsi ?
    Kyandibadde kirungi buli omu ayige okwerwanako , kati luno olutalo oluliwo lulinga lwa bakyaala bajja olutetaaga kweyingizaamu mulilaanwa bano bonna kati abelumaluma bassa kimu bwekituuka kukutta okubba nokutulugunya Omuganda for once we should mind our own bussiness .

    #24802
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Nga Mwami Sseggona tanagumya bafuluki bali mu Buganda yandisoose kwebuuza nti nga Buganda eri mu mirembe yalaba millions mmeka eza Baganda eziva mu nsi yaabwe zigende zinoonye emirimu ebweeru ?

    Abaganda bagala ensi yaabwe era si bebantu bosanga mukkubo nobugugu bwaabwe nga bazunga eno neeri , ekyaleeta embeera eno be bagwiira ababasanga nga batudde ntende nebatandika okubajjako entalo nokubatta ,either Abaganda bajja kutuula awo naye nga balina kulwaana okutakome ,oba bajja kuvaawo banoonye webasobola okukolera, okuyimirizaawo abantu baabwe kuba abazze okubafuga buli kalimu bakabajjeeko , bakatunze , bakonoonye , bakabbye , oba bakokezza.

    Singa mwami Sseggona yebuuza ku bantu ababonabonera ebweeru basobole okusigala nga bakyakomyaawo ssente okulabirira abantu baabwe eka , ajja kwewuunya kyebajja okumuddamu.

    Abaganda singa baali tebagala nsi yaabwe bandikoze nga bamawanga amalala bwebakola bwebagenda nga buli omu yefaako yekka nga agamba nti abasigadde eka nabo berabirire,kuba baba balina okubakolerera , naye bwebasanga bino ebyendola then nge kika bakiyita nga kivaayo gyebasibuka , sijjukira nti M7 bweyali agenze okubudama e Sweden yasibako aboluganda abako nabemikwaano nga kati bonna bweyabamalayo bajje bayoole ebyejjenjeero bye basaga e Buganda.

    Kino kyebakola emirimu oluusi egisukka mu esatu kuba bategeka nti bajja kudda munsi yaabwe bagizimbye okuva abagwiira boyongera okutuyitira bwebagitadde ditch.
    Abantu bemugezaako okuwolereza nokuyingirira muntalo zaabwe nemunaabwe gwegubasaza mu kabu , bwadda ebbali nga agamba mbu Abaganda bebagamba M7 nti bagenda kukola rebellion ku gavumenti ye.

    Kale kyandibadde kilungi tusooke tumale ebizibu naffe abagwiira byebatutubuzaamu nga tetunayongera kubatemyaako, nga jobeera nti Abaganda abali ebweeru abakolera ensi yaabwe ngo bulogoyi bo tebanndyagadde kugitulamu kujegazanyizaamu, bokka nabokka nga namawanga getuyita gajje oba gongere okukkalirira, bwegali ewaabwe nga tegajjuzaayo Baganda .

    Kyandibadde kirungi kati oluyimba oluba luyimbibwa lube kusaawo nkola yabantu kweyamba nakwekulakulanya mu bitundu gyebava. Singa tekyaali mu Buganda buli mwaana akuze kumugamba nti kati naawe genda wezimbe, buli maka gandibadde gatudde mulujja lumu anti nga baana awo webawasiza nabazzukulu batyo .

    Ate jjukkira mr Sseggona abantu bogumya nti tebalina gyebalaga ba mpisa mbi basenda bannyini nsi bakola buli kya kivve kyonna, ffe abagenze mu nsi zabalala okukola tukomewo tukulakulanye ewaffe byetutayinza nakuloota kukolerayo ye mu nsi ezirimu amateeka otandikira wa okweyisa nge nsolo nga tebanakukasuka wabweeru?.
    Mengo efe kunsonga za Buganda zokka tulina nyingi nnyo tesobola nakuzimalawo, kati muleke for once nabalala balwaneko ku ntalo zaabwe, Abaganda enzita gyebabaseemu tebakyayagala kuwolereza oba kulwanira gwanga ddala lyonna kuba bamaze bonna okutulaga kiki kyebali.
    And we wont sugar coat it any more as we are tired and sick now we mind our own business .

