THANK YOU MIRIAM MAKEBA (RIP)

  • This topic has 5 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #18422
    MulongoMulongo
    Participant

    We thank you mama Africa – Mirima Makeba for all you have done in the struggle for a better world. Your work will always be an inspiration for the younger generations.

    Let’s say farewell to this brave African child with her own voice.

    N’kosi Sikeleli Africa- With Miriam Makeba.

    http://www.youtube.com/watch?v=ow40LQs0ue4

    Now let’s hear everyones favourite Makeba song;

    #20373
    MugerekaMugereka
    Participant

    I would have loved to be there, to say goodbye to this great woman, whose voice was our beautiful company in the early and lonely away from home days. We love you Miriam. May God bless your soul.

    http://www.youtube.com/watch?v=MB26L8nbRiw

    Josephs face was black as night
    The pale yellow moon shone in his eyes
    His path was marked
    By the stars in the southern hemisphere
    And he walked his days
    Under african skies
    This is the story of how we begin to remember
    This is the powerful pulsing of love in the vein
    After the dream of falling and calling your name out
    These are the roots of rhythm
    And the roots of rhythm remain

    In early memory
    Mission music
    Was ringing round my nursery door
    I said take this child, lord
    From tucson arizona
    Give her the wings to fly through harmony
    And she wont bother you no more

    This is the story of how we begin to remember
    This is the powerful pulsing of love in the vein
    After the dream of falling and calling your name out
    These are the roots of rhythm
    And the roots of rhythm remain

    Josephs face was black as night
    And the pale yellow moon shone in his eyes
    His path was marked
    By the stars in the southern hemisphere
    And he walked the length of his days
    Under african skies

    #20380
    KulabakoKulabako
    Participant

    nze kano kekaali fav kange

    http://www.youtube.com/watch?v=e-VrfadKbco&feature=related

    Miriam Makeba:Omuyimbi omututumufu mu nsi yonna ayabise omutima n’afa

    1226340939woman.jpg

    Makeba e Munyonyo mu Uganda.

    Bya Richard Kayiira
    “MALAYIKA, nze nkutenda, malayika….” ffe bwe twakula tuyimba nga tugeegeenya oluyimba lwa Miriam Makeba olwa “Malayika” olwaganja ennyo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

    Makeba Yakazibwako erya Maama Africa olw’ennyimba ze ezikubiriza abantu mu Afrika okwegatta n’okwewala okwesosola olw’amawanga, ennimi, langi oba eddiini, yafudde olunaku lw’eggulo obulwadde bw’omutima.

    Abasinze okumusaalirwa beebo abeetabye mu kivvulu kye yakoze omwezi oguwedde e Munyonyo era abamu baasoose kuwakana nga babagambye nti afudde, kubanga yali talaga kabonero konna kayinza kwoleka nti embeera y’obulamu bwe eriko akamogo konna. Abamu bakyamulabira mu kifaananyi ky’omukadde omusanyufu alina ekitone ky’okuyimba.

    Okuggyako obutasobola kulinnya madaala nga tewali amukwatiriddeko olw’emyaka gy’abaddeko 76, ebirala abadde abikola nga bwe yabikolanga mu myaka gy’ekivubuka era nga bw’atandika okulya mu ndago owuliririra ddala eggono eryeyolekeranga mu nnyimba nga “Pata Pata”.

    Ekitabo ky’abantu abakoze likodi kimwogerako ng’omuyimbi akyasinze okubeera n’amannya amangi. Ng’akyali muto bazadde be baamutuuma amannya 25 n’omusobyo era bw’otandika kugamenya, ogenda okugamalayo ng’omuntu amanyi emisinde adduse kitundu kya kilomita! Yatuumibwa: Zenzile, Makeba, Qgwashu, Nguvama, Yiketheli, Nxgowa, Bantana, Balomzi, Xa, Ufun, Ubajabulisa, Mbiza, Yotswala, Sithi, Xa Saku, Qgiba, Ukutja, Sithathe, Izitsha, Sizi, Khabe, Singama, Lawu, Nqamla, Nqgithi.

    Kino kyava ku bazadde be ababiri abaali bava mu mawanga ag’enjawulo; nnyina ow’eggwanga ly’aba Swazi yaleetayo amannya okuli n’aga bajjajja ba Makeba ab’oludda lwa nnyina n’agamutuuma ate kitaawe ow’eggwanga ly’aba Xhosa naye n’aleeta agage okuli n’aba bajjajja ba Makeba ab’oludda lwa kitaawe naye n’agamutuuma.

