Ttabamiruka wa Buganda mu America

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyokumawanga / Diaspora Data Ttabamiruka wa Buganda mu America

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Basajjamivule Anonymous 7 years, 1 month ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18776
    Basajjamivule
    Anonymous

    Ttabamiruka wa Buganda mu America ateesezza ku bumu, ebyenfuna n‘ebyobufuzi mu Buganda

    Olukungaana lw’Abaganda ababeera mu America olwa ttabamiruka olwetabiddwamu abantu ba Ssaabasajja abasoba mu 500 lwateesezza ku bumu mu by’enfuna n’ebyobufuzi mu Buganda.

    Olukungaana luno olwabadde mu kibuga Boston lwetabiddwamu abakungu okuva mu Bwakabaka bwa Buganda, abaakulembeddwamu omumyuka wa Katikkiro asooka, Owek. Amb. Emmanuel Ssendawula n’Omulangira David Wassajja eyakiikiridde Ssaabasajja Kabaka.

    Yadde si kya bulijjo ttabamiruka ono okwogererwamu bannabyabufuzi aba NRM, ku luno ssentebe w’akabondo ka Buganda Godfrey Kiwanda yataddewo ebyafaayo ne bamukkiriza okwogera wakati mu kuwakanyizibwa okwamaanyi. “Tekibangawo omuntu wa NRM okwogerera mu ttabamiruka ono kubanga baafuna obutakkaanya ne UNNA naye nze nasoose okwogera wadde ng’ekiwandiiko kyange kyawakanyiziddwa nnyo,” Kiwanda bwe yagambye.

    Wabula ye Minisita Ronald Kibuule, Pulezidenti gwe yatumye okumukiikirira baamugaanye okwogera, abategesi ne bamutegeeza nti, “Tekisoboka kubanga ffe gavumenti ya NRM ye yatugoba e Uganda, mu America tuliyo ng’abanoonyi b’obubudamu bw’ebyobufuzi oba obwebyenfuna, kati kijja kitya ate okukukkiriza?”

    Oluvannyuma waabaluseewo obutakkaanya ng’abawagizi ba NRM bagezaako okuleeta ekiteeso ekyokukyusa mu mateeka agafuga ttabamiruka, naddala erikugira aba NRM okwogera wabula abantu ab’enjawulo omwabadde n’Omulangira Wassajja eyakiikiridde Ssaabasajja Kabaka ne bakiwakanya.

    Mu mateeka amalala agafuga ttabamiruka ono mulimu; obutayimba luyimba lwa ggwanga Uganda, obutawanika bendera ya Uganda, obutayogererwamu bannabyabufuzi ba NRM okuggyako ng’akkiriziddwa mu ngeri ey’enjawulo, okubeerawo ku lunaku lumu ne UNNA, okutuulamu Abaganda bokka wamu n’okumanya ensonga za Buganda zokka.

    Abalala ababaddeyo kwabaddeko; Loodi Mmeeya Erias Lukwago, ssentebe wa Buganda Land Board; Kyewalabye Male, omwogezi w’Obwakabaka; Owek. Charles Peter Mayiga, omuwandiisi w’olukiiko lwa Buganda; David Ntege.

    Ababaka kwabaddeko; Godfrey Kiwanda, Betty Nambooze nga bano bombi baalwogereddemu, Mathias Mpuuga, Ssemujju Nganda, Ann Nankabirwa, Haruna Kasolo, Benny Namugwanya n’abalala.

    DEO WALUSIMBI

    comments

    391 7
    mwebale kutesa.buganda bummu. temukiriza ezo embolo zamuseveni okutwogere bazitwalw erwakitura… kyoka m7 ajooga okuweereza speka.

    ha museveni ngenge amazze okududa

    bwetutatandiike kuvumiria america m& ajja kwongera okusibba nati wabulakatonda gyali.oyite teyaffa? 07 – Sep – 2012 19:57 museveni akiikiriddwa banyarwanda mubye nnono bya buganda!!!!!!!! museveni yakiikiriddwa omubaka kibuule!!!!

