TUYISEEWA obuyambi okuyamba omwana ono?

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements TUYISEEWA obuyambi okuyamba omwana ono?

 • This topic has 3 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • Author
  Posts
 • #17983
  TontoTonto
  Participant

  Bekikwatako mutubulire engeri jetusobola okuyisaamu obuyambi, tuyambe omwana ono Joseline Namatovu ali kukitanda e Mulago.

  Ate naawe taata w’omwana, (Willy Matovu)funa omulimu gwonna okole. Osobola okusiika muwogo oba chapati.

  ASIGADDE TTAYO: Maama we ne baganda be battiddwa

  1230033798woman.jpg
  Joseline Namatovu e Mulago

  Bya Robert Mutebi ne Henry Ssennyondo

  KAKAZI kattu kasiiba mu maziga ku kitanda e Mulago. Obulumi bwe bukkakkana ne kayita maama waako. Joseline Namatovu ow’emyaka ebiri n’ekitundu ye yekka eyawonawo oluvannyuma lwa nnyina ne baganda be babiri okutomerwa omugagga w’e Bbira ku lw’e Mityana ne bafiirawo.

  Nga November 19, 2008, Christine Nakubulwa yafudde mu ntiisa n’abaana be Jovic Matovu 7 ne Jovan Bukenya ow’emyezi omwenda. Omwana omulala Namatovu yamenyese amagulu nga kati ali Mulago mu waadi 2C.

  Baabadde ku pikipiki ne batomerwa omugagga Salim Kimera Galibawo, nnannyini kkampuni ya SK Sure House e Bbira.

  Kimera yasooka kukwatibwa n’aggalirwa e Katwe kyokka n’ayimbulwa nga tavunaaniddwa. Omuduumizi wa poliisi, Maj. Gen. Kale Kayihura yalagira akulira poliisi y’e Katwe, Godson Nsekanabo agobwe ate Kimera akwatibwe.

  Ensonga zaayongerwayo ku CPS kyokka era Kimera n’ayimbulwa. Ku nkomerero y’omwezi oguwedde yasimbiddwa mu kkooti ku Buganda Road n’akkirizibwa okweyimirirwa era kati alya butaala.

  Omwana Namatovu yassiddwamu ekyuma mu kugulu ate okulala ne kussibwa mu seminti.

  Alabirirwa nnyina omuto, Mary Naggayi eyategeezezza nti tebalina buyambi. Bali mu kasenge 2C ak’okusasulira 70,000/- buli wiiki.

  Bukedde we yagendeddeyo nga babanjibwa ssente za wiiki ewedde gattako eza wiiki eno.

  Kitaawe w’omwana ono, Willy Matovu talina mulimu. Mukazi we ye yali asakira abaana ekyokulya.

  “Ekinnuma kwe kuba nga Kimera alya butaala. Ffenna tuli mu kitundu kye kimu kyokka tafunanga kadde wadde okujja okunsaasira, wadde okuntumira omubaka. Bannange oba waliwo ayinza okunnyamba, ajje tutaase obulamu bwa Namatovu”, bwe yategeezezza.

  Kyokka omu ku mikwano gya Kimera yagambye nti Kimera yagenda mu ddwaaliro n’alaba ku mwana oyo.

  Ssentebe wa LC1 e Bbira, Vincent Bugembe yategeezezza nga Kimera bwe yassiddwako amateeka okuli okumugaana okunywa omwenge emisana nga bw’anaakikola bajja kumutanza ate n’anaaba agumuguzizza wakusasula 20,000/-.

  Kyokka omutuuze omulala yagambye nti aba LC bali mu kubalaata kubanga okutanza omugagga 20,000/- taziwuliramu ekirala asobola okugula bbiya n’amutwala mu nju ye oba okumugula awalala (awatali Bbira).

  Wassiddwawo akakiiko akaliko abataka ku kyalo okulondoola eneeyisa ya Kimera nga bano baakukola lipoota eri Ssentebe buli luvanyuma lwa mwezi gumu.

  Kimera era agenda kwetondera abatuuze olw’eneeyisaye embi gattako okwetondera mu lukiiko lw’ekyalo olw’abaana ne nnyaabwe be yatomera ne bafa.

