Waliwo andabidde ku kisumuluzo kyange?

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements Waliwo andabidde ku kisumuluzo kyange?

  • This topic has 7 voices and 16 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 17 total)
  • Author
    Posts
  • #18988
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    lonely_heart.gif

    Bwewaba nga waliwo eyandabiddde ku kisulumuluzo kya lock eno musabye anyambe antegeeze. Mwebale nnyo baana battu.

    #19232
    KulabakoKulabako
    Participant

    Musajjalumbwa nze nandi kuyambye okunonyezaako naye ebyennaku zino ebyobwereere byagwaawo siwuridde kirabo kyotekawo ffe abanawenja akawonvu nakagga kyetujja okukwasaako ebiri.
    Jukira totuwadde nandagiriro emala oba tulina kuwenja na nsi ki, si kwe kuwenja mu ddungu nga gwe tuwenja abeera mu Iceland

    #19266
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Musajja mu mazima tekaawo ekirabo, otubulire nekisumuluzo kyo mutima gwo gyewakisula. Nga akalango koku CBS akagamba nti kwata cash, naffe tunoonye nga tulina essubi erikwata kyetunaakwaata.

    #19268
    JonaJona
    Participant

    Ekisumuluzo kikugwaako kitya? Olina wewakyerabidde? Oba waliwo ekkufulu mwewakiresse? Kyotakolanga kwekwerabira ekisumuluzo kyo. Bwosuula ekisumuluzo kyo olwo oba osigadde kuki?

    Jjukira bulungi ekufulu jewakiresseemu. Oba waliwo eyakiteeka mu chupa nakikasuka munyanja? Mwana wange gezaako kujjukira, vva kuzino kuffulu zaleero eza new technology. Teziwena ate nkambwe nnyo.

    #19286
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Lol, ayinza okuba nga yakilese mu kufulu ndala ate nakinoonyeza mu ndala? Master key? Ssebo wenoonye noonye. Oyinza okuba nga ekisumuluzo okirina awo mu nsaawo ate nokinoonya.

    #19291
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Tufudde nekisumuluzo lwaaki tewagulira ddala biwera oba okukisiba ku lwaayi nolwesiba mu kiwato nga yirizi, oba kkufulu nogula ya combination ngokyuusa bukyuusa number nototussa kubunkenke bwakunonyeza kisumuluzo kabe kasinge nga nokutalagga kyatalagga dda gyewakisuula.

    #19296
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Eeh Ssebo Mumbejja emboozi eno yatabuse dda. Nange mbadde ntandise okubuzabuzibwa na kisimuluzo ki kyetwogerako. Bannange nze noonya ekisimuluzo kyomutima gwange. Mwe munzizizza mu bya ki Nigeria mbu bakizssa mu ccupa nebakisuula mu nyanja, mbu kyatalagga, technology. Wano tewakolebwa kalango ko, abajerezi bangi bulala!

    #19310
    JonaJona
    Participant

    Kisoboka okuba ng’ogusumuluzo gwaali mazongoto, oba ng’ekkufulu mwewakissa yeyali enfunda, nekiremeramu, nga nebwosika otya tekivaamu!!! Ate oluusi ekkufulu yali ngazi nnyo ng’olutyaatya, nekigwaayo bugwi, nekibulirayo. Kitalo kino. Onzijukizza omuyindi eyalina ekisumuluzo ekyalemera mu kkufulu. Abantu nebakungaana okwerolera ekisumuluzo bwekiganidde mukkufulu.

    #19312
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Abange nga mazongoto wogusumuluzo yetikkika oyo oba nga yetaaga wetiiye okumutambuza era aba alina kufuna mazongoto yakkufulu.
    Kuba engeri yonna gyokitunulamu mazongoto w’ogusumuluzo tayinza butamenyekera mu kakufulu oba naaba nakasumuluzo okukagguza mazongoto ye kkufulu, aba akasumuluzo asigadde kukalobayo bulobi muntobo yamazongoto wekkufulu.
    Kyokka banange Jona simanyi ondaba embozzi bwengikutte kinawadda kati yiwa bwiino mulala nze mbule naye
    Ye gwetunonyeza mazongoto manya ogusumuluzo nga tanyega

    #19317
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Lol, abantu bakungaana batya okwelorera ekisumuluzo ekigaanidde mu kufulu? Bbo tebalabanga ku bisumuluzo wakiri ebirakidde mu munyoro? Oba wakiri ekyetuzze ku mukuufu gwaakyo? Kyokka bannange, Musajja jangu ogambe nti ekisumuluzo okirabye otujje mu buzibu.