    ttabamiruka siyabyabafuzi ba uganda. lwaki mu7 akiikirirwa? kibuule tazaalibwanga mu buganda, wadde uganda. yazaalibwa rwanda era yajja muto. kitaawe ye kiyobole abalina amaka e mbalala nga wakava e namawojjolo, mu gombolola ye nama. kibuule yaakatan awo ebijja, babadde tebalina webabaziika, nga babaziika mu mikwano gyabwe abanyarwanda abalina ebijja e lugazi. kibuule abbye ettaka e mukono, era mu gombolola ye nama ndowoola kati awezaamu ekitundu kya mailo. ba ssentebe ba lc zomu nama beebajjudde mu office ye, beebakozi be baawa emilimu, asobole okubakozesa mu kibba ttaka. mbeera bweru naye ebifa ewaffe tubimanyi era linda. ebyo byogula birye nga bukyali.

    08 – Sep – 2012 07:26 muyanda mutebi ye mbeega wa m7 mu boston tulina bwiino wano mu boston nti muyanda mutebi yeyapanze ne mengo wamu nomusajja omunyarwanda eyeyita david nyanzi nebanyigawo kiwanda nga abakungu ba ttabamiruka okuva e new york tebategedde. ono ye muyanda eyadduuka e uganda nga bamunonya olwo kukumpanya sente za basomesa ate nokusobya ku muwala omuganda. kati akolela m7 amuwe ekisonyiwo ku misango nagomola ejjo. ate ekilala ssebo omulyake ono muyanda batugambye nti yeyali owe saza e sese naye bweyali aduka ne kabaka teyamugamba. kale walusimbi ne sendawula baba tebalya lukwe mu buganda okukkuta me deserter nga oyo? kati embuga ye saza lye sese eri wali mu ghettos muyanda mutebi wasula?
    ffe tuwagira nnyo amateeka ga bakulu ba tabamiruka abe new york gebatekawo era tetwagala tabamiruka kukomawo wano mu boston
    . 08 – Sep – 2012 16:00 m7 bamukudde ebinnyo ku ttabamiruka we boston
    nze nabadeyo mu ttabamiruka 2013 e boston naye nga nomwana omuto akilaba bulabi okuva ku gali mu nkuubo nti wabaddewo olukwe okutta oba okuwamba ttabamiruka bamutunze museveni. ate nga mu lukwe mwabademu abe mengo sendawula ne mayiga, abanyarwanda kibuule ne nnyanzi, owesaza lye sesse muyanda mutebi, mp wa m7 kiwanda, ne muzeeyi owagalubindi omunene abeera side ze new york oba new jersey.

    okusiinziira ku byensomye ku eddoboozi.com ne byenalabako nokuwulila nzeyini e boston kino ekikoosi kyalwaanye bya kilalu era newunyanyo abasajja ba gwanga mujje ye new york oba bakiremesa batya? kaguta yaviridemu awo nga gwebakudde ebinyo. anti kirabika abasajja be new york bagenze bawera obutaddamu kukiriza gyooggo lino mu ttabamiruka ever. era nga balanze nti mu 2013 olukiiko luli new york era omulamwa gwakuba “buganda eri mu buwambe?”.

    08 – Sep – 2012 20:03 nange naliyo oyo omuzeyi omunene gwogamba ye lugira. 09 – Sep – 2012 02:30 kiriza oba gaana buganda eri mubuwambe.baano bapulezidenti basigile babamatwale:)

    09 – Sep – 2012 22:05 muyanda mutebi alumika kabaka ebigambo ku radio ze boston? leero ku sunday prof muyanda mutebi abadde ku radio uganda boston nagamba mbu kabaka mutebi yennyini yeyalagira oluyimba lwa uganda ne bendela ya uganda bibelewo mu ttabamiruka. banange ono omusajja yoomu eyagamba owekitiibwa sendawula mu lujjudde lwa bantu ku monday nti ye talina budde bwakumala na kulabula kwa mulangila wasajja nti abaganda tuleme kwogera bituswaaza.

    waliwo omwami eyamubuzizza muyanda mutebi oba ye ye kitikkiro walusimbi gweyakubira essimu okuva mu state house okunyigawo kiwanda mu ttabamiruka. teyeganyi nada mu kuwooza mbu ye bamujjeko engambo.

    nze omusajja ono andabikira nga afuuse ekizibu. muyanda mutebi byayogera ku kabaka ku radio ze boston bituufu? 10 – Sep – 2012 06:27

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.