  Published on: Tuesday, 23rd December, 2008

  #21398
  MubiruMubiru
  Participant

  Omwana eyatomerwa omugagga bamugobye e Mulago lwa ssente

  BYA ROBERT MUTEBI

  babymama.jpg
  Naggayi ng’ayamba Namatovu okutuula mu katebe.

  OMWANA Joseline Namatovu eyasigalawo yekka oluvannyuma lwa nnyina ne baganda be babiri okutomerwa mmotoka ne bafa agobeddwa mu ddwaaliro e Mulago gy’abadde ajjanjabirwa.

  Abadde mu waadi 2C mu kasenge 19 akatali ka lukale kyokka ssente ne ziyitirira obungi nga tebalina waakuziggya n’agobwa n’azzibwaayo ewa jjajjaawe e Nakabugo okumpi n’e Bbira.

  Mariam Naggayi nga muganda wa Christine Nakubulwa nnyina w’omwana eyafiira mu kabenje yategeezezza nti basookera mu kasenge ak’olukale kyokka ne waggyawo abantu ne babazza mu kasenge akatali ka lukale.

  “Baatugamba nti basindikiddwa omugagga Salim Kimera Galibaawo eyatomera abantu baffe kyokka okuva lwe baatuteeka mu kasenge kano tebadda, mukyala Kimera ye yaggyawokko omulundi gumu n’atutegeeza nga bw’abadde aweereza obuyambi kyokka nga tebutuuka,” Jjajjaawe Mariam Babirye bwe yategeezezza.

  Buli wiiki babadde basasula 70,000/- ezeetuumye ne ziwera 480,000/-. “Bwe baatuwadde bbiiru kwe kutegeeza mukyala wa Kimera n’atusuubiza okudda kyokka teyazze, kwe kugenda ewa taata w’omwana Willy Matovu eyanoonyezza ssente zino n’azituwa ne tuva mu kasenge,” Naggayi bwe yategeezezza.

  Namatovu yasimattuka okufiira mu kabenje nga November 19, 2008 omwafiira nnyina ne baganda be era ekiseera kino kyonna abadde apooceza mu ddwaaliro e Mulago gye yagobeddwa ku Lwokusatu nga December 24, 2008.

  Mu kiseera kino Namatovu ajjanjabirwa wa Jjajjaawe Babirye ow’e Nakabugo-Bbira we bayita ku mayiro mwenda. Wadde yaggyiddwa mu ddwaaliro, amagulu gakyagaanyi okutereera era gasibiddwaako ppulasita.

  Bukedde we yatuukidde mu kifo kino nga ne Kimera ali ku dduuka lye erya SK Sure House e Bbira n’ategeeza ng’obwavu bwe bubulako akatono okumutta nga mu kiseera kino takyalina na ssente zisobola kulabirira mwana ono.

  “Nina amabanja mangi, abajapaani bampa ebintu byabwe era bammanja, bbanka zimanja naye nkoze ekisoboka okuyamba omwana oyo kubanga simanyi na ssente mmeka ze nnaakabawa mu kiseera kino,” Kimera bwe yategeezezza.

  Yajulizza ssentebe w’ekitundu kino eky’e Bbira, Vincent Bugembe gwe yagambye nti mu kiseera kino y’amuyambako era nga gw’abadde ayisaamu obuyambi obugenda mu bantu abaafiirwa.

  Kyokka Matovu yagambye nti bukya baana be n’omukyala bafa abadde tafunangayo buyambi bwonna okuva wa Kimera.

  Matovu yagambye nti takyalina nsimbi n’asaba abazirakisa bamudduukirire ku ssimu nnamba 0752962210 oba eya nnyazaala we 0715149561.

  #21406
  MulongoMulongo
  Participant

  Abagwiira abajja nebasoma nebajjanjabirwa obweereere, tebalina kyebalese nga abaana baffe bakifunira ku sente zetuwa mu musolo. Ye kati bannange omusolo lwegukola ki ddala?Baabo babakanyuga bweeru wa malwaariro. Ekintu kino nga eddwaliiro likuddiza omulwadde atawonye kale kirumya. Odda eka nga webuuza obanga ddala Katonda yakwerabira, oba nti akuwaddeyo ofe. Bangi eno ku mawanga twerabira ebintu bino, mpozzi ppaka nga embeera ekutusizza okuddayo nga tewesiikidde kanyebwa.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.