    Kitaawe yafa Makeba yaakaweza emyaka 6 gyokka kyokka nnyina agamba nti kawalake kaalabikirawo nga kalina ekitone ky’okuyimba nti era olumu kebbiriranga ne kagenda ku kkanisa ebali okumpi ne keegatta ku kkwaaya ne kayimba era bwe baagezangako okukagobawo nga kalemerawo.

    Mu 1950 nga Makeba wa myaka 18 yatandika okukola ebivvulu eby’amaanyi ng’ayimbira wamu n’ekibiina kya Manhattan Brothers kyokka oluvannyuma n’atandikawo ekibiina kye ekya Skylarks ne yeemalira ku kuyimba ennyimba z’ekika kya Jazz.

    Bwe yeegatta ne Hugh Masekela (oluvannyuma eyafuuka bba) mu 1959 kyasukka anti tebaakoma ku kuyimba wabula bassaako n’okuzannya firimu okuli eya Sarafina eyanyumira ennyo abantu, Makeba mwe yazannyira nga ‘Angelina’ era ne yeetaba ne mu firimu evumirira obusosoze mu 2002 eyitibwa ‘Amandla’.

    Yakwatagana ne Harry Belafonte ow’e London mu Bungereza eyatandika okumutambuza mu buli ggwanga lye yayagalanga okwolesezaamu talanta ye era entambi ze ezaddirira ezivumirira obusosoze mu langi obwali e South Africa gy’azaalwa yazifulumiza mu America gye yali afunye obutuuze.

    Olw’okuvumirira obusosoze, gavumenti y’Abakabbulu mu South Africa yasazaamu paasipooti ye era yagenda okugezaako okudda ku butaka aziike nnyina eyali afudde mu 1963 ne bakamutemera ku kisaawe ky’ennyonyi nti takyakkirizibwa kulinnya mu South Africa.

    Ensi kkumi bwe zaawulira kino ne zimuwa obutuuze era ne zimusaba w’abeera ayagalira okugendayo, enzigi nzigule. Agenze okufa ng’alina Paasipooti z’ensi 9 ze yasalawo okufunamu obutuuze. Yamala mu buwang’anguse emyaka 30 okutuuka Nelson Mandela lwe yalya entebe n’amwegayirira akomewo eka era naye n’adda.

    Kyokka oluvannyuma yayawukana ne Masekela n’afumbirwa omulwanirizi w’eddembe ly’abaddugavu Stokely Carmichael enzaalwa y’e Trinidad mu 1968 era kino kyewuunyisa nnyo abantu naddala mu America era abamu ne batandika okumulwanyisa n’amakampuni g’Abamerica ne gamuggyako ttenda z’okuyimba ze gaali gamuwadde.

    Ye ne bba baasalawo okuva mu America ne bagenda e Guinea ne babeera nnyo ku lusegere lwa Pulezidenti Ahmed Sekou Toure ne mukaziwe. Wabula era teyawangaala nnyo na bba Carmichael mu 1973 era ne yeemalira ku kuyimba n’okutalaaga ensi ez’enjawulo ng’akola ebivvulu. Yali omu ku beetaba mu kivvulu eky’amaanyi ekyategekebwa mu Congo (Zaire) mu 1974 ekyatuumibwa ‘Rumble in the Jungle’.

    Mu zimu ku ngule z’awangudde mwe muli eya Grammy Award essibwamu ennyo ekitiibwa era ye mukazi omuddugavu eyasooka okuwangula engule eno.

    Yazaala omwana omu yekka Bongi Makeba kyokka eby’embi naye n’amufaako mu 1985.

    Published on: Monday, 10th November,

    MUKAMA AMUWE EKIWUMMULO EKYEMIREMBE

    #20384
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    It’s really sad. My condolences to Makeba’s family and to all the children of Africa for loosing their mama. She was a fighter for the rightful cause to the very last minute. I think she wouldn’t have asked for a better exit, right after a concert and a standing ovation. Rest in peace our Miriam.

    In Malaika, she was very good singing with Harry Belafonte.

    #20393
    SengoobaSengooba
    Participant

    Miriam Makeba aka Mama Africa in one of her last concert (August) at Oslo mela 2008 Norway. You indeed will always be missed. Rest in peace, beautiful princess.

    Africa is where my heart lies.

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.