Uganda Obubbi Bunatera okugitta Esaaneewo

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Musajjalumbwa Musajjalumbwa 7 years, 4 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17249
    Musajjalumbwa
    Musajjalumbwa
    Participant

    Nga bulijjo Uganda eyimiriddewo ku bubbi. Aba Rwanyakitara balowooza bokka bebasobola okukwaata emmundu okukola ebikolobero mu Buganda naye emmundu temanyi nyiniyo. Buli gwetunulira emukuba. Okujjako nga betegese okusengeka ku ttaka lyaabwe bagende babeere ewalala. Katonda ayagala nnyo Abaganda, tujja kuwangula abalabe bonna.

    Poliisi yeeremye okuddiza Mmengo ettaka ly’e Nateete
    Jun 04, 2012
    [attachment=2552]Awazimbibwa police e nateete.jpg[/attachment]
    Sayiti awazimbibwa poliisi e Nateete.

    Nateete
    Bya Anthony Ssempereza

    ENKAAYANA z’ettaka lya Poliisi y’e Nateete zongedde okulinnya enkandaggo, mmengo bw’evuddeyo n’etegeeza nti tekkirizaganya na gavumenti kuzimbako poliisi kuba ettaka lya Kabaka okuggyako nga bamaze kutegeeragana.

    Poliisi yatandika okuzimba poliisi y’e Nateete empya ng’ezzaawo eyayokebwa mu kwekalakaasa okwaliwo ku by’e Bugerere nga September 11, 2009.

    Ow’essaza Gideon Kisitu yaggyeyo bwino ku ttaka lino n’agamba nti ettaka lino lya Buganda ddala Ssekabaka Muteesa II, awo ye yazimbawo poliisi nga twakeefuga n’azimba n’endala e Mitala Maria nga yali tasobola kuzimba poliisi ku ttaka litali lirye n’olwekyo buli agezaako okutwala ekifo kino nga si Mmengo aba abbye kibbe.

    Katikkiro abiyingiddemu Katikkiro wa Buganda Ying. J.B Walusimbi yategeezezza nti ayingiddemu nsonga zino okuwa bwino alaga nti ettaka lino lya Kabaka era tewali muntu ateekeddwa kukolerako kintu kyonna nga takkiriziganyizza na Mmengo.

    “Tutandise okunoonyereza nga tuyita mu kitongole kya Buganda Land Board ebikwata ku ttaka lino kubanga ebyapa bya Mmengo bingi byabulankanyizibwa mu butabanguko bwa 1966,” Katikkiro bwe yategeezezza.

    Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire e Mmengo Mw. Peter Mayiga, agamba nti byonna ebizze bikolerwa ku ttaka biraga nti ettaka lya Buganda, poliisi eyaliwo Kabaka ye yagizimba, teyandigizimbye ku ttaka ly’atalinaako bwannannyini, ebintu bya
    Buganda bingi byatwalibwa gavumenti eya wakati mu 1966 kati bye tugezaako okubasaba naye babiremedde.

    Naye etteeka liri nti bw’ozimba ennyumba oba okukolera ekintu kyonna ku ttaka ly’omulala nga takuwadde lukusa, byonna by’okolerako bibeera bibye n’olwekyo bye bazimba bwe baba baagala bajja kubisasulira nga bapangisa kuba tebalina bwannannyini ku ttaka lino.

    Omubaka Joseph Ssewungu owa Kalungu west atuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ekitongole kya poliisi yagambye nti, akakiiko kaabwe akanoonyereza ku by’okuzimba poliisi eno, kaakizudde nti poliisi erina ekyapa ekipya kyokka nga tebalaga ngeri gye baakifunamu.

    Wabula avunaanyizibwa ku by’okuzimba mu kitongole kya poliisi, Godfrey Bangirana yagambye nti okusinziira ku biwandiiko
    bye balina ettaka lino lyabwe era bajja kugenda mu maaso n’okuzimba n’asoomooza ab’e Mmengo nti bwe baba bakaayanira ettaka lino baleete obukakafu obulaga nti lyabwe.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.