    #24804
    MulongoMulongo
    Participant

    Mengo nga ayisa ebirangiriro nokuteesa ku byonna byateesa, ateekwa okumanya nti ssi Uganda yokka naye ensi yonna ewulira. Ate era kyetaagisa nnyo okubeera nga abantu bejjukyanya ku byafaayo. Katugambe abantu abali mu nsi zeeno eza beeru bwebamanya nti mu America eriyo amataka agagabibwa, nti era buli agenda asobola okubeerayo, amaato gagendanga gajjudde. Mu biseera biri ebyedda. Era nga bwebategeka olunaku olwokugaba ettaka abantu abamu batambula ne kilomita 300 nebigere. Wano jjo nga Europe etanside okwogera olwaatu bweyetamiddwa abagwiira, buli nsi yatebeereza engeri yokukikwataamu. Spain yasalawo neyisa ekirangiriro nti buli mugwiira ali mu Spain baali baakumuwa bipapula, nti era nabanayingira okutuusa ku nnaku zomweezi zebassawo nabo baali bakubawa. Ekigambo kyavuga mu nsi yonna. Abantu batambuza bigere okuyita mu ddungu lya Africa nga bagenda mu Spain. Aba Spain ekintu kyabayitirirako. Wano ebibiina by’ensi za Eastern Europe bwebigenze bisasika, nenkulabira omugwiira ayiika wano. Eri e Italy bagendanga amaato gajjudde gabooga, nga abamu batondoka bagwa mu nyanja. Gyebyaggweera nga Italy yeyamye kutwaala abantu 50,000 – era abalala bweyalagiranga amaato negakyuuka okuddayo. Awo abamu nebabuuka nnebawuga balinnye ku lukalu lwa kifuba. Mu USA kati bazimba ekisenge wakati waabwe ne Mexico, mbu banasulako namasanyalaze. Ate nga bannansi bekolamu ebibiina ebirawuna nembwa, misana nakiro. Naye era abantu bayitawo. Mu Europe abagwiira batambulira ku train waggulu okuyingira mu nsi zebagala. Mu winter bangi bazzenga batambula na bigere, era abamu omuzira gubattanga, nokubaletera okubasalako amagulu. Wano wendi jjo omukazi abadde akola ogwokulongoosa amayumba, police yamukutte nga talina bipapula mbu bagenda okumuzza ewaabwe, neyetugirsa mu kadukulu!!

    GUNO OMULEMBE TOYINZA KUSUBIIZA BAGWIIRA PARADISE. YOU PEOPLE DON’T KNOW WHAT YOU ARE TALKING ABOUT. YOU WILL BE OVERWHELMED!!!

    Ekyo Mengo kyeyagambye mbategeeza kiyinza okubaleetera awo abayindi naba China bemutayinza nakumanya bungi bwaabwe. Ate okubassa ku nyonyi bwemubagoba ezo sente mmwe mumanya gyeziva. Olaba kikalubirira Europe! Bannaabwe abawulidde bamaze dda okusindika SMS, era nga babategeeza nga aba Africa bwebakyaali abebafu. Nze nawulira Abayindi nga bagamba bannabwe bajje e UGanda bakole sente zaabwe (Quick buck) badduke. Manya nti Quick buck tekitegeeza kukolera mu mateeka. So you people beware!!

    #24811
    KulabakoKulabako
    Participant

    Mulongo kyoyogerako kituufu nnyo, nze wano ba namawanga bensanga gamba abava munsi za Africa nga Ghana , Kenya ,Nigeria, na balala kyasooka okukubuuza wa gyoova bwooba tonamuddamu nga yakutegezezza dda nga bwayagala okugenda okubeera mu Buganda awo womugambira nti actually amawanga agajetolodde gegasinga okubaamu ebirungi ebijja okusanyusa amaaso ge, naye nga balinaga abaliyo kati ababbirako nti wano mu Buganda okola kyonna kyoyagala nga teri akukuba ku mukono .
    Nze wano ndaba nga be Mengo abatwongera omulimu nga already negitulinze okutandika okuzza ensi yaffe obujja mingi.
    Mujjukire nti buli ayingira nga kola ka community ke ate ngayagala naye abe ne rights nge zabannansi, mutunulire amawanga agatazannyisa byaago , teri agakubira nduulu .