    Mpozzi nga okola lugezi gezi. Kubanga waliwo omusajja omu yagenda okukyaala ewo mukazi, kale obugenyi nebuggwa nga tannayogera kimuleese. Kyaava asuula ekisumuluzo emabega we ntebe. Bwatuuka gyatuuse nakuba essimu namugamba nti ,”Oba ekisumuluzo kyange nnakirese awo?” Omukazi bweyanoonya noonya nakigwako. Omusajja amugamba, “Olina ddi obudde nga topapa papa nga leero bwobadde nzije nkinoone, nkuwemu nokukuwamu?”

    #19324
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Nange wamma Omuyindi oyo nnamuwulira nti yassa nga ekisumuluzo mu kkufulu etali yiiye. Mbu nnyini kkufulu kwekukigwaamu. Nagenda ku muganga, namuwa entengo tengo bbiri, najja azikanyuga nezibuuka omuyindi nga aggula kkufulu eyo. Ate ekisumuluzo tekyaganira mu kkufulu? Omuyindi takaabye ne kkufulu? Enduulu telaye? Abantu tebakkungaanye? Nnanyini kkufulu yali yegendedde nakumirimu gye. Eyo gye bamunoona nti jangu olabe ekigudde ewuwo. Najja ne ntengo tengo ze, nazikanyuga nezibuuka ekisumuluzo ne kkufulu. Nga embeera bwedda mu nteeko. Kozzi bagamba batya? Gwebakwatira mu kituli yaba omubbi?

    Naye nze ebyo ssi byenjogerako nze ngamba kkufulu ya mutima gwange bannange. Ebintu byomutima biringa bya mukene, ssi bitene.

    #19338
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Naye omuyindi ono yali agyooga ndowooza yagamba nokugamaba nti kkufulu yanyoko wankobe nkima gwaagwa………… kati yagenda okulaba nga limazongoto lye liganiidde mu kkufulu , awo kyesamanya nyini kkufulu engeri gyeyagera nga mazongoto eggula ekkufulu koye anti ekkufulu oyagala ku gyetiba , gyetibire ddala oginnyuke, nakasuka entego nazibuusa ennyumba ,wano kyessimanyi guy ono emirimu yali agikoleraawo kumpimpi nga linda ekiseera kyonna,Bamuyite amalirize omukolo gwo kutaggulula ebyettugidde mu kkufulu ye .Ono gwetuyita sayansi Omuganda

    #19499
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    heart_of_light.jpg

    Mulongo munnange nze ebitaala bintadde. Tebadde lock, naye kkufulu njejjeko, era nga wenjogerera bino ntunudde wuwo. Kati ggwe ogamba otya?

    #19509
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Musajja why were you beating the bush lwaaki watunonyesa ogusumuluzo nga maaso wali ogatadde ku muntu mulala, kabe kasinge nga wakigenderera okusuula ogusumuluzo ,
    Olwo Molongo ajje nga yenna awejja-wejja alyooke akutegeeze nga bwazudde mazongoto , olulala enduulu eyokunonyeza byosudde ogikubanga mu kaama ekitali ekyo wolf egenda kujjira ddala nga tewakyaali bakudukirira nga balowooza nti obazannya bbiri ku nedda

    #19530
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Musajjalumbwa ssebo sooka omanye omuziro gwa Mulongo, temusobya Obuganda. Oyinza okukasuka kufulu yo, nomutima nokoleeza nowanika mu bbanga, nga omuwala omuzira. Tewesanga nga okola kalango kalala akanoonya omusawo, nti omutima ate gweggonomodde ennume yekigwo negubetentuka.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 17 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.