    Biri ebyekisa ebyedda byalingawo nga tetunatambula nakumanya international law gyosibirako abantu nga bambadde kagoye kokka akabali kumabega . Abeeru bakugoba tolina mpapula ffe abaffe bakola buli kyabutemu na buli kivve kyonna, naye nebalya butaala nokwewaana nebewaana , kati naffe tulina kutambulira ku international law, tuleze ababbi nabatemu ekiseera ekimala, ngojeeko nti tebalina nakebazza munsi wadde, okugitwaala mu maaso okujjako okuginyaga okugireka obukunya , eno ebweeru osasula omusolo era nebwotolako ku kebakulekeddewo ,nabo baba balina kyebasigazaawo, naye nnyabo buli ajja najja nekyanzi ekyo kukamisa ente natandika nokugikama omusaayi ate bwavaawo nabagamba nti nengumbagumba nazo zize.

    MUKAMA YALI AMANYI KYAKOLA BULI GWANGA OKULITONDERA ENSI YAALYO KATI FFE BWETUBAGAMBA BAVE GYEBABATONDERA BAJJE ENO EWAFFE, KUBA TULAMUSA BA NANTASIIMA TUBA TUMENYE ETTEEKA ERIRI INVISIBLE , ERA KYETUVA TUBONEREZEBBWA NOKUTTIBWA KWABANTU BETUBA TUYINGIZA GYEBATATEEKWA KUJJA ATE NGA EWAABWE NAYO BATUTTIRAYO

    #24813
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    Abe Mengo bamanyi kyebaliko,mu Uganda munda mwebasoka noluvanyuma bajja kulabilira ebye bweeru. Okwogera obwogezi nakwo kulina ki? Nze kyendaba ebintu ebikwata ku Banyoro bijja kwetaaga amaanyi.Muja kukizula nga abantu bano bulijjo bali mu nkwe ezitta abantu mu Buganda.

    #24862
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    The machine that squeals gets the grease. That’s how the world is. Mengo, you have to understand that the Baganda are getting fed up of that apologetic and whinny attitude of yours. No one can exempt him/herself from the world order. There are things you simply don’t joke or lie about, however tight a political corner you might find yourself into. To say that you won’t tell any foreigners to leave, is tantamount to saying you’re surrendering the whole country of Buganda. Leave the foreigners issues to us who have lived and worked in foreign lands. Whatever we decide, the world will understand.

    #24863
    KulabakoKulabako
    Participant

    Kyewunyisa okuba nti ffe Abaganda abasinze okunyigibwa okubbibwa, nokuttibwa ffe tusinga okwekkiriranya nga amawanga amalala agatwetolodde bwegagamba nti nnyamuka bwotokikolerawo ovaayo ne ffumu lyo, naye tekisoboka kuba nga buli kiseera tuta kino tukwaata kirala tuba twakesimattula kubano ate nezireeta abalala .

    Ekikulu ekiriwo teri akyaala mu Buganda asibula , songa ate oli olumala okukkalira ku katebe nga noonya naye bwanafunako ku Buganda cake nga tandika kwegatta nayiggannya Buganda enkeera omusanga kumulyango nti nange najja mpaako ebyange .

    Ndowooza Abe
    Mengo bonna balina kumala kujjako mu mawanga agakuumye ensi zaabwe nga bantu baayo bebasooka okufiibwaako balabe ensi ezo nga bwezitambula,ensi ezisinga tekimala muntu kuzalibwaayo okuba ne rights nga zezimu ne nansangwaawo oteekwa okuba nga bazadde bombi baayo.

    Bino ebya Abaganda okwefuula nti ffe kiri ok amawanga amalala okutuyisa obubi okutusosola oba okututta , tebikyalina gye bikola kuba neeno ebweeru gyetukolera ngo bulogoyi tusigale nga tukyazza munsi yaffe ssente ,omugwiira tebakutunulamu era nyini nsi bwakugoba tolina gyomuwawabira songa eno tekikwetaaza kukola gayisa mabi gebakola Baganda bo abagwiira abagijjamu, ngo kwegatta ne gavumenti ezitutulugunya ate enkeera nebakeera e Mengo nga bebuzisa oba bo tunabagoba .

    Ekyo Mengo eba erina kubaddamu nti Obuganda bujja kumala bwonna kutuula bumale okusunsula empisa zabuli asenze esinziire kweekyo esalewo.
    Beside omusenze akola ogwokukunyunyunta nga gwe tolina kyomufunamu oba tolina kyomwetaaza nga liko ewaabwe ye gyatayagala gwe ogende, doesn’t make sense .
    Musooke mwebuuze ku mbonabona abantu bammwe gyebabonabon aebweeru nga temunayongera kusanyusa bagwiira nti batuule ntende kyokka nga bagaseeko nokusenda wamu nokutwaala ettaka lya Baganda , tetugenda kwejja mu njegere nga ffe tuzetugisa.

    #24864
    BusagwaBusagwa
    Participant

    Ekyokulabirako be Baganda be Nkole,Mu mwaka 1979 Museveni yajja na balaalo nebagenda nga Batta buli mu Muganda eyali mu bitundu bye Sheema-Bushenyi District era ne ttaka kwebaali nebabagobako
    kati basenga Maloongo-Kyazanga..Buli ayagala okubalaba gendayo wewulirire ebikolobero ebyabatuukako!! Ate Awo wemugambira nti temugoba bagwiira mu Buganda!!! Awo musaaga!!

    #24865
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Kyesisiwaza okuba nti abe Mengo abakyatunula ku Baganda abakubwa obutayimbwa , abawere abakwatibwa nebatibwa newaya abakadde nabantu baffe bonna bebasalako emitwe nokubasadaaka nga mu biraba live, ate buli lunaku kyokka nga kati teri mu Buganda atamanyi batta bantu abo , naye nemusalawo bonna nemubazingirawamu nemutyoboola ne kitiibwa kyobwa Kabaka nti abantu ba Kabaka olwokuba basangibwa mu bwa Kabaka bwa Buganda bonna nabatemu nti batuule ntende tebalina gyebalaga tebajja kugobwa ekigambo kimu bwobba tokipimye oyinza okulaba oluyiira lwekikoleeza.

    Mukimanye nti mwongera okunyiiza Abaganda ababonera bonera kumawanga , kuba bo bakolera mu bugubi ate nabalala ku bunkenke , kyokka nga bawulira buli lukya nti ettaka lyaabwe lyebaleka abo bemutitibya okusigala munsi yaabwe balibbye balimazeewo , ebijja byaabwe babisenze bu business bwaabwe bwebakoleredde ebbanga lyonna buyambe abantu baabwe baberewo, nti abantu abo bennyini bemutayagala babave ku lusegere bwonna babubbye nokubwookya .

    Awo muba mugguddewo olutalo kuba, sirowooza nti eriyo abonabonera ebweeru asigazza ekisa nga wulidde ekigenda mumaaso munsi ye, ate nekiba nti mwe beyandyesize okumulwanirira nokukuuma akatono kasigazza nako mukawaddeyo abagwiira bakegazanyizeemu nga gyobeera tebalina gyebaava ngojeeko nti bano bonna ababutikidde Buganda ewaabwe teri ntalo ,kiki ekibatuuza okujja okusenda nokubba ettaka lyabantu nga newaabwe ebyo byonna gyebiri nga teri abikwatako .

    Mukifo kyokulangirira mu lwaatu nti ffe Abaganda tunyumirwa nnyo okufugibwa nokutuulwako abalala, musooke mwebuuze ku buli Muganda wasangibwa mukungaanye ebirowoozo byaabwe nga temunasalawo kubatundira nekumawanga gyebasangibwa , ebyekisa byagwaawo dda bannyini nsi bwebammibwa emirimu mu nsi yaabwe nga balina kugenda kukola buli kalimu konna kabe kawansi katya mu budde obubi ennyo , nga noluusi oli alina kwebba okugukola. ,Mubeere nekisa musooke mulowooze kumbeera zabantu bammwe zebayitamu olwakwagala ensi yaabwe Buganda.

    Muteese nga Abaganda bonna gyebasangibwa mubebuzizaako okuwuliriza wamu nokukolera ku biteeso byaabwe.

Viewing 11 posts - 1 through 11 (of 